TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssentongo wa Kyetume FC asiibuddwa mu ddwaaliro gye yaddusibwa ng'ekyenda kyesibye

Ssentongo wa Kyetume FC asiibuddwa mu ddwaaliro gye yaddusibwa ng'ekyenda kyesibye

Added 27th July 2020

OMUTEEBI wa Kyetume FC mu liigi ya babinywera Robert Ssentongo asiibuddwa okuva mu ddwaliro gy’abadde ajjanjabirwa oluvannyuma lw’okulongoosebwa ekyenda ekyabadde kyesibye.

Robert Ssentongo

Robert Ssentongo





Ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde Ssentongo 32, yaddusiddwa mu ddwaliro lya CBHC IV Kyetume Mukono nga biwala ttaka olw'ekyenda ekyali kyesibye, abasawo baakoze ekisoboka n'alongoosebwa era Mukama n'ayamba n'adda engulu.

Ku Mmande Ssentongo yasiibuddwa oluvannyuma lw'abasawo okukizuula ng'azze bulungi engulu era ng'asobola okufuna obujjanjabi ng'ava waka okukendeeza ku bisale by'Eddwaliro.

Reuben Mubiru ssentebe wa Kyetume FC agamba nti omuzannyi waabwe abadde amaze ebbanga ng'afuna okulumizibwa mu lubuto naye nga bw'afuna obujjanjabi  obutonotono ate nga bw'azannya omupiira okutuusa wiiki ewedde embeera bwe yatabuse ne bamuddusa mu ddwaliro.

"Mukama mulungi omuzannyi waffe yazze engulu era abasawo batukkirizza okumuzza awaka nga bw'afuna obujjanjabi bw'ekiwungu era tusuubira nti ajja kutereerera ddala addemu atuzannyire omupiira waakiri mu makkati ga sizoni ejja," Mubiru bwe yategeezezza.

Mubiru yeekokkodde yinsuwa ya FUFA gye yateerawo abazannyi etabayambye n'omulundi n'ogumu olw'obukwakkulizo obungi obujjeetoolodde nga kiba kyangu omuzannyi okufa nga tafunye kudduukirirwa mu budde.

"FUFA efube waakiri buli muzannyi emukwase ettabi lya Yinsuwa gy'asobola okwekubira enduulu olwo ettabi eryo lituuse obubaka eri FUFA okusobola okuyamba abazannyi baffe, kati Ssentongo Kyetume y'ekoze ku bujjanjabi naye nga muzannyi ali mu Yinsuwa ya FUFA," Mubiru bwe yeemulugunyizza.

Ssentongo ajjukirwa ennyo bwe yeefuga ekirabo ky'omuteebi asinze banne mu liigi ya babinywera mu 2011/12 ggoolo 13, 2014/15 (ggoolo 15), 2015/16(ggoolo 18), sizoni ewedde ye yasinga okuteebera Kyetume ne ggoolo 8 ezaabayamba okusigala mu lligi.

Ttiimu endala azannyiddeko;Simba FC, SC Villa, URA FC, KCCA FC, St.George ne Fassil Kanema eza Ethiopia.

Kyetume sizoni eno emalidde mu kifo kya 11 n'obubonero 30 nga yeetegekera sizoni empya (2020/21) etandika mu October.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....