TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ennanansi zimala emyaka etaano nga nkyakukungula

Ennanansi zimala emyaka etaano nga nkyakukungula

Added 27th July 2020

VISION GROUP efulumya ne Bukedde ng’eri wamu n’ekitebe kya Budaaki mu Uganda, bbanka ya dfcu, kkampuni y’ennyonyi eya KLM n’ekola emmere y’ensolo eya Koudjis enoonya omulimi n’omulunzi asinga mu Uganda omwaka gwa 2020 wansi w’omulamwa ogugamba nti, Obulimi nga bizinensi. Okuvuganya oweereza amannya go oba omulimi n’omulunzi gw’omanyi ku kitundu kyo ku 8338, Email, omulimiasinga@newvision.co.ug.

Kabiito (akulembedde) n’abakozi nga bava okukungula ennaanansi.

Kabiito (akulembedde) n’abakozi nga bava okukungula ennaanansi.

VISION GROUP efulumya ne Bukedde ng'eri wamu n'ekitebe kya Budaaki mu Uganda, bbanka ya dfcu, kkampuni y'ennyonyi eya KLM n'ekola emmere y'ensolo eya Koudjis enoonya omulimi n'omulunzi asinga mu Uganda omwaka gwa 2020 wansi w'omulamwa ogugamba nti, Obulimi nga bizinensi. Okuvuganya oweereza amannya go oba omulimi n'omulunzi gw'omanyi ku kitundu kyo ku 8338, Email, omulimiasinga@newvision.co.ug.

Wandiika amannya g'omulimi, ekyalo kw'abeera, disitulikiti n'ennamba y'essimu. HERBERT MUSOKE yanyumizzaamu ne James Kabiito n'amubuulira ensonga ezimulimisa ebintu eby'enjawulo ku ffaamu emu. BW'OSISINKANA James Kabiito mu nnimiro n'abakozi be oyinza okulemererwa okubaawula kuba buli kikolebwa akyenyigiramu butereevu. Twagenze okutuuka e Masaka okulambula Kabiito ng'ali mu musiri gwa nnaanansi akungula.

Kabiito ye dayirekita wa Greening Farming Centre ku kyalo Lugolwemodde, mu ggombolola y'e Kyesikiga mu disitulikiti y'e Masaka. Mulimi wa nnaanansi, obutunda n'emmwaanyi ssaako okusomesa abalimi abalala ku nnima ey'omulembe. OKUTANDIKA Kabiito yasoma obulimi e Masaka, era yalambula abalimi abawerako abaamusikiriza okutandika okulima.Yatandikira ku butunda mu 2004 bw'agamba nti bwamukolera n'agula etttaka eddala nga kati alina yiika ezisoba mu 40.

"Obutunda bwafuna obulwadde kyokka bwe twagenda nga tukola okunoonyereza nayiiya akatunda ne ngatta ebikolo eby'enjawulo era kagumira obulwadde, embeera y'obudde ate n'amakungula gawerera ddala so ng'akawoowo kasuffu", bw'agamba. "Tunoga ensawo ssatu buli luvannyuma lwa nnaku ssatu. Mu kiseera kino tutunda 200,000/- buli nsawo olwo ne tufuna 1,200,000/- buli wiiki ate tufuna 4,800,000/- omwezi mu yiika emu yokka", bw'agamba. Ono agamba nti wadde ekika kino kigumira embeera y'obudde, kyetaaga amazzi, okukakuuma nga tekaliimu muddo, okukafuuyira okutta obuwuka n'okutangira ebirwadde ebiyinza okukalumba.

Oluvannyuma lw'obutunda okutandika okulumbibwa ebirwadde, Kabiito yatandika okulima ennaanansi kuba yakizuula nga tezirina nnyo birwadde, zisimbibwa ekiseera kyonna ate n'amakungula kwegali ekitegeeza nti ofunamu ssente.

NATANDIKA NE YIIKA EMU "Natandika ne yiika emu mu 2007 wabula twalina okusoomoozebwa kuba zitwala emyezi 18 okuva lw'ozisimbye okutandika okuzikungula. Olw'okuba kye nali nnyingidde nali nkyagala, nagumiikiriza okutuusa lwe natandika okukungula", bw'agamba. OBULIMI MBULABA NGA EDDUUKA Mu kiseera kino nnina yiika z'ennaanansi 28 ezituuse oku-kungula. "Okulima nkutwala nga omulimu gw'edduuka omubeera ebintu eby'enjawulo wadde nga mubeeramu ebikola ennyo ssenteAyongerako nti, buli mwaka asigala asimba empya ekimuyambye okuzinoga ekiseera kyonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....