Ssentebe w'akakiiko ka NRM ak'ebyokulonda, Dr.Tanga Odoi yategeezezza Bukedde nti Pulezidenti Museveni bamusuubira okutuuka ku kitebe n'abantu babiri abamusemba ku buli kifo kye yaggyiddeyo empapula n'agamba nti bagenda kumuyisa mu mitendera egy'okwewandiisa ng'abantu abalala bonna abaggyeyo empapula okwesimbawo ku bifo ebyenjawulo ku kakiiko ak'oku ntikko mu NRM aka Central Executive Committee (CEC).
Kisuubirwa nti Dr. Tanga agenda kulangirira Pulezidenti Museveni nti ayiseemu tavuganyiziddwa mu bifo byombi kubanga okuggyawo empapula lwe kwakomekkerezeddwa ku Lwokusatu
lwa wiiki ewedde nga July 23, 2020, Pulezidnti yekka ye yabadde yaakaggyayo empapula okwesimbawo ku bwassentebe bw'ekibiina n'okukwatira NRM bbendera.
Tanga Odoi yategeezezza nti okuva ku Lwokuna luno nga July 30 okutuuka ku Lwokusatu nga August 5, 2020 abavuganya ku bifo bya CEC bonna lwe bagenda okusunsulamu akakiiko ka CEC n'olukiiko lwa NEC nga baggyamu abasaanidde.
Olwo abanaaba basembeddwa bajja kukubwako akalulu mu ttabamiruka w'ekibiina ajja okutuula okuva August 7 okutuuka nga 8, 2020. Ttabamiruka ajja kutuula ku bitebe bya disitulikiti ebyenjawulo nga ku mulundi guno bammemba tebajja kukuhhaanira Namboole nga bwe kizze kibeera.