TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Afumise bba akambe n'amutta lwa kugaana kugenda kukola

Afumise bba akambe n'amutta lwa kugaana kugenda kukola

Added 28th July 2020

ABAFUMBO basoowoganye omukazi n'akwata akambe nakasoga bbaawe mu bulago n’emu kifuba namutta oluvanyuma omusaayi nagusimulaawo okubuza obujjulizi.





Ekikangabwa kino kigudde zooni 2 e Mutungo mu munisipaali y'e Nakawa Jakline Nakamwonda 35 bw'asse bba Simon Oloboy nga yeeyambisa akambe.

Annet  Namuyimbwa  omutuuze mu kitundu kino agambye nti abafumbo bano babade batera okuyomba nebalwanagana era nga  Nakamwanda abadde atera okukuba bbaawe ng'oluusi  kiva ku mwenge gwabade atera okunywa.

Ayongede nagamba nti enyumba gyebabade basulako omukazi yabade yagipangisa naye ng'ayisa bubi bbaawe nga yakola buli  mulimu ewaka. kigambibwa okumutta amugambye okugenda okukola nagaana.

Abafumbo bano baatandise  okuyomba ekiro  mu budde bw'okumakya ku ssaawa 1 kigambibwa Nakamwanda wasogedde Oloboy akambe mu kifuba ,mu  bulago  wamu n'okumukuba omuggo ogukanda engaano  ku mutwe, bwamaze  okumutta, omusaayi yagusimudeewo okusobola okubuza  obujjulizi.

Sentebe wa zooni eno Adam Kibuuka yategezeza nti abafumbo bano baali babagoba ku kyalo kubanga baali balwana buli kiseera ng'omukazi akuba omusajja era nga yagezaako n'okutta omwana we kyoka weyadamu  okuyita mu kitundu kino nga bagaba emmere yamusangawo namutegeeza nga bwebaali bagonjola ensonga zino.

Omwogezi wa Poliisi owa Kampala ne miriraano Luke Owoyesigyire agambye bwebafunye amawulire g'ettemu lino bayanguye mangu nebakwata Nakamwanda era engeri gyeyasimudde enyumba kirabikira ddala nti yabade alina ekigendererewa kyokutta bbaawe era bamugudeko omusango gwobutemu  ng'akumibwa ku poliisi ye Jinja road.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....