TOP

Essomero lya Kawempe Moslem P/S balitunze

Added 29th July 2020

ESSOMERO lya Kawempe Muslim P/S lisuliridde kusengulwa oluvannyuma lw’Abasiraamu 17 okugula ettaka kwe litudde nga kati bateekateeka kuzimbawo ppaaka.

Essomero lya Kawempe Moslem P/S balitunze

Essomero lya Kawempe Moslem P/S balitunze






Abaguze ettaka lino beeyise "Jinja Kawempe Muslim Association" nga baagala kufuulawo ppaaka ya ttakisi. Essomero lino liri ku musingi gwa UMEA wabula nga lisomeramu n'abaana ba UPE.

Mulimu abayizi 800 nga liri ku yiika musanvu n'ekitundu. Lisangibwa ku mayiro ttaano mu kabuga ka Kawempe ku lw'e Bombo. Ku ttaka kuliko essomero, omuzikiti n'ekisaawe ebiri ku bbulooka nnamba 204.

Essomero liri ku ppoloti 52 ate ekisaawe kiri ku poloti 138. Ettaka lino kwe kuli ne ffamire ya Hajji Swaib Semakula eyasooka okubeera Mufti wa Uganda. Muhamad Bukenya omuwandiisi w'ekibiina kino yakakkasizza nti baasasudde 390,000,000/- okugula ettaka lino okuva mu kitongole ekya Custodian Board nga basigalidde kufuna kyapa.

"Bonna abali ku ttaka okutandikira ku ssomero, abatunda omusenyu, abasimbawo mmotoka ne ffamire ya Sheikh Semakula twamaze dda okubakwasa ebbaluwa ezibalaga nti ffe bannannyini ttaka era twagala batukkiririzeemu," Bukenya bwe yategeezezza Bukenya agamba nti ekibiina kyabwe kitambulira wamu ne Supreme Council nga baakola endagaano y'entegee-ragana mwe batambuliza bonna emirimu gyabwe.

Hajji Ssemwanga, ssentebe w'ekibiina kino yategeezezza nti, "Ettaka lino twaliguze mu bulambulukufu okuva mu Custodian Board kubanga teribaddeeko muntu yenna. Tubadde tulisasulira mu bitundu okutuusa lwe twalimazeeyo.

Buli kiwandiiko ekyetaagisa twakifunye ekitukakasa ku bwannannyini." Marji Bivanju Imaam w'omuzigiti oguli ku ttaka lino yagambye nti, "nkulayirira tetutundangako yadde ejjiiko y'ettaka lino. Lwaki owuliriza eby'abantu abalala? Muhamad Kivumbi omuwanika w'ekibiina yeebuuza lwaki babayita akabondo k'abafere ng'ettaka baaliguze ku ssente zaabwe.

ABASIRAAMU BAWANDA MULIRO

DR. Hasib Takuba nga yaliko omumyuka wa mmeeya wa Kampala era nga y'akulira olukiiko olutwala essomero lino: Sigenda kukkiriza kabinja ka Basiraamu ba lubatu kutwala ttaka okuli pulojekiti y'essomero emazeeko emyaka egisoba mu 80 eyamba abantu b'omu kitundu.

Yagambye nti akabinja kano era kaasabye olukusa okuva mu KCCA ebakkirize okuteekawo ppaaka kyokka baabagobye kubanga si be bannannyini.

"Bano ba mafi ya bennyini ababadde batuliira munda. Tubadde tutambulira wamu mu kulwanirira ettaka lino, aba ffamire ya Sheikh Semakula bwe baali balikaayanira. Ensonga zaggweera mu kkooti omulamuzi bwe yasazaamu ekyapa kyabwe nti kya kicupuli," Takuba bwe yagambye.

Wabula bwe tuva mu Kkooti ffenna, baatuwa amagezi okugenda mu Custodian Board okugoba ekyapa ky'ettaka lino mu linnya lya UMEA okutangira bannakyegwanyizi kyokka tugenda okutuukayo nga waliwo akabinja k'Abasiraamu abalala abagoba ku kyapa kye kimu.

Twagenda okunoonyereza gye bawandiisa ebibiina ng'amanya agali ku biwandiiko kuliko Abasiraamu be tumanyi obulungi okuli ne Imaam w'omuzigiti, Bivanju n'abalala.

Wabula ebbaluwa esaba satifi - keeti y'obwannannyini twagisanga etuuse ku mmeeza ya minisita w'ebyensimbi erindiridde kuteekako mukono ne tubirinnyamu eggere.

Olukiiko lwa Custodian Board lwatuwa amagezi okuddayo okuteeseganya nabo kyokka tetwakkaanya ng'akabinja kano kalina ebigendererwa bya kutunda kyokka nga ffe twagala ssomero lyaffe n'ekisaawe bisigale wamu. Wabula nga tuyita mu balooya baffe aba MSM Advocates, nga June 17, 2020 twawandiikidde bonna abali ku ttaka lino nga tubalabula nti kano kabinja ka bannakigwanyizi ng'anaakolagana nako akikola ku lulwe.

Hajji Ahmad Bisegerwa nga y'akulira akakiiko akagatta abasomesa n'abazadde ku ssomero lino: Tetusobola kukkiriza kabinja kano kutwala ttaka era tulirwanirira okulaba nga liddayo mu mikono emituufu.

Hajji Sebutta Malende nga looya: Abo baagula mpewo, kye baagula bamanyi kiriko nnannyinikyo. Bagenze okuzimbawo omuzigiti nga tulaba Sheikh Semakula n'atandika okusomesa abantu eddiini. Yamala ebbanga ddene ku ttaka lino naye yali mulambulukufu nti ettaka okuli essomero lya Kawempe Muslim talirinako kakwate.

Ssaalongo Nakabaale Malende: Ebimu ku biwandiiko akabinja k'Abasiraamu bye baakozesa baabiggya mu ffamire yaffe. Muhamad Kafuma yantuukirira ng'omuwandiisi ku muzigiti n'ansaba ku byafaayo by'essomero lino kye saamanya nti yalina kigendererwa kya kwagala kunoonyereza ku ttaka lino.

Sheikh Semakula: Embeera yakyuka mu ssomero lino nti abaana baffe abaalinga basomera obwereere kati babagoba fi izi. Wabula tumanyi nti ettaka lino lyaffe.

Zaid Kulumba omukulu w'essomero: Embeera eno etaataaganya enkola y'essomero nga kiteeka abazadde ku bunkenke nga balowooza essomero ligenda kuggyibwawo ekiseera kyonna. Sheikh Hamid Serwadda nga ye Khadi atwala ekitundu kya Kampala: Ebikwata ku kutunda ettaka lino sibimanyi kubanga siruddewo mu ofi isi. Wabula we natuukira mu ofi isi eno Abasiraamu baalina entalo nnyingi nga zibadde zikendedde.

ESSOMERO lya Kawempe Muslim
P/S lisuliridde kusengulwa oluvannyuma
lw'Abasiraamu 17 okugula
ettaka kwe litudde nga kati bateekateeka
kuzimbawo ppaaka.
Abaguze ettaka lino beeyise
"Jinja Kawempe Muslim Association"
nga baagala kufuulawo
ppaaka ya ttakisi.
Essomero lino liri ku musingi gwa
UMEA wabula nga lisomeramu
n'abaana ba UPE. Mulimu abayizi
800 nga liri ku yiika musanvu
n'ekitundu. Lisangibwa ku mayiro
ttaano mu kabuga ka Kawempe ku
lw'e Bombo.
Ku ttaka kuliko essomero,
omuzikiti n'ekisaawe ebiri ku
bbulooka nnamba 204. Essomero
liri ku ppoloti 52 ate ekisaawe kiri
ku poloti 138. Ettaka lino kwe kuli
ne ffamire ya Hajji Swaib Semakula
eyasooka okubeera Mufti wa
Uganda.
Muhamad Bukenya omuwandiisi
w'ekibiina kino yakakkasizza
nti baasasudde 390,000,000/- okugula
ettaka lino okuva mu kitongole
ekya Custodian Board nga basigalidde
kufuna kyapa.
"Bonna abali ku ttaka
okutandikira ku ssomero, abatunda
omusenyu, abasimbawo mmotoka
ne ffamire ya Sheikh Semakula
twamaze dda okubakwasa ebbaluwa
ezibalaga nti ffe bannannyini
ttaka era twagala batukkiririzeemu,"
Bukenya bwe yategeezezza
Bukenya agamba nti ekibiina
kyabwe kitambulira wamu ne
Supreme Council nga baakola
endagaano y'entegee-ragana
mwe batambuliza bonna emirimu
gyabwe.
Hajji Ssemwanga, ssentebe
w'ekibiina kino yategeezezza nti,
"Ettaka lino
twaliguze mu
bulambulukufu
okuva
mu Custodian
Board
kubanga
teribaddeeko
muntu yenna.
Tubadde
tulisasulira
mu bitundu
okutuusa lwe
twalimazeeyo. Buli kiwandiiko ekyetaagisa
twakifunye ekitukakasa ku
bwannannyini."
Marji Bivanju Imaam
w'omuzigiti oguli ku ttaka lino
yagambye nti, "nkulayirira tetutundangako
yadde ejjiiko y'ettaka
lino. Lwaki owuliriza eby'abantu
abalala?
Muhamad Kivumbi omuwanika
w'ekibiina yeebuuza lwaki babayita
akabondo k'abafere ng'ettaka
baaliguze ku ssente zaabwe.
ABASIRAAMU
BAWANDA
MULIRO
DR. Hasib
Takuba
nga yaliko
omumyuka
wa mmeeya
wa Kampala
era nga
y'akulira
olukiiko olutwala
essomero
lino: Sigenda kukkiriza kabinja
ka Basiraamu ba lubatu kutwala
ttaka okuli pulojekiti y'essomero
emazeeko emyaka egisoba mu 80
eyamba abantu b'omu kitundu.
Yagambye nti akabinja kano era
kaasabye olukusa okuva mu KCCA
ebakkirize okuteekawo ppaaka
kyokka baabagobye kubanga si be
bannannyini.
"Bano ba mafi ya bennyini
ababadde batuliira munda. Tubadde
tutambulira wamu mu
kulwanirira ettaka lino, aba ffamire
ya Sheikh Semakula bwe baali balikaayanira.
Ensonga zaggweera mu
kkooti omulamuzi bwe yasazaamu
ekyapa kyabwe nti kya kicupuli,"
Takuba bwe yagambye.
Wabula bwe tuva mu Kkooti ffenna,
baatuwa amagezi okugenda mu
Custodian Board okugoba ekyapa
ky'ettaka lino mu linnya lya UMEA
okutangira bannakyegwanyizi
kyokka tugenda okutuukayo nga
waliwo akabinja k'Abasiraamu abalala
abagoba ku kyapa kye kimu.
Twagenda okunoonyereza gye
bawandiisa ebibiina ng'amanya agali
ku biwandiiko kuliko Abasiraamu
be tumanyi obulungi okuli ne Imaam
w'omuzigiti, Bivanju n'abalala.
Wabula ebbaluwa esaba satifi -
keeti y'obwannannyini twagisanga
etuuse ku mmeeza ya minisita
w'ebyensimbi erindiridde kuteekako
mukono ne tubirinnyamu
eggere.
Olukiiko lwa Custodian Board
lwatuwa amagezi okuddayo
okuteeseganya nabo kyokka tetwakkaanya
ng'akabinja kano kalina
ebigendererwa bya kutunda kyokka
nga ffe twagala ssomero lyaffe
n'ekisaawe bisigale wamu.
Wabula nga tuyita mu balooya
baffe aba MSM Advocates, nga June
17, 2020 twawandiikidde bonna abali
ku ttaka lino nga tubalabula nti
kano kabinja ka bannakigwanyizi
ng'anaakolagana nako akikola ku
lulwe.
Hajji Ahmad Bisegerwa nga
y'akulira akakiiko akagatta abasomesa
n'abazadde ku ssomero
lino: Tetusobola kukkiriza kabinja
kano kutwala ttaka era tulirwanirira
okulaba nga liddayo mu mikono
emituufu.
Hajji Sebutta Malende nga
looya: Abo baagula mpewo, kye baagula
bamanyi kiriko nnannyinikyo.
Bagenze okuzimbawo omuzigiti
nga tulaba Sheikh Semakula
n'atandika okusomesa abantu eddiini.
Yamala ebbanga ddene ku ttaka
lino naye yali mulambulukufu nti
ettaka okuli essomero lya Kawempe
Muslim talirinako kakwate.
Ssaalongo Nakabaale
Malende: Ebimu ku biwandiiko
akabinja k'Abasiraamu bye
baakozesa baabiggya mu ffamire
yaffe. Muhamad Kafuma yantuukirira
ng'omuwandiisi ku muzigiti
n'ansaba ku byafaayo by'essomero
lino kye saamanya nti yalina kigendererwa
kya kwagala kunoonyereza
ku ttaka lino.
Sheikh Semakula: Embeera
yakyuka mu ssomero lino nti abaana
baffe abaalinga basomera obwereere
kati babagoba fi izi. Wabula tumanyi
nti ettaka lino lyaffe.
Zaid Kulumba omukulu
w'essomero: Embeera eno
etaataaganya enkola y'essomero nga
kiteeka abazadde ku bunkenke nga
balowooza essomero ligenda kuggyibwawo
ekiseera kyonna.
Sheikh Hamid Serwadda nga ye
Khadi atwala ekitundu kya Kampala:
Ebikwata ku kutunda ettaka
lino sibimanyi kubanga siruddewo
mu ofi isi. Wabula we natuukira mu
ofi isi eno Abasiraamu baalina entalo
nnyingi nga zibadde zikendedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abdallah Kiwanuka Mulimamayuuni nga bamulangira ku buwanguzi bw’ekifo ky’omubaka wa Mukono North.

Ababaka abayise mu ttanuulu

ABABAKA bamu okuyingira palamenti bakumyumya nga lutabaalo, kubanga yabadde nsiitaano nga baabuuse ebiwonvu n'emigga....

Amateeka 8 agattisa ggoolo ...

MU MPAKA z'Amasaza eziri e Njeru, omupiira gwa Buddu ne Gomba gwawedde ggoolo 1-1. Mu ddakiika eya 57, ddiifiri...

Meddie Lubega (ku kkono) owa Lukanga Boxing Club ng’attunka ne Joshua Male owa Zana Boxing Club gye buvuddeko.

Muhangi ayimirizza okusunsu...

EKIBIINA ekidukanya ebikonde mu ggwanga (UBF) kyongezzaayo okusunsulamu kwa ttiimu y’eggwanga ‘The Bombers’ eyeetegekera...

'Ssegirinnya nze ani okufuu...

“BULIJJO mbadde mpita ku Palamenti obusajja (ng’ategeeza abaserikale) ne buntwala entyagi nga bugamba ndi wakyamu!...

Batabani ne bawala bange ky...

BATABANI ne bawala bange mukulikeeyo mu kalulu. Emirundi egisinga bwe wabaawo okulonda amaka gatera okufuna enjawukana...