TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Betty Nambooze, Seggona ne bannammwe tubawonye - Mao

Betty Nambooze, Seggona ne bannammwe tubawonye - Mao

Added 29th July 2020

PULEZIDENTI wa DP, Norbert Mao musanyufu bya nsusso oluvannyuma lwa bannabyabufuzi okuli Erias Lukwago, Betty Nambooze, Medard Seggona n’abalala okumuviira mu DP.

Mao ng’atuuka ku kitebe kya DP ku Balintuma Road.

Mao ng’atuuka ku kitebe kya DP ku Balintuma Road.




Mao yasinzidde mu lukiiko lwa bannamawulire eggulo ku Balintuma Road mu Kampala n'ategeeza nti kati awulira bupya n'akawewo awulira kapya buli lw'ajjukira nti Lukwago ne banne bamuviiridde.

Loodi Meeya Erias Lukwago ku Lwokubiri yeegasse ku kibiina kya FDC ate Nambooze ne banne baalangirira nti ebya DP babivuddeko balowooza ku kya kwegatta ku kibiina kya NUP/People Power ekya Robert Kyagulanyi.

"Kale ani yali amanyi Nambooze (Mukono municipality), Medard Seggona (Busiro East), Muwanga Kivumbi(Butambala), Joseph Gozanga Sewungu (Kalungu East), Robinah Nabbanja n'abalala okutuusa, DP lweyabawa kkaadi ne bamanyibwa? Tewali n'omu!" Bwatyo Mao bwe yabuuzizza n'ayongerako nti yeewuunya bannabyabufuzi abafaanana nga bano abasooka okukozesa ekibiina bwe bamala okumanyika ate beefuula.

Ku kya Lukwago, yasoose kumuyozaayoza okugenda mu FDC ate n'amulumba nti abadde omutima gw'agenda dda mu FDC kyokka ng'omubiri guli mu DP noolwekyo amuyozaayoza kuba kati omubiri n'omutima biri mu kifo kimu.

Yagasseeko n'okumukulisa kye yayise obufumbo bwa kawundo kakubye eddirisa bw'agamba nti bw'abaddemu mu FDC okutuusa lwe baabutongozza eggulo.

Yagambye nti buli eyayabulidde DP yawadde balala mukisa kuyingirawo kutwala kibiina mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...