TOP
  • Home
  • Amawulire
  • BIZZONTO: Bye baayiseemu nga bakwatibwa babinyumya nga lutabaalo

BIZZONTO: Bye baayiseemu nga bakwatibwa babinyumya nga lutabaalo

Added 30th July 2020

SserwanjA eyasangiddwa ku leediyo Simba ne banne yaluvudde ku ntono; Alex Muhangi nga kazannyirizi munnaffe yankubira essimu ku lunaku lwe baatukwata nti waliwo kasitoma ayagala okutuwa omulimu. Twakkiriziganya nti bwe nva ku mpewo atulabe ffenna basatu. Mu kadde ako, nze ne Maliseri twali ku mpewo nga Ssaabakaaki ne Opeto bali bweru.

Sserwanja (ku kkono) ne Mbabaali baakedde mu situdiyo kukola.

Sserwanja (ku kkono) ne Mbabaali baakedde mu situdiyo kukola.





Opeto agamba nti; ng'enda okulaba ng'abasajja aba leeya abalina emmundu beetala wabweru wa leediyo, wabula nga simanyi gwe baagala. Ssaabakaaki yagasseeko nti, beegeyaamu ne Opeto nga bagamba nti, ‘haa, gwe bagenda okukwata ali mu buzibu!'

Wabula mu ddakiika ntono abasajja abaali mu mmotoka z'ekika kya Drone eziringa ttakisi ne babayoola. Ye Sserwanja agattako nti, yali ku mpewo, bwe yavaako bakozi banne kwe kumugamba nti b'azannya nabo babakutte.

Yakubira Muhangi essimu ng'ali ne Mbabaali ne bamubuuza ku bya kasitoma gwe yabadde abagambyeko, era n'abalagirira okumpi ne we bakolera we baba bamusanga. Bano olwatuukawo, mu kifo ky'okubayitiramu by'abaagaza ate yabakwata bukwasi ng'ali n'abeebyokwerinda abalala. Baddamu okukubira Muhangi n'abagamba nti ababakutte tebalina mutawaana, bavudde mu Gavumenti. Bano baabatwala e Kireka era gye baabategeereza nti baakola akatambi akaawulayawula mu mawanga.

Wabula Sserwanja agamba nti bakira abaserikale babaggyako sitetimenti nga bwe babajjukiza ate obutambi bwe baakola obwabanyumira naddala ke baazannya ne Maama Fiina ku ngeri gy'agabamu ssente.

MUHANGI YEEGAANYI OKUBA MU LUKWE LW'OKUBAKWATA

Muhangi bwe yabuuziddwa ku by'okukwasa Bizzonto yategeezezza nti teyali mu lukwe kubanga aludde ng'akolagana nabo mu bulungi era ye yabakkirizisa n'okukola ‘komedi' waabwe ku siteegi.

BALAZE BYE BABADDE BASUBWA

Wadde nga bagamba nti gye baabadde babasibidde tewali yabatulugunyizza, babadde basula n'okusiiba ku bunkenke nga tebamanyi kiddako ate nga baabasiba n'abazzi b'emisango eminene. Mbabaali Maliseri agamba nti abadde asubwa okukola obwa zzonto ku ‘social media' ne ku leediyo.

Gold-Ki Maanyimatono (Opeto); Abadde asubwa okulaba ku baana be abasukka mu 30 ne bakyala be. Julius Sserwanja-Kidomoole (Ssaabazonto); Abadde asubwa okumanya ebigenda mu maaso mu ggwanga ne ffamire ye. Peter Sabakaaki (Kazzonto akatono); Abadde asubwa okubeera n'emirembe gye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...