TOP
  • Home
  • Agawano
  • Obukadde 700 zikwasizza wannyondo wa kkooti

Obukadde 700 zikwasizza wannyondo wa kkooti

Added 30th July 2020

ABATUUZE baatidde, ab’emmundu bwe baazinzeeko amaka ga munnaabwe eyabadde yaakasenga ku kyalo ne bamuggya mu mmotoka ng’ali ku mpingu ne batandika okugaaza.

Omuserikale ng’ateeka Magumba ku mpingu okumuzza ku CPS.

Omuserikale ng’ateeka Magumba ku mpingu okumuzza ku CPS.

Abaserikale ba Flying Squad baabadde bagenze ku kyalo Katega mu ggombolola y'e Nama e Mukono mu maka ga Wannyondo wa kkooti, Ismael Magumba okuzuula ebizibiti ebiyinza okubayamba mu musango gw'obukadde obusoba mu 900 gwe banoonyerezaako.

Magumba ye nnannyini kkampuni ya bawannyondo ba kkooti eya Capital Debt Agency ku kizimbe kya Mabiriizi Complex mu Kampala. Yakwatiddwa wiiki ewedde oluvannyuma lw'emyezi mwenda ng'ayiggibwa.

Kigambibwa nti yaweebwa omulimu mu Kkooti Enkulu ogw'okutunda kkonteyina 236 ezaali eza Rift Valley Railways ssente n'azezza.

Munnamateeka w'omu Kampala, Ronald Mugabe era nga y'omu ku baddayirekita ba kkampuni ya MURU Contractors Ltd eyawaabira Rift Valley Railways, yagambye nti mu 2017 baawangula omusango, kkooti n'eragira kkonteyina 236 ezaali eza Rift Valley ziboyebwe.

Omulimu, kkooti yaguwa kkampuni ya Capital Debt Agency era Magumba kkonteyina zonna n'aziggyayo n'azitunda. Kigambibwa nti buli kkonteyina yagitunda 4,000,000/- ne zivaamu 944,000,000/- kyokka bwe yamala okuzitunda, Mugabe agamba yabawaako 225,000,000/- endala obukadde obusoba mu 700 n'abulawo nazo.

Mugabe yagasseeko nti, kkampuni yaabwe yalina looni mu bbanka era ezimu ku ssente zino ze zaalina okusasula ebbanja lino kyokka Magumba bwe yabula ne ssente, yalina okutunda ku bintu bye okusasula ekyamuviirako n'okulwala n'agenda ku kitanda. EBIWANDIIKO BY'ENNYUMBA, EMMOTOKA N'EBIRALA BABITUTTE; Ku Ssande, abaserikale ba Flying Squad okuva ku CPS baatutte Magumba mu maka ge e Katega ne baaza ennyumba yonna. Omuserikale eyakulembedde okwaza yagambye nti, yabadde anoonya ebintu bibiri, ebiwandiiko by'ebintu ebiguliddwa wakati wa March 2019 okutuuka July 2020 ne ssente enkalu ezitakka wansi wa kakadde kubanga omusango gwe baliko gwa ssente nnyingi. Baatandikidde mu ddiiro nga bafuuza buli kapapula ne beeyongerayo mu bisenge okwabadde ekya Magumba n'eby'abaana ne mu ffumbiro era baagenze okumaliriza nga bazudde ebiwandiiko omwabadde ebikwata ku maka Magumba g'abadde yaakazimba, ssente enkalu 2,900,000/-, ebisumuluzo bya mmotoka, ebiwandiiko ebyogera ku mmotoka endala n'ebiwandiiko ebirala ebiraga ebintu Magumba by'azze agula. Abaserikale beewunyizza okusanga ebiwandiiko bya kkampuni ezimu Magumba bye yabadde yeegaana ssaako akawunti nnamba za bbanka ez'enjawulo kyokka nga yabadde abagambye nti, alina akawunti emu yokka. Mu kisenge kye era waasangiddwaayo kkaadi za ssimu empitirivu ng'ezisinga tezaabadde nsumulule wabula zino abaserikale tebaazifuddeko. Ronald Kinaalwa ssentebe w'ekyalo yagambye nti, Magumba abadde yaakajja ku kyalo era abadde tamumanyiiko bingi. Elizabeth Nabiwemba muliraanwa wa Magumba yagambye nti, abaserikale baamuyise abeerewo ng'omujulizi ku bintu ebyabadde bigenda mu maaso mu maka ga muliraanwa we wabula kye yalabye kyabadde kimutiisizza nnyo. Magumba yatwaliddwa ku CPS Mugabe gye yamuggulirako omusango ku ffayiro CRB 1571/2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mondo Mugisha ng’ayogera eri abaamawulire. Emabega be bakanyama abassiddwa ku kkanisa okukuuma. Tunuza kkamera y’essimu yo mu kalambe olabe vidiyo.

Pasita Ssenyonga mumuboole ...

Omusumba Mondo Mugisha y’omu ku bakungubazi abeetabye mu kukungubira Paasita Yiga Abizzaayo e Kawaala. Mu butaluma...

Kayanja ng'ali mu situdiyo ye.

Wuuno 'mutabani wa Nabbi Ka...

JOB Kayanja y’omu ku ba pulodyusa abeekoledde erinnya. Wadde abayimbi tebakyakola olw’omuggalo gwa ssennyiga omukambwe,...

Pasita Kayiwa mu lumbe.

Paasita Kayiwa ayogedde ens...

Omusamize yandabula nti nali waakufa mu nnaku musanvu, kyokka ekyewuunyisa ate ye yafa ku lunaku olw’omusanvu....

Ekyatutte Paasita Bujjingo ...

Omusumba w’ekkanisa ya House of prayer Ministry International, Aloysius Bugingo yagugumbudde abantu abaavuddeyo...

Omugenzi Yiga yali ne Nabbi Omukazi.

Ebigambo bya pasita Yiga eb...

OMUSUMBA Augustine Yiga Abizzaayo ow’ekkanisa ya Christian Revival Church Kawaala abadde mwogezi akunkumula n’ennyenje...