TOP

Man-u egudde ebbeeyi

Added 30th July 2020

Wadde nga baalwanye masajja ne bamalira mu ‘Top 4’ mu Premier okuzannya Champions League sizoni ejja, ManU yagudde mu luse lwa ttiimu ezisinga ebbeeyi mu nsi yonna.

Wadde nga baalwanye masajja ne bamalira mu ‘Top 4' mu Premier okuzannya Champions League sizoni ejja, ManU yagudde mu luse lwa ttiimu ezisinga ebbeeyi mu nsi yonna.

Ensengeka ya ttiimu ezaasinze okukola ssente sizoni ewedde eyafulumiziddwa aba Brand Finance Review, eraga nga ManU eri mu kyakusatu ng'eweramu pawundi akawumbi 1.9 kyokka ng'efiiriddwa pawundi obukadde 143 sizoni eno.

Olukalala lukulembeddwa Real Madrid ku pawundi akawumbi 1.286 kyokka nga nayo yafiiriddwa pawundi obukadde 205, Barcelona yaakubiri ku pawundi akawumbi 1.280 naye nga yo yeeyongeddeko pawundi obukadde 18 sso nga Liverpool eyawangudde Premier eri mu kyakuna ku pawundi akawumbi 1.143 nga nayo yeeyongedde pawundi obukadde 64.

Abalala abaddako ye; Man City, Bayern, PSG, Chelsea, Spurs ne Arsenal mu ky'e 10 ng'eno eweramu pawundi obukadde 651 kyokka nga yafiiriddwa pawundi obukadde 150.

Liverpool yawangudde Premier, ManU yakutte kyakusatu, Chelsea kyakuna, Spurs kyamukaaga ate Arsenal kyamunaana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannakawempe mukolere okweg...

MINISITA omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi akubirizza BannaKawempe ne Kampala Central obuteemalira...

Aba NRM balidde mu kalulu k...

E Mpigi embiranye ebadde ku kifo kya Ssentebe w’abavubuka wakati wa munna NRM, Manisoor Muluya ne Ronald Kaleebu...

Ssekandi nga y'akamala okwewandiisa.

Abavuganya Ssekandi baagala...

ABAVUGANYA omumyuka wa Pulezidenti bamutaddeko amaanyi okumusuuza ekifo ky’omubaka wa Palamenti e Masaka. Kigambibwa...

Akatale k'e Wandegeya nga bwe kafaanana.

Abasuubuzi b'e Wandegeya be...

ABASUUBUZI mu katale k’e Wandegeya bagambye nga bwe bagudde mu lukwe lwa ssentebe waabwe, Jonathan Gitta okwagala...

Aba Lufula baagala Amongi a...

ABATEMI b'ennyama mu lufula ya City Abattoir mu Kampala basabye Minisita wa Kampala, Betty Amongi ateekewo akakiiko...