TOP

Ebintu 5 ebinaatwala Buganda mu maaso

Added 31st July 2020

ENDUULU, emizira, amakondeere n’okusindogoma kw’embuutu bivuga buli Empologoma ya Buganda Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II lw’alabika eri Obuganda.

Kabaka ng’asiimba omuti gw’ekijjukizo gye buvuddeko.

Kabaka ng’asiimba omuti gw’ekijjukizo gye buvuddeko.





Bikuleetera okwebuuza ekinaakolebwa okukuuma Ekitiibwa kya Buganda ekyava edda, abaana n'abazzukulu bakisangewo.

Leero, nga tujaguza emyaka 27 egy'Amatikkira, tukubye ttooci mu Buganda ey'enkya n'ebirina okukolebwa okutuukiriza oluyimba lwa Buganda olugamba nti, "Ekitiibwa kya Buganda kyava dda, kale tukikuumenga"

OBUYIIYA N'OKWAGALA EGGWANGA

Okuva edda abantu mu Buganda baali bayiiya nga beenyigira mu mirimu egy'enjawulo egivaamu ssente n'Obwakabaka bwafangayo okukunga abantu okwenyigira mu mirimu gy'enkulaakulana.

Omulembe gwa leero gwetaaga obuyiiya obusukkulumye ku bwe twali tubadde nabwo.

Grace Mukupe 90, omutuuze w'e Nabulagala era ali ku lukiiko lwa Kisekwa olutawulula enkaayana mu bika, agamba nti omulembe ogwakola obutaweera okuzzaawo Obwakabaka gwe gwaffe ogwa basajjabakulu.

Omulembe guno bwe gutajjukirwe olw'omulimu ogwakolwa kijja kuba kizibu Obwakabaka okukuuma omutindo. Omukazi omunafu tayita njala kujja naye enkwe bwe zinaayinga abantu baffe, abalibaawo baliraba Obwakabaka obunafu.

Obulambulukufu butono mu bantu, gwe muteesezza naye ku nkya oba mu ttuntu, olweggulo ayogera birala. Amagezi g'awa ga buli alaama mu kiseera kino okuteekamu okukubiriza abantu be baagale, bakuume era basse ekitiibwa mu Bwakabaka.

OBUKULEMBEZE OBUMALIRIVU

Lawrence Kyoloobi, Ssaabagabo w'omuluka gw'e Kabowa agamba nti, obukulembeze obulungi bwe butambulirako enkulaakulana.

Obwakabaka bwateekangawo amateeka ng'abaami bagateeka mu nkola, buli muntu yalinanga okubeera n'omusiri gwa Kabaka ogwa ppamba n'emmwaanyi n'olusuku lwa Kabaka.

Abaami ba Kabaka okuviira ddala ku w'essaza nga balambula emisiri gya Kabaka okukakasa nti buli omu agirina, kyayamba nnyo okutereeza ebyenfuna, kuba ebintu ebivaamu ssente byalimwanga mu bungi. Ne leero Obwakabaka okugenda mu maaso emyaka mingi wano we bulina okutunula.

Polof. Kiwanuka Ssemakula agamba nti, Buganda okusigaza ekitiibwa kyayo buli omu alina okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe.

" Edda Bakatikkiro ebitiibwa byabwe nga babiteeka ku bbali ne bagenda mu byalo okulambula ennimiro z'abantu.

Eyali Katikkiro, Martin Luther Nsibirwa, yatambulanga n'abakugu mu byobulimi abaasomesanga abantu ennima ennungi evaamu ebibala.

Kyawanga Abaganda amaanyi okulima ennyo anti nga buli omu ayagala Katikkiro agende okutuuka nga y'asinze okulima obulungi n'okuba n'ebimera ebingi.

OKUFUULA EBIRIMWA EBY'ETTUNZI NGA BYONGERWAKO OMUTINDO

Christine Nantume, omutuuze w'e Wankulukuku agamba, Ekitiibwa kya Buganda kyazimbirwa ku bulimi obw'okukolera awamu. "Obwakabaka bwatugabiranga endokwa n'ensigo ennungi nga buli Ggwangamujje lw'evuga, omwami w'ekyalo (omutongole) ajja n'ensigo ze mutwala ne musimba ew'omutuuze gwe muba musazeewo. Kino kyayamba buli mutuuze okubeera n'ebirime eby'ettunzi mu bungi.

Waabangawo amasitoowa g'Obwakabaka mu masaza nga bakuhhaanyizaamu ppamba oba emmwaanyi. Kino kyayamba mu kwekulaakulanya olw'abantu okukolera awamu ne bakola kingi n'amasitoowa we bigulirwa, nga gawa abantu akatale ne balima bangi era ne bagaggawala," bw'agamba.

Leero ng'ensi ekyuse, emiruka n'ebyalo bikyayinza okuweebwa ttulakita eyeetooloola ng'egenda esambulira buli maka abantu ne basobola okulima ekiwera.

Dr. Adam Kimala, omukugu mu by'obujjanjabi, agamba nti tetusaanye kukoma ku kulima bulimi mmere ewera naye tusaana okugyongerako omutindo tugitunde n'ebweru.

Embidde, amatooke, lumonde, muwogo, tusobola okubisogolamu omwenge gwa wayini oba bbiya nagwo ne gwongera ku nnyingiza yaffe, Buganda okudda ku ntikko, twetaaga okufunayo abantu ne batendekebwa mu magezi ag'ekikugu n'omutindo gw'ebintu nga bino, ne bajja ne basomesa abantu okwongera omutindo ku bintu byabwe ne bakola ssente.

OKUKUUMA OBUTONDE N'OKWONGERA OMUTINDO KU DDAGALA

Tofiri Malokweza, eyaliko Kaggo agamba nti, Abaganda baayiiyanga eddagala eritangira n'okujjanjaba endwadde ezitali zimu, ekyabakuumanga nga balamu bulungi.

Kabaka yabanga n'ekibira ku buli kyalo nga bakiyita, "akabira ka Kabaka" nga mubaamu emiti nga tebakkiriza muntu kugitema ng'olwo gitwalibwa embuga okugifunamu ssente," bw'agamba.

Obwetwaze mu byeddagala kikulu nnyo kubanga akufuga mu byeddagala akira abafuzi abalala bonna kubanga aba afuga bulamu.

Dr. Adam Kimala, omukugu mu byobujjanjabi agamba nti, Twetaaga okukomya okutema emiti gy'ennono kuba gisikiriza ebinyonyi olw'ebibala ebigibaako ate nga givaako n'eddagala lyaffe er'ekinnansi.

Abasawo abatabuzi b'eddagala basobola okutuyambako, eddagala lyaffe eriva mu bikoola ne tulitabula ne tulisiba bulungi mu bipimo ebituufu, eddagala bwe tutandika okulikola tuba bagagga kuba buli omu alyetaaga.

Ebizigo naddala ebikole mu bimera ne sabbuuni bibeeramu eddagala lyaffe Egganda, tubikulaakulanye kuba ssente mweziri. Ebimera byaffe binnansangwa ebitasangwa walala bye bituwa enkizo mu bujjanjabi kubanga birimu ekipya kye tusobola okutunda Abazungu kye batannazuula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...