TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kabaka akubirizza abantu obuteerabira kirwadde kya Mukenenya wakati mu kulwanuyisa COVID

Kabaka akubirizza abantu obuteerabira kirwadde kya Mukenenya wakati mu kulwanuyisa COVID

Added 1st August 2020

Ssaabasajja Kabaka ng'awa pobubaka bwe ku mukolo gw'amatikikra ag'omulundi ogwa 27

Ssaabasajja Kabaka ng'awa pobubaka bwe ku mukolo gw'amatikikra ag'omulundi ogwa 27

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II alagidde abavubuka okukomya okwekubagiza n'okuggwamu essuubi naye beesitule bakole era n'agambako n'abaserikale mu ggwanga obuteefula balamuzi eri abo bebasanze nga bamenye amateeka wabula babatwale mu kkooti bavunaanibwe okusinga bbo okubaviirako okufa.

Bino yabyogeredde mu Lubiri e Mmengo  olunaku lw'eggulo mu kujaguza nga bwegiweze emyaka 27 bukya atuuzibwa ku Nnamulondo n'agamba nti abantu bangi abafunye ebisago n'okutuuka okuva mu bulamu bwensi olw'okutulugunyizibwa okuv ku baakuumaaddembe bano n'awa eky'okulabirako ky'omuvubuka Walugembe ow'e Masaka eyeyookya.

OBUBAKA BWA KABAKA MU BUJJUVU:

Twebaza Katonda atusobozesezza okutuuka ku lunaku luno olw'matikkira ag'Omulundi ogwa 27. Olugendo luno terubadde lwangu n'akatono naye abantu ba Buganda mulutambudde n'obugumikiriza,obuvumu er n'okwagala. Mukoze obutebalira ng'abasinga obungi ba nnakyewa ne muwayo amaanyi gamwe,ebiseera n'ensimbi zamwe okulaba ng'obuganda buddawo era nga butinta. Tubeebaza nnyo nyinni ddala.

Amatikkira ga gatusanze mu lutalo lwa kisenyiga kino ki COVID-19 olutalo olulanze mu bbangaa ettono ennyo nerubuutikira ensi yonna n'olwekyo tetusobodde kujaguza nga bwetujjaguza bulijjo ku lunaku lw'amatikkira naye manyidde ddala nti obuganda bwona buli mu kujaguza. Ffe wano mu Uganda mukama akyatubiseeko obusubi naye mu nsi nnyingi COVID-19 asse abantu bangi nnyo ate mu kiseer ekitono ennyo n'olwekyo mbakubiriza mwenna mwekuume nnyo kisenyiga kino nga mugondera ebiragiro bya gavumenti ebigenderera abantu okwewala kisenyiga kino.

Twagala okwebaza abo bonna abalwala olutalo lwa COVID-19 abasawo ab'emitendera gyonna abakulembedde mu lutalo luno,abo bonna abawaddeyo ebintu byabwe era n'ensimbi zaabwe. Nkubiriza abaami ba Kabaka yonna gyebali okutambula nju ku nju nga banyonyola abantu bebatwala engeri gye bayinza okwewala COVID-19.

Wabula waliwo obulwadde bwetubadde tutambula nabwo, tubumanyi,bwe bulwadde bw mukenenya gwetubdde tulwanyisizza naye ekibi nti kasookanga lutalo lwa COVID-19 lutandika wabaddewo okudda embega olw'ebizibu ebitali bimu ebireteddwa okwekengera COVID-19 abantu babadde basobola okwekebeza,bakendedde. Ababadde bafuna eddagala ate ne bakosebwa akawuka n ekatndika okutojjera buto. Embalirira ya UNAIDS wano mu Buganda eraga nti abaami benyigidde butereevu mu kulwanyisa mukenenya. Abaami tubeebaza era tubasiima mu ngeri ey'enjawulo. Tukubiriza Abataka abakulu ab'obusolya okulwanyisa mukenenya afuuke lufumo mu bika byabwe. Tugenda mu maaso okusaba bonna aba nnaddala gavumenti okulaba nti COVID-19 tabutikkira ndwadde ndala kubanga nazo zitta era zisse abantu baffe okumala ebbanga ddene.

Nga njogera ku bukuumi bw'eddembe. Abakuuma eddembe mu bitongole bingi ebya gavumenti benyigidde mu lutalo lwa COVID-19 nga bagezaaako okukwasisa abantu ebiragiro bya gavumenti naye abamu ne bakozesa amaanyi era n'obukambwe obuyitiridde ekiviiriddemu abantu abamu okufa n'okulumizibwa mu ngeri ezitali zimu. Buli muntu alina eddembe ery'obwebange,abantu bwebabeera tebagondedde biragiro,kyandibadde kirungi btwalibwe mu mbuga z'amateeka bavunaanibwe emisango bwegibeera gibasinze balyoke bakangavulwe mu ngeri esaanira. Naye kikyamu omukuumi w'eddembe ate okuwa ekibonerezo naddala eky'okufa ng'abantu tebatwaliddwa mu kkooti.

Njagala okukubiriz abantu bonna naddala abavubuka obutaggwamu ssuubi mu kiseer kino ng'obwavu bususse mu nsi. Tusaasira abazadde,abooluganda era ne mikwano gy'omuvubuka Walugembe eyeyookera ku poliisi e Masaka ebbanga si ddene emabega. Ekikolwa kya Walugembe kiraga okuggwamu essuubi. Tukiddinganye lunye nti Omulembe Omutebi gw'abavubuka era tujja kulwana bwezizingirire okulaba ng'abavubuka tebaggwaamu ssuubi.

Okuva edda nedda wano mu Buganda twakubirizanga abantu okukola era y'ensonga lwaki ppamba n'emmwanyi byatinta nnyo nye mu nsangi zino enkola eno ennafuye nnyo kubnga tetulina buyinza. Kino kikulu nnyo nga tulwanirira okuzzaawo Obuganda mu byenfuna. Tukakasizza ddala nti ebyenfuna n'ebyobufuzi bygenderanga wamu era Bugnda okuddawo mu mbeera yaayo kisaana ensonga eno ekkolebweko.

Nziramu okwebaza n'okusiima abo bonna abakoleredde Obwakabaka awatali kwebalira kubanga abantu bwebafiirwa eby'obuwangwa n'ennono,babeera tebalina lugendo.

Oludda lwa gavumenti eyawakati lwakulembeddwamu Omumyuka wa Pulezidenti wa Uganda, Edward Kiwanuka Ssekandi ng'ono yebazizza Katonda olw'okuwangaaza Kabaka ebbanga lino ng'ali ku Nnamulondo era n'amwebaza olw'okuyamba ku gavumenti mu kulwanyisa obulwadde bwa ssenyiga kkolona. Bminisit abalala ababaddewo kwabaddeko Dr. JC Muyingo,Judith Nabakooba n'ababaka ba Palamenti.

Mu kwogera kwe Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yayongedde okutegeza gavumenti nti Obwakabaka bukyali ku nsonga y'okugabana obuyinza mu nkola eyitibwa FEDERO bwatyo n'asaba enteseganya zikolebwe ensonga eno eve mu ddiiro.

"Tukuyozayoza Ssabasajja Kabaka olw'okutuuka ku lunku luno. Okuzzaawo eggwanga mulimu munene naye tetuntuuka nga bwetwali mu 1966. Enkulakulana eyongedde okulabika era abantu bo gyetuyitira boogera nti Kabaka watujjunidde bwaati mu mbeera eno enzibu bweeti ate singa tulina federo. Ekirungi bannabyabufuzi webali wano ensonga tusanye tuggyogereko,eve mu ddiiro. Federo tukyagiriko,tetwagala byakugwa mu malaka era tujja kugibeerako," Mayiga bweyagambye

Ku mukolo guno Kabaka yasiimye n'akwasa abantu abakoze emirimu emisukkulumu mu Bwakabaka nga ku bano kuliko Dr. Paul Kawanga Ssemwogerere, Sheikh Hussein Rajab Kakooza, Polof. Josephine Nambooze Kiggundu, Rev. Samuel Kasujja ne Munnamawulire John Johns Yaakuze nga bano bali bakukwasibwa amayinja gaabwe ag'omuwendo ku mikolo gy'amazaalibwa ga Kabaka mu April 2020 kyokka olwa COVID-19 emikolo gino tegyaliyo era nga gabakwasiddwa ku Lwokutaano July 31, 2020.

Ye Omukubiriza w'olukiiko lw'Abataka, Kayiira Gajuule Kasibante IV yebazizza Kabaka olw'obukulembeze bwe mu bbanga lino era n'atuusa obubaka bwa banne nga basaba batandike okuteekebwa butereevu mu nteekateeka y'emikolo gy'amatikkira.

Olwa COVID-19 abantu batono abeetabye ku mukolo guno era emikolo okuli okukongojja Kabaka okukolebwa ab'essiga lya Ssekayiba mu kika ky'embogo tekwakoleddwa wabula Kabaka yalamusizza Mujjaguzo era n'abeddira ekibe nebamuleetera eby'okunywa (Enjogeza).

Omukolo guno gwatandise nakusaba nga kwakulembeddwamu Omusumba w'e Masaka, Bp. Severous Jjumba eyakikiridde Bannaddiini abalala abalala okwabadde Metropolitan Jonah Lwanga, Bp. Kityo Luwalira, Supreme Mufti Sheikh Sulemani Ndirangwa. Abalangira n'abambejja,Bannabyabufuzi,Baminisita ba Kabaka, Bakatikkiro abawummula okuva ku Mulwanyammuli Ssemwogerere,abasuubuzi n'abalala bangi beetabye ku mukolo guno.

Amatikkira g'omulundi guno gatambulidde wansi w'omulamwa ogugamba nti "Obuwangwa mu kulwanyisa mukenenya ne ssenyiga kkolona"

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lee man-hee ng'ayogera ku by'okusinza n'okutendereza

Akulira ekkanisa ya Shinche...

KULIRA ekkanisa ya Shincheonji Church of Jesus Lee man -her akubirizza enzikiriza ez'enjawulo mu Uganda n'okwetoloola...

Van Persie ne Van der Sar b...

Omudaaki Donny van de Beek ayatudde nti bannansi banne abaaliko mu ManU baamuwaanira ttiimu eno naye kye yavudde...

Koeman ne Messi

Sirina lutalo na Messi - Ko...

Omutendesi wa Barcelona, Ronald Koeman awaanye Lionel Messi nti muzannyi muyitirivu buli mutendesi gw'ayagala mu...

Iwobi

Iwobi ne Moise Kean Everto...

EMIKISA gy’abazannyi mukaaga (6) okuzannyira Everton sizoni eno giri mu lusuubo olw’ekigambibwa nti omutendesi...

Mourinho ne Bale

Gareth Bale nnamwagala dda ...

Mu kwagala okufuna enkolagana ey’amangu ne Gareth Bale, omutendesi wa Spurs, Jose Mourinho agambye nti yalwanako...