
MUNNABYABUFUZI Hajji Farooq Ntege akubye enkata abasiraamu be ggombolola ya ‘Makindye West' bwa bawadde lukululana y'amatooke n'ente bibayambe okujaganya obulungi olunaku lwa Eid Adha mu ssanyu.
Farooq Ntege ng'ono yesowoddeyo okuvugannya ku kifo ky'omubaka wa paliyamenti mu ggombolola ya Makindye West enkata eno agikubye abasiramu bona mu miruka 12 egikola ggombolola ya Makindye West gy'amaliridde okusigukulula Omubaka aliko mu kiseera kino Allan Ssewanyana.

Mu bimu ku byawaddeyo kuliko lukululana y'amatooke n'okuwa buli muruka ente gy'abakuutidde okusala bawutemu ssupu bya kwasizza ba Imam ne ba Maseeka b'emizikiti egyenjawulo mu kitundu kino babigabire abasiraamu.
Ntege agambye kimukakatako ng'omusiraamu okuwaayo eri basiraamu bannaabwe nadala mu kiseera nga kino ekizibu ekya ssenyiga wa Corona bangi kye bamazeeko nga tebakyakola.

"Ng'omukulembeze kinkakatako okutoola ku katono ke nina ne tukagabana n'abantu be tuwangaala nabo era nkubiriza bakulembeze bannange abalala nadala abasiramu bakole ky'ekimu kuba buli bwogaba Allah akusasulamu empeera" Ntege bwagambye.