TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita Nakiwala Kiyingi atongozza ekibiina Shartsi Ku mutima e Ssembabule

Minisita Nakiwala Kiyingi atongozza ekibiina Shartsi Ku mutima e Ssembabule

Added 2nd August 2020

Minisita omubeezi ow'abavubuka n'abaana mu ggwanga Florence Nakiwala Kiyingi asabye abavubuka bulijjo okwekolamu ebibiina bave mu kulera engalo nga mwe banaayita okufuna obuyambi okuva mu Gavumenti nabo bafune kyebateeka mu nsawo okusobola okwebeezaawo.

Hon.Nakiwala ng'annyonnyola

Hon.Nakiwala ng'annyonnyola

Bya Maria Nakyeyune

Minisita omubeezi ow'abavubuka n'abaana mu ggwanga Florence Nakiwala Kiyingi asabye abavubuka bulijjo okwekolamu ebibiina bave mu kulera engalo nga mwe banaayita okufuna obuyambi okuva mu Gavumenti nabo bafune kyebateeka mu nsawo okusobola okwebeezaawo.

Okwogera bino abadde ku Mujo Gardens mu town council y'eSembabule  ng'atongoza ekibiina ekya "Shartsi Ku mutima" nga bagoberera enkulaakulana eya buli memba ng'abasuubizza ekyuuma kya kasooli n'abatalina mirimu bafune ebyokukola nga bwebatereka Ku nsimbi ze bakoze.

Akulira ekibiina kino Charles Muwanguzi Kapaaja alaze kwe balina nga abavubuka ng'abasinga tebalina mirimu n'asaba minisita abakwasizeeko bayige emirimo gyomumutwe nga okukola Juice, wine, yoghurt n'ebirala.

Ekibiina kino kirimu abavubuka abasoba mu 500 mu Mawogola North nga kiwoomeddwamu omutwe muwala wa Minisita w'ensonga z'ebweru Sam Kuteesa nga ye Shartsi Musherure ng'abawadde obukadde 2 wamu n'omugagga Emmanuel Lwasa obukadde 5.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...