TOP

Enkyukakyuka mu UPDF kye zitegeeza

Added 3rd August 2020

Enkyukakyuka ezaakoleddwa Pulezidenti Museveni mu magye zirimu ebikulu ebitabuusibwa maaso. Alonze omukazi asoose okukulira ekitongole ekyogerera UPDF.

BYA JOSEPH MAKUMBI NE STUART YIGA

Ono ye Brig. Flavia Byekwaso enzaalwa y'e Gomba. Ekikulu ekirala, ebifo by'amagye eby'enkizo okuli omuduumizi wa miritale n'ekitongole ky'amagye ekikessi (CMI) abitaddemu basajja be abakambwe. Kino kitunuuliddwa ng'abazze okugolola ettumba abakozi b'effujjo naddala ng'eggwanga lyetegekera akalulu ka 2021.

Col Keith Katungi, akulira miritale, yali muduumizi w'amagye e Somalia gye yava okusindikibwa e Kasese nga kamanda w'ekibinja ekya 309 Brigade mu biseera embeera we yatabukira ennyo wakati w'amagye n'Omusinga Wesley Mumbere.

Ate Brig. Gen. Richard Otto, alondeddwa okumyuka akulira CMI naye amaze ebbanga ng'akuba emmundu e Somalia.

Ekirala, bofiisa 15 ku 29, Pulezidenti b'awadde obuvunaanyizibwa bonna bakozeeko e Somalia nga abaduumizi mu myaka 13 egiyise.

Abamu nga Don Nabasa baali mu kibinja ky'eggye erikuuma Pulezidenti erya Special Forces Command (SFC). Ate basajja ba Museveni abaalwana naye mu nsiko n'abeegatta ku NRA nga Museveni yaakawamba mu 1986, nabo abawadde ebifo. Bano balina obumanyirivu mu magye.

Maj. Gen. Sam Kiwanuka, eyava ne Museveni mu nsiko aggyiddwa e Mubende erabirirwa abajaasi abafunye obuvune mu ntalo, kati y'akulira ebikolebwa (Production) n'embeera y'abajaasi (Welfare). Yakolera mu nkambi e Masaka ne ku kitebe kya Uganda mu Ethiopia.

Ono mulimi wa maanyi e Masaka era asuubirwa okutereeza ebyobulimi mu magye. Maj. Gen. Moses Ddiba Ssentongo, asikidde Kiwanuka e Mubende yali ‘kadogo' wa NRA.

Yalwana olutalo lw'e ‘Kabamba III'. Akoze mu bitongole ebyenjawulo okuli okukulira ebyemizannyo mu UPDF n'ekingole ekivunaanyizibwa ku nkolagana y'amagye n'abatali bajaasi ekya Civil Military Relations.

Ate Maj. Gen. Hudson Mukasa, aduumira eggye ezzibizi (Chief of Staff Reserve Forces), azze mu kya Maj Gen Eric Mukasa, eyafa omwezi oguwedde. Mukasa yeegatta ku NRA mu 1983 e Luweero.

Abalala abaali mu NRA ye Brig. Gen. Jeff Mukasa, akulira okulwanyisa obutujju (Counter Terrorism), Brig. Matthew Gureme, akulira okutendeka amagye (Chief of Training) ne Brig. Tingira Irumba kati Chief of Policy and Plans.

Okwo kugattiddwaako abassiddwa mu kitongole kya Operation Wealth Creation. Kino abatunuulizi bakitapuse ng'okugezaako okukendeeza ku kwemulugunya kw'abantu b'e Luweero gattako abajaasi abaalwana ne Museveni abagamba nti beerabirwa. Minisita w'e Luweero, Ssozi Galabuzi, oyo mwana w'abalwanyi.

Abalwanyi bennyini nabo bassiddwa mu bifo nga ebyobulimi ne Operation Wealth Creation nga kirowoozebwa nti bajja kufaayo ku balwanyi bannaabwe n'okusitula ebitundu awaali olutalo.

Bannansiko abalala Museveni be yawadde ebifo kuliko; Brig. Felix Kulaigye, Brig. Robert Ocama, Brig. George Etyang, Brig. Stephen Oluka be yatutte mu Operation Wealth Creation.

Abalala abalondeddwa ye Maj. Gen. Francis Okello, akulira ettendekero lya National Defence College, yali muduumizi e Somalia mu 2008 ate Maj. Gen. Innocent Oula, eyaweereddwa eky'omumyuka w'akulira amakampuni ga UPDF, ne Brig. Simon Ocan, eyasindikiddwa ku kitebe kya Uganda e Switzerland baaliko abakulira abakozi mu AMISOM wakati wa 2010 ne 2013.

Brig. Joseph Balikuddembe, alondeddwa okuduumira ekibinja ekyokusatu, ye yaduumira ‘Operation Iron Fist' e Congo ne Sudan mwe baafufuggaliza Joseph Kony akulira LRA. Brig. Michael Kabango, agenze mu UN, yali muduumizi wa UPDF e Somalia mu 2018.

Yaduumirako UPDF mu South Sudan ne Central African Republic. Ate Col. Bahoko Barigye, gwe yasindise e Cuba, ye yali omwogezi wa AMISOM wakati wa 2008 ne 2011.

Enkyukakyuka ezaakoleddwa
Pulezidenti Museveni mu magye
zirimu ebikulu ebitabuusibwa
maaso. Alonze omukazi asoose
okukulira ekitongole ekyogerera
UPDF. Ono ye Brig. Flavia Byekwaso
enzaalwa y'e Gomba.
Ekikulu ekirala, ebifo
by'amagye eby'enkizo okuli
omuduumizi wa miritale
n'ekitongole ky'amagye ekikessi
(CMI) abitaddemu basajja be
abakambwe. Kino kitunuuliddwa
ng'abazze okugolola ettumba
abakozi b'effujjo naddala
ng'eggwanga lyetegekera akalulu
ka 2021.
Col Keith Katungi, akulira
miritale, yali muduumizi
w'amagye e Somalia gye
yava okusindikibwa e Kasese
nga kamanda w'ekibinja ekya
309 Brigade mu biseera embeera
we yatabukira ennyo
wakati w'amagye n'Omusinga
Wesley Mumbere.
Ate Brig. Gen. Richard
Otto, alondeddwa okumyuka
akulira CMI naye amaze ebbanga
ng'akuba emmundu e
Somalia.
Ekirala, bofiisa 15 ku
29, Pulezidenti b'awadde
obuvunaanyizibwa bonna
bakozeeko e Somalia nga
abaduumizi mu myaka 13
egiyise. Abamu nga Don
Nabasa baali mu kibinja
ky'eggye erikuuma Pulezidenti
erya Special Forces
Command (SFC).
Ate basajja ba Museveni
abaalwana naye mu nsiko
n'abeegatta ku NRA nga
Museveni yaakawamba
mu 1986, nabo abawadde
ebifo. Bano balina obumanyirivu
mu magye. Maj.
Gen. Sam Kiwanuka, eyava ne
Museveni mu nsiko aggyiddwa
e Mubende erabirirwa abajaasi
abafunye obuvune mu ntalo, kati
y'akulira ebikolebwa (Production)
n'embeera y'abajaasi (Welfare).
Yakolera mu nkambi e Masaka ne
ku kitebe kya Uganda mu Ethiopia.
Ono mulimi wa maanyi e
Masaka era asuubirwa okutereeza
ebyobulimi mu magye.
Maj. Gen. Moses Ddiba
Ssentongo, asikidde Kiwanuka e
Mubende yali ‘kadogo' wa NRA.
Yalwana olutalo lw'e ‘Kabamba
III'. Akoze mu bitongole ebyenjawulo
okuli okukulira ebyemizannyo
mu UPDF n'ekingole
ekivunaanyizibwa ku nkolagana
y'amagye n'abatali bajaasi ekya
Civil Military Relations.
Ate Maj. Gen. Hudson Mukasa,
aduumira eggye ezzibizi (Chief
of Staff Reserve Forces), azze
mu kya Maj Gen Eric Mukasa,
eyafa omwezi oguwedde. Mukasa
yeegatta ku NRA mu 1983 e
Luweero. Abalala abaali mu NRA
ye Brig. Gen. Jeff Mukasa, akulira
okulwanyisa obutujju (Counter
Terrorism), Brig. Matthew
Gureme, akulira okutendeka
amagye (Chief of Training) ne
Brig. Tingira Irumba kati Chief of
Policy and Plans.
Okwo kugattiddwaako abassiddwa
mu kitongole kya Operation
Wealth Creation. Kino abatunuulizi
bakitapuse
ng'okugezaako
okukendeeza ku
kwemulugunya
kw'abantu b'e Luweero
gattako abajaasi
abaalwana ne
Museveni abagamba
nti beerabirwa.
Minisita w'e
Luweero, Ssozi
Galabuzi, oyo
mwana w'abalwanyi.
Abalwanyi bennyini
nabo bassiddwa mu
bifo nga ebyobulimi
ne Operation
Wealth Creation
nga kirowoozebwa
nti bajja kufaayo ku
balwanyi bannaabwe
n'okusitula ebitundu
awaali olutalo. Bannansiko
abalala Museveni
be yawadde
ebifo kuliko; Brig.
Felix Kulaigye, Brig.
Robert Ocama, Brig.
George Etyang, Brig.
Stephen Oluka be
yatutte mu Operation
Wealth Creation.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nambooze ng'ayogera eri abavubuka ba People Power e Mukono ku NUP.

Nambooze yeekokkodde abamwe...

Nambooze yeegobyeko abamwekukuutirizaako mu kalulu olumala ne bajeema.

Engeri gy'ofuna mu nkoko z'...

ENKOKO z’amagi zirimu ssente mu kiseera kino, naddala ng’ozirabiridde obulungi ne zitandikira mu budde obutuufu...

Hajji Musa ng'annyonnyola

Enkoko z'ennyama 100, zikuk...

NGA buli omu asala entotto ku ngeri gy'asobola okuyingiza akasente mu nsawo okuyita mu mbeera y'ekirwadde kya Corona,...

Akulira  Tourism board Lilly Ajarova ng'ayogera ku by'obulimi

Akulira Uganda Tourism boar...

Akulira ekitongole kye byobulambuzi mu gwanga ekya Uganda tourism board Lilly Ajarova akubirizza abalimi mu gwanga...

Omubuulizi Moses Tumwebaze okuva ku St.Stephen’s ng’akwasibwa ebbaluwa.

Bannaddiini balaze engeri g...

BANNADDIINI basanyukidde ekya Pulezidenti Museveni okuggulawo amasinzizo ne balaga engeri gye bagenda okuluhhamyamu...