TOP
  • Home
  • Amawulire
  • By'obadde tomanyi ku Brig. Flavia Byekwaso omukazi asoose okukulira ekitongole ekyogerera UPDF

By'obadde tomanyi ku Brig. Flavia Byekwaso omukazi asoose okukulira ekitongole ekyogerera UPDF

Added 3rd August 2020

Okulondebwa kwa Brig. Byekwaso kumufudde omu ku bakazi abasinga amaanyi mu UPDF. Y’omu ku babaka 10 abakiikirira amagye mu Palamenti. Okuggyako Lt. Gen. Proscovia Nalweyiso, ono ye mukazi amuddirira okuba n’ekitiibwa ekya waggulu mu magye.

Brig. Flavia Byekwaso nga bamwambaza ennyota mu February 2019 e Mbuya.

Brig. Flavia Byekwaso nga bamwambaza ennyota mu February 2019 e Mbuya.
Ekifo kino kibaddemu Brig. Richard Karemire, abadde akola emirimu akasoobo ng'alwawo okuwa amawulire wadde eri bannamawulire.

Byekwaso yazaalibwa December 29, 1971 e Nsambwe mu Ggombolola y'e Kyegonza mu Gomba.

Yasomera mu St. Kalemba e Nazigo mu Kayunga gye yatuulira S4 ne S6. Yafuna diguli mu byobusuubuzi e Makerere mu 1996 n'agattako eyookubiri mu Public Administration and Management mu 2012. Amagye, yagayingira mu 1997 n'atendekebwa Jinja gye yava n'aweebwa obuvunaanyizibwa okukulira entambula y'abakulu mu magye.

Wakati wa 2014 ne 2016, ye yali dayirekita w'ebikozesebwa mu magye (Logistics). Mu 2007, yaddayo okutendekebwa mu Junior Staff College e Jinja.

Mu 2009, yasindikibwa e China mu Nanjing Military College gye yava mu 2011 n'agenda e Kimaka mu Jinja okusoma Senior Staff Course ate mu 2012, yaddayo e Makerere.

Mu 2016 ng'ali ku ddaala lya Lt. Colonel, yalondebwa okuba omu ku babaka 10 abakiikirira amagye mu Palamenti. Mu 2019, Byekwaso yakuzibwa okutuuka ku ddaala lya Brigadier.

Bba ye Charles Kyasanku. Babeera Kyengera ku lw'e Masaka. Kyasanku, yali mukulu wa ssomero lya St. Kalemba era yaliko ne ssentebe wa LC III e Mpigi.

Okulondebwa kwe yaguyise mukisa eri abakyala era ajja kufuba obutabaswaza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...