TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaagala bendera ya FDC ku Bwapulezidenti bamanyika leero

Abaagala bendera ya FDC ku Bwapulezidenti bamanyika leero

Added 3rd August 2020

ABA FDC bataddewo olwaleero n’enkya ku Lwokubiri nga nsalessale eri abaagala okukwatira ekibiina bendera ku kifo ky'Obwapulezidenti, okuggyayo empapula mu butongole.

Erias Lukwago kisuubirwa ayinza okukwatira FDC enkasi singa Besigye tggyaayo mpapula kwewandiisa kuvuganya

Erias Lukwago kisuubirwa ayinza okukwatira FDC enkasi singa Besigye tggyaayo mpapula kwewandiisa kuvuganya

BYA STUART YIGA

ABA FDC bataddewo olwaleero n'enkya ku Lwokubiri nga nsalessale eri abaagala okukwatira ekibiina bendera ku kifo ky'Obwapulezidenti, okuggyayo empapula mu butongole.

Kino kitegeeza nti mu nnaku zino ebbiri (leero n'enkya) aba FDC mwe bagenda okumanyira wa Dr. Kiiza Besigye w'ayimiridde ku ky'okwesimbawo mu kalulu ka 2021 kubanga by'azze ayogera bibadde bibuzaabuza.

Olumu agamba akyaliwo nnyo ate olulala n'awera nti takkiririza mu nkola ya kalulu okukyusa obukulembeze bwa Pulezidenti Museveni.

Singa Besigye taggyaayo mpapula mu nnaku zino ebbiri, kisuubirwa nti FDC etunuulidde abantu nga; Loodi Meeya Erias Lukwago, Wasswa Biriggwa, Patrick Oboi Amuriat n'omubaka wa Budadiri West mu Palamenti, Nathan Nandala Mafabi okulondako anaakwata bendera singa banaaba baggyeeyo empapula.

Bwe yali ayogerako eri bannakibiina kya FDC, ku mukolo gw'okwaniriza Lukwago, wiiki ewedde, Amuriat yategeeza nti balina abantu bangi be bataddeko amaaso era nga kwe bagenda okulonda anaakwatira ekibiina bendera, okuvuganya ku Bwapulezidenti mu kalulu akabindabinda.

Abamu ku ba FDC balowooza nti Besigye bw'anaaba tazze, agenda kuwagira Lukwago olw'engeri gye yamwerondera ku bumyuka bwa Pulezidenti mu kye bayita 'People's Government'.

Ate omwogezi wa FDC era nga ye mubaka akiikirira Munisipaali ya Kira, Ibrahim Semujju Nganda, yategeezezza Bukedde, nti ku Lwokusatu lwa wiiki eno, abavunaanyizibwa ku by'okulonda mu kibiina nabo bagenda kutuula okusalawo ku ngeri y'okufunamu abagenda okwesimbawo ku bifo eby'enjawulo mu konsitityuwensi 47, ezaatondeddwaawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basindikiddwa mu kkomera lw...

ABAASANGIBWA n’ebyambalo bya UPDF basindikiddwa mu kkomera.

Abaleppuka n'ogwokulya mu n...

KKOOTI yamagye e Makindye yejjeerezza abajaasi bataano ababadde bavunaanibwa okukola olukwe okuvuunika gavument...

Nuwashaba (ku kkono) lwe baamultwala ku kkooti okukola siteetimenti. Ku ddyo ye mwana Kyamagero eyattiddwa

Nuwashaba alaze bwe yafuna ...

OMUSAJJA gwe baakutte n’omutwe ku Palamenti ayogedde engeri gye yaweebwa ddiiru y’okusala omutwe gw’omwana n’alumiriza...

Nagirinya eyattibwa

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...