TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebizibu mu DP byeyongedde: Ekisanja kya Mao kyaweddeko wakati mu kuwakanyizibwa

Ebizibu mu DP byeyongedde: Ekisanja kya Mao kyaweddeko wakati mu kuwakanyizibwa

Added 3rd August 2020

EBIZIBU byeyongedde mu DP, ekisanja kya Nobert Mao bwe kiweddeko wakati mu kuwakanyizibwa abamu ku bammemba okuli ababaka ba Palamenti.

Pulezidenti  wa DP Nobert Mao ng’ayogera mu lukung’ana lwa bannamawulire mu Kampala.

Pulezidenti wa DP Nobert Mao ng’ayogera mu lukung’ana lwa bannamawulire mu Kampala.

BYA MOSES MULONDO

Entegeka z'akalulu ka 2021 ziri mu ggiya, kyokka bingi ebyandikoleddwa bitambula kasoobo olwa corona. Mao ne banne bajja mu buyinza nga July 25, 2015.

Ekisanja kyabwe eky'emyaka etaano kyaweddeko wiiki ewedde nga July 25. Ssaabawandiisi wa DP, Gerald Siranda yategeezezza Bukedde nti kituufu ekisanja kyaweddeko kyokka corona yatabudde enteekateeka zonna. "Twali tutegese okulonda mu May 2020 naye corona n'atabula enteekateeka.

Kati tutegeka olukiiko ttabamiruka ku nkomerero ya August. Ttabamiruka ajja kugonjoola ensonga z'obukulembeze," bwe yategeezezza. Kyokka Dr. Lulume Bayiga, eyavuganya ku kya pulezidenti wa DP mu 2015 era ng'ategeka okuddamu okwesimbawo yagambye nti, "DP kati terina bukulembeze, ekisanja kya Mao kyaweddeko. Konsitityusoni yaffe nnambulukufu ku nsonga eyo." "Ekibiina kya DP kiri mu katyabaga.

Mu mateeka, kati ekibiina tekirina bukulembeze," Lulume bwe yategeezezza Bukedde. N'agattako nti obukulembeze bwa DP obubaddeko tebukyalina buyinza kuteekateeka ttabamiruka wa kibiina.

"Olukiiko lwa National Council olubeeramu ababaka ba Palamenti aba DP n'abeesimbawo ku bubaka bwa Palamenti ne batayitamu kati lwe lulina obuyinza okuteekawo obukulembeze bw'ekibiina obw'ekiseera obusobola okutegeka ttabamiruka," Lulume bwe yagambye. Konsitityusoni ya DP ewa National Council obuyinza okulonda abakulembeze mu bifo ebikalu.

Dr. Lulume yagambye nti ebitundu ebisinga tebibaddeemu kulonda bakiise abeetaba mu ttabamiruka. Siranda abadde Ssaabawandiisi ku mulembe gwa Mao, Lulume agamba nti kati talina buyinza ate agenda mu maaso ne kye yayise okulonderera b'ayagala okwetaba mu tttabamiruka.

"Ekizibu kya Ssaabawandiisi okulonderera abaneetaba mu ttabamiruka kireetawo okusika omuguwa mu kibiina ne kivaako abakkiririza mu mazima n'obwenkanya okuli n'abanene ba DP okuzira ttabamiruka," bwe yagambye.

Ebizibu abissa ku Mao gwe yagambye nti bukya alondebwa abadde afuba okulaba nga National Council ya DP ekola nga palamenti y'ekibiina tetuuzibwa kubanga emirundi gye yatuuzibwa, Mao yafuna okuwakanyizibwa kungi olw'ebikyamu by'akola.

Nga corona tannajja, waliwo abaali bavuddeyo okuvuganya Mao okuli Lulume Bayiga, eyali omubaka omukazi owa Luweero mu Palamenti, Brenda Nabukenya, n'omubaka wa Butambala, Muwanga Kivumbi. Bino bijjidde mu kiseera nga Loodi Meeya Erias Lukwago avudde mu DP n'agenda mu FDC.

Ate ababaka ba Palamenti aba DP okuli Mathias Mpuuga owa Munisipaali y'e Masaka, Medard Seggona owa Busiro East, Florence Namayanja owa Bukoto East nga beegasse ku Bobi Wine. Brenda Nabukenya yategeezezza Bukedde nti Mao akoze kinene nnyo okuttattana ekibiina n'akikyayisa bangi.

"Bateekateeka ttabamiruka ku nkomerero ya August naye ate ebitundu ebisinga obungi tebibaddeemu kulonda nkiiko zivaamu bakiise. Kati abanaakiika mu ttabamiruka kitegeeza babalonderedde era mu nkola bw'etyo tetusobola kuba na kulonda kwa mazima na bwenkanya," Nabukenya bwe yategeezezza.

Eby'okwesimba ku kifo kya Pulezidenti wa DP yagambye nti abivuddemu kubanga abategeka ttabamiruka bakoze vvulugu mungi. "Mao naye yeesimbyewo ate nga yagoba omuteesiteesi wa DP, Sulaiman Kidandala ate nga konsityusoni ya DP oyo (omuteesiteesi) gw'ewa obuyinza okuteekateeka.

Mao nnakyemalira. Sisobola kwetaba mu bya kifere bya Mao," bwe yagambye. Mao yalondebwa mu ttabamiruka wa DP e Mbale mu February 2010 n'addamu okuwangula mu ttabamiruka mu July 2015 e Garuga. Kyokka Mao yagambye: Ssemateeka wa DP talina bbanga ggere abalondebwa ku bukulembeze lye balina kumalako.

Ekyo Dr. Lulume akimanyi naye ayagalako kukikolerako byabufuzi. Ssemateka agamba tulina okuba mu bukulembeze okutuusa ku ttabamiruka (Delegates Conference) addako. Yensonga lwaki Paul Kawanga Ssemogere yafuga.

Medard Ssegona, eyalondebwa nga Ssaabawandiisi, ab'ekiwayi ekiwakanya Mao agambye: ekisanja kya Mao kyaweddeko era ekibiina kiri mu buzibu. Byonna Mao by'akola tebiri mu mateeka. Mao Katonda yamutuwa nga kikemo.

Omuyima wa Mao ye Museveni gw'akolera okusaanyaawo DP." Agamba nti Mao ekibiina akikulembera n'abantu basatu bokka abaasigala ku kakiiko akafuzi (National Executive Committee). Abasinga baamuvaako, abalala baafa ate abalala yabagoba.

"National Council eyandibadde ekola mu kiseera kino nayo Mao agyewala kubanga abagirimu abatya, tasobola kubabuguyaza. Sikyalina budde bwa kwonoonera ku Mao. Ekibiina kya bajjajjaffe kiri mu nnaku era tugezaako okukisalira amagezi," bwe yategeezezza.

Dr. Sam Kazibwe, asomesa mu yunivasite e Mukono agamba nti amaanyi ga DP ensangi zino gali mu Buganda naye Mao okulemwa okukolagana n'abakulembeze ba DP abava mu Buganda kigenda kunafuya nnyo ekibiina.

Betty Nambooze agamba nti ssinga Mao abadde mwesimbu era ng'ayagala DP, yandibadde alekulira kubanga abakulembeze mu kibiina abasinga obungi tebakyamulinamu ssuubi.

EBIZIBU byeyongedde mu DP,
ekisanja kya Nobert Mao bwe
kiweddeko wakati mu kuwakanyizibwa
abamu ku bammemba okuli
ababaka ba Palamenti. Entegeka
z'akalulu ka 2021 ziri mu ggiya,
kyokka bingi ebyandikoleddwa
bitambula kasoobo olwa corona.
Mao ne banne bajja mu buyinza
nga July 25, 2015. Ekisanja kyabwe
eky'emyaka etaano kyaweddeko
wiiki ewedde nga July 25.
Ssaabawandiisi wa DP, Gerald
Siranda yategeezezza Bukedde
nti kituufu ekisanja kyaweddeko
kyokka corona yatabudde enteekateeka
zonna.
"Twali tutegese okulonda mu
May 2020 naye corona n'atabula
enteekateeka. Kati tutegeka
olukiiko ttabamiruka ku nkomerero
ya August. Ttabamiruka
ajja kugonjoola ensonga
z'obukulembeze," bwe yategeezezza.
Kyokka Dr. Lulume Bayiga,
eyavuganya ku kya
pulezidenti wa DP mu 2015
era ng'ategeka okuddamu
okwesimbawo yagambye
nti, "DP kati terina bukulembeze,
ekisanja kya Mao
kyaweddeko. Konsitityusoni
yaffe nnambulukufu ku
nsonga eyo."
"Ekibiina kya DP kiri mu
katyabaga. Mu mateeka,
kati ekibiina tekirina bukulembeze,"
Lulume bwe yategeezezza
Bukedde. N'agattako nti obukulembeze
bwa DP obubaddeko
tebukyalina buyinza kuteekateeka
ttabamiruka wa kibiina.
"Olukiiko lwa National Council
olubeeramu ababaka ba Palamenti
aba DP n'abeesimbawo ku bubaka
bwa Palamenti ne batayitamu kati lwe
lulina obuyinza okuteekawo obukulembeze
bw'ekibiina obw'ekiseera
obusobola okutegeka ttabamiruka,"
Lulume bwe yagambye.
Konsitityusoni ya DP ewa National
Council obuyinza okulonda
abakulembeze mu bifo ebikalu.
Dr. Lulume yagambye nti ebitundu
ebisinga tebibaddeemu kulonda
bakiise abeetaba mu ttabamiruka.
Siranda abadde Ssaabawandiisi
ku mulembe gwa Mao, Lulume
agamba nti kati talina buyinza ate
agenda mu maaso ne kye yayise
okulonderera b'ayagala okwetaba
mu tttabamiruka.
"Ekizibu kya Ssaabawandiisi
okulonderera abaneetaba mu ttabamiruka
kireetawo okusika omuguwa
mu kibiina ne kivaako abakkiririza
mu mazima n'obwenkanya
okuli n'abanene ba DP okuzira
ttabamiruka," bwe yagambye.
Ebizibu abissa ku Mao gwe
yagambye nti bukya alondebwa
abadde afuba okulaba nga National
Council ya DP ekola nga
palamenti y'ekibiina tetuuzibwa
kubanga emirundi gye yatuuzibwa,
Mao yafuna okuwakanyizibwa
kungi olw'ebikyamu by'akola.
Nga corona tannajja, waliwo
abaali bavuddeyo okuvuganya
Mao okuli Lulume Bayiga, eyali
omubaka omukazi owa Luweero
mu Palamenti, Brenda Nabukenya,
n'omubaka wa Butambala,
Muwanga Kivumbi.
Bino bijjidde mu kiseera
nga Loodi Meeya Erias
Lukwago avudde mu
DP n'agenda mu
FDC. Ate ababaka
ba Palamenti aba
DP okuli Mathias
Mpuuga owa
Munisipaali y'e
Masaka, Medard
Seggona owa
Busiro East, Florence
Namayanja
owa Bukoto East
nga beegasse ku
Bobi Wine.
Brenda Nabukenya
yategeezezza
Bukedde nti Mao akoze
kinene nnyo okuttattana ekibiina
n'akikyayisa bangi.
"Bateekateeka ttabamiruka
ku nkomerero ya August naye
ate ebitundu ebisinga obungi
tebibaddeemu kulonda
nkiiko zivaamu bakiise. Kati
abanaakiika mu ttabamiruka
kitegeeza babalonderedde
era mu nkola bw'etyo tetusobola
kuba na kulonda kwa
mazima na bwenkanya," Nabukenya
bwe yategeezezza.
Eby'okwesimba ku kifo kya
Pulezidenti wa DP yagambye
nti abivuddemu kubanga abategeka
ttabamiruka bakoze vvulugu
mungi.
"Mao naye yeesimbyewo ate
nga yagoba omuteesiteesi wa DP,
Sulaiman Kidandala ate nga konsityusoni
ya DP oyo (omuteesiteesi)
gw'ewa obuyinza okuteekateeka.
Mao nnakyemalira. Sisobola kwetaba
mu bya kifere bya Mao," bwe
yagambye.
Mao yalondebwa mu ttabamiruka
wa DP e Mbale mu February
2010 n'addamu okuwangula
mu ttabamiruka mu July 2015 e
Garuga. Kyokka Mao yagambye:
Ssemateeka wa DP talina bbanga
ggere abalondebwa ku bukulembeze
lye balina kumalako. Ekyo Dr.
Lulume akimanyi naye ayagalako
kukikolerako byabufuzi. Ssemateka
agamba tulina okuba mu bukulembeze
okutuusa ku ttabamiruka
(Delegates Conference) addako.
Yensonga lwaki Paul Kawanga
Ssemogere yafuga.
Medard Ssegona, eyalondebwa
nga Ssaabawandiisi, ab'ekiwayi ekiwakanya
Mao agambye: ekisanja
kya Mao kyaweddeko era ekibiina
kiri mu buzibu. Byonna Mao
by'akola tebiri mu mateeka. Mao
Katonda yamutuwa nga kikemo.
Omuyima wa Mao ye Museveni
gw'akolera okusaanyaawo DP."
Agamba nti Mao ekibiina akikulembera
n'abantu basatu bokka
abaasigala ku kakiiko akafuzi
(National Executive Committee).
Abasinga baamuvaako, abalala
baafa ate abalala yabagoba.
"National Council eyandibadde
ekola mu kiseera kino nayo Mao
agyewala kubanga abagirimu
abatya, tasobola kubabuguyaza.
Sikyalina budde bwa
kwonoonera ku Mao. Ekibiina
kya bajjajjaffe kiri mu nnaku era
tugezaako okukisalira amagezi,"
bwe yategeezezza.
Dr. Sam Kazibwe, asomesa mu
yunivasite e Mukono agamba nti
amaanyi ga DP ensangi zino gali
mu Buganda naye Mao okulemwa
okukolagana n'abakulembeze ba
DP abava mu Buganda kigenda
kunafuya nnyo ekibiina.
Betty Nambooze agamba nti
ssinga Mao abadde mwesimbu era
ng'ayagala DP, yandibadde alekulira
kubanga abakulembeze mu
kibiina abasinga obungi tebakyamulinamu
ssuubi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basindikiddwa mu kkomera lw...

ABAASANGIBWA n’ebyambalo bya UPDF basindikiddwa mu kkomera.

Abaleppuka n'ogwokulya mu n...

KKOOTI yamagye e Makindye yejjeerezza abajaasi bataano ababadde bavunaanibwa okukola olukwe okuvuunika gavument...

Nuwashaba (ku kkono) lwe baamultwala ku kkooti okukola siteetimenti. Ku ddyo ye mwana Kyamagero eyattiddwa

Nuwashaba alaze bwe yafuna ...

OMUSAJJA gwe baakutte n’omutwe ku Palamenti ayogedde engeri gye yaweebwa ddiiru y’okusala omutwe gw’omwana n’alumiriza...

Nagirinya eyattibwa

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...