TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ow'ebbuba asse mukazi we ng'abaana balaba! Amulanze kudda waka matumbibudde

Ow'ebbuba asse mukazi we ng'abaana balaba! Amulanze kudda waka matumbibudde

Added 3rd August 2020

OMUSAWO w'eddwaaliro lya IHK yakomyewo ku ssaawa 5:00 ez’ekiro era yasanze bba yatabuse dda! Bba yayongedde okuva mu mbeera ng’alaba waliwo emmotoka ekyukira mu luggya era ng’eno y’emmotoka eyabadde ekomezzaawo mukazi we.

maka ga ba Shimanya. Mu katono, ye Shimanya ne Kakai gwe yasse

maka ga ba Shimanya. Mu katono, ye Shimanya ne Kakai gwe yasse

Olutalo lwatandikidde awo era omusajja n'atta mukazi we nga n'abaana balaba! Viola Kakai, abadde amaze emyaka egisukka mu 10 ng'ajjanjabira mu limu ku malwaliro ag'ebbeeyi mu ggwanga erya International Hospital Kampala e Namuwongo, bamulesezza abaana basatu ng'omukulu wa myaka 13 ate asembayo obuto wa myaka esatu gyokka.

ABAANA BATTOTTODDE ENGERI KITAABWE GYE YASSE NNYAABWE

Embeera ya Corona bwe yatandika, omulimu gwa Simon Shimanya 46, gwaggwaawo kubanga yali musomesa. Abadde abeera waka era mukazi we, Viola abadde omuzaalisa mu ddwaaliro, n'atwala obuvunaanyizibwa bwonna obulabirira awaka omuli n'okuliisa ffamire.

Kyokka Simon yatandika okwemulugunya ku kya Viola okukomawo ekiro ennyo, era ensonga ne zituuka ne ku LC I e Bbumbu - Kiteezi mu Wakiso.

Viola azze annyonnyola bba nti emirimu gy'obusawo gye gimulwisa ku mulimu, kyokka ng'omusajja alumiriza nti yatandika okubuuka n'abasajja abalala nti era asooka kucakalako nabo n'alyoka adda awaka. Simon yafulumye ali mu paajama mu kiro ky'Olwomukaaga, n'atandika olutalo olwavuddemu obutemu.

Omwana omukulu yattottoledde Bukedde nti: Dadi yabadde mu kisenge nga yeebase. Bwe yawulidde emmotoka eyaleese Mummy ng'etuuse mu luggya, yavuddeyo mu kisenge n'abandula oluggi n'akwata ejjinja n'atandika okukuba emmotoka nga bw'agamba nti, "Nkooye okunjooga."

Omwana yayongedde okuttottola nti: Mummy yavudde mu mmotoka n'agezaako okukkakkanya Dadi nga bw'amugamba nti, "Lwaki onswaza! Omuntu gw'okubira emmotoka mukwano gwange; nze mmweegayiridde okundeetako nga ndaba obudde buyise nnyo."

Daddy yakomyewo mu nnyumba nga bw'agamba owemmotoka nti, "Linda awo nkulageko" era omusajja ow'emmotoka bwe yawulidde ebyo, n'asimbula emmotoka ye n'avuga kapaalo. Olutalo olwaddiridde lwabadde mu nnyumba.

Omwana yayongedde okuttottola nti: Mummy yagezezzaako okunnyonnyola Dadi nti afuba okukola ennyo atuukirize obuvunaanyizibwa bw'awaka bwonna, naye Dadi ateeberezaamu birala.

Dadi yagenze butereevu mu ‘sitoowa' n'aggyayo akabazzi ak'ekyuma era maama bwe yakalabye n'atandika okulaajana nti: Simon tonzita; abaana baffe bakyali bato….

Abaana awo we baagerezzaako okukwata kitaabwe nga balaba amaliridde okutta nnyaabwe; kyokka omusajja yasukumye omwana omukulu n'agwa wansi ate omwana owookubiri n'amukoona omuyini gw'embazzi mu kyenyi naye n'agwa eri nga bw'akaaba.

Abaana bwe baavudde wansi, badduse bakaaba nga bwe bayita abantu nti, "Mutuyambe, Dadi ali mu kutta Mummy."

Bamulekwa.

OMUSAJJA ABADDE N'EBBUBA ERISUSSE

Muliraanwa Ramadhan Isiko yagambye nti baagenze okutuuka, nga Viola amaze okuttibwa era ng'ali mu kitaba kya musaayi.

Simon yadduse ali mu paajama era n'afumba omutwe nga buli gw'asanga mu kkubo amugamba nti, "Mundabidde ku mmotoka? Omusajja abadde mu mmotoka anzitidde mukazi wange." Abatuuze abaabadde bazze okudduukirira enduulu baakyusizza ate olwo ne batandika kugoba mmotoka eyabadde ekomezzaawo Viola era Simon n'akozesa omukisa ogwo okubomba era ne we bwazibidde eggulo nga poliisi ekyamuyigga.

Isiko yagambye nti Simon abadde asusse okukuba mukazi we era nga buli lw'amukuba, addukira ewa Isiko kyokka ate nakyo ne kivaako obuzibu nga Simon atandise okukissa ku Isiko nti amusigulira omukazi era y'amuwaga. Yagambye nti Simon abadde n'ebbuba erisusse nga buli musajja gw'alabye anyumya ne Viola alowooza amuganza.

Kigambibwa nti Viola ne Simon baali baayawula ebisenge era bwe baagenda ku LC I nga June 3, 2020 ensonga eyo baagyanjulayo wabula nti omukazi n'annyonnyola nti Simon yali yafunayo omukazi omulala era Viola n'annyonnyola nti tayinza kuteeka bulamu bwe mu matigga kubanga tamanyi oba omukazi Simon gwe yafunayo mulwadde oba mulamu. Wabula Simon yabyegaana n'alumiriza Viola okufunayo abasajja abalala ab'ebbeeyi nti era n'atandika n'okumujolonga olw'okuba takyakola era ng'omukazi y'alabirira awaka.

Amina Busingye, owaamawulire ku kakiiko ky'ekyalo yagambye nti abafumbo bano babadde balwana enkya n'eggulo era kyeyongera nnyo mu biseera bya corona era babadde bafuba okubatabaganya ne balabika ng'abakkakkanye era babadde tebasuubira nti embeera eneevaamu obutemu.

Ssentebe Godfrey Zaake yategeezezza nti obutakkaanya bw'abafumbo abo bwatandika mu 2013 era ensonga ne zituukako ne ku poliisi, era ne baba ng'abakkaanyizza wabula entalo zaagenda bugenzi mu maaso era ensonga ne zituuka ne mu kkooti e Kasangati.

Omumyuka w'omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti bayigga Simon n'asaba abalina amawulire gonna agayinza okuyambako mu kumukwata batuukirire poliisi. Yagambye nti bw'anaakwatibwa, waakuvunaanibwa ogw'obutemu.

Ab'eddwaaliro lya IHK baatutte omulambo gw'omukozi waabwe e Manafwa gy'agenda okuziikibwa olwaleero.

Mu April w'omwaka oguwedde, omusawo wa IHK omulala Dr. Catherine Agaba yatemulirwa mu nnyumba we yali asula e Muyenga era omulambo ne gusuulibwa mu kinnya kya kazambi. Omukuumi w'ekifo ekyo, Ronald Obangakene yakwatibwa n'ategeeza nti yagezaako okuganza Catherine era bwe yamugaana kwe kusalawo amutte.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...