TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gwe baakwatira mu Curfew ne bamusiba e kigo akubye oluyimba ku mbeera y'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne bamusiba e kigo akubye oluyimba ku mbeera y'ekkomera

Added 3rd August 2020

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye Geyeena y'oku Nsi kkomera.

Justine Nalweyiso omuyimbi amannyikiddwa nga Juice Jussy  ayimbira mu kibiina kya Tindex Empire ekya Tinatine yakwatibwa poliisi ya CPS nga 22 April  olw'okumenya ekiragiro kya pulezidenti n'atambula mu budde obutakirizibwa , Nalweyiso alina ennyimba okuli olwa Baby Ndunnya , Nkwagala kufa , You And Me ne Yeerere ne  ndala Attottola bwati bye yayitamu:

Nnali nva  Nakasero  nga nzira Kawempe gye nsula mba ntuuka ku bitaala bya Golf ku ssaawa emu n'ekitundu eyakawungeezi kabangaali ya Poliisi ne nzira mu maaso ne bankwata ku kabangaali kwaliko abalala nange ne banninyisa  baatutwala ku CPS twamalawo enaku biri ne batutwala mu kkooti ya Buganda Road

Nkuze kutuuka wano mbadde sisibwangako n'abalamuzi bulijjo mbadde mbalabira ku mikutu gy'amawulire naye ku luno n'amulaba maaso ku maaso n'ansomera omusango n'agukkirizza omulambuzi nansindika mu kkomera e Kigo nkole ekibonerezo kya myezi 4 .

Nga batutuusizza e Kigo mu kkomera bampa obukulembeze  obulamu bwe kkomera bubadde buzibu  nnyo emmere nga teriika  olw'okuba oba musibe ng'olina okugirya okusoboola okukuuma obulamu, ebijanjaalo nga birimu kawukuumi , akawunga nga tekalina njawulo nakyaku olumu nakalyanga ne nsangamu ebikongoliro.

Twakeeranga ssaawa 11 ku paledi ne batugabira emirimu abagenda okulima , nabagenda okutema ebisagazi bye Nte ku ssaawa 4 ez'okumakya nga batuwa obuugi ne muddaayo ne mukola ng'ekisana tukirya ssaawa 10 ng'okuddamu okulya nkeera.

 K ssaawa 12 eza kawungeezi ng'olwo obwaffe buzibye mulina kuba munda kwebaka olwokuba ndi muyimbi  nafunanga akadde nenyimbiramu basibe banange .Mpozi kyenabaayo ekirungi  twasulanga ku mifaliso  tewali kusosola  baatusiba n'abazungu n'aba Chaina naye ffena batuyisa kimu .

Embeera gye nayitamu nga ndi mukkomera yanviriddeko okuyiiya oluyimba olugamba nti "EKKOMERA YE GEYEENA Y'OKU NSI" nga mbuuzaayo olunaku lumu banyimbule baatutwala okutema ebisagazi bye Nte twayita mu mazzi nga gatukoma  mu bulago nga gawunnya , natandiika okusala ebisagazi naye mukwano gwange eyandi mu maaso ye yalaba omusota nga gwasamizza omutwe gumbogye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...