TOP

Omuntu owa 5 afudde Corona

Added 4th August 2020

UGANDA efiiriddwa omuntu owookutaano, ekyongedde okweraliikiriza nti obulwadde bwa Corona bukyali bwa maanyi mu ggwanga. Omufu abadde mutuuze w’e Kibuli nga wa myaka 46, ng’asibuka Buyindi.

Dr. Mwebesa

Dr. Mwebesa

UGANDA efiiriddwa omuntu owookutaano, ekyongedde okweraliikiriza nti obulwadde bwa Corona bukyali bwa maanyi mu ggwanga. Omufu abadde mutuuze w'e Kibuli nga wa myaka 46, ng'asibuka Buyindi.

Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa Dr. Henry Mwebesa, akulira eby'obujjanjabi mu Minisitule y'Ebyobulamu, kyategeezezza nti omugenzi ye yeetwala mu ddwaaliro e Kibuli ku Lwomukaaga, ng'ayokya nnyo, alina ekifuba era nga tasobola kussa bulungi. Abasawo baamwekengedde ne bamwongerayo e Mulago ayongera okwekebejjebwa, kyokka n'afiira mu kkubo.

Kyazuuliddwa nti omugenzi abadde n'obulwadde bwa puleesa wabula nga yava dda ku ddagala, kw'ogatta obwa asima bw'abadde amaze nabwo emyaka 10. E Mulago yaggyiddwaako omusaayi ne guweerezebwa mu bifo omuli; Makerere University, Uganda Virus Research Institute, ne Central Public Health Labaratories, gye kyazuuliddwa nti yabadde ne Corona.

Waliwo n'abantu abalala 13 abaakebereddwa ne basangibwa ne Corona nga baavudde Buikwe ne mu bitundu bya Kampala. Abamu baabadde baddereeva ba mmotoka enneetissi z'emigugu. Kati omuwendo gw'abaakwakwatibwa Corona mu Uganda guweze 1,195, nga ku bano 1,070 bajjanjabiddwa ne bawona

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Abawagizi ba Rukutana nga bajaganya

Engeri ebya Rukutana gye bi...

EBY’OBULULU bw’e Rushenyi bikyuse minisita Mwesigwa Rukutana bw’alangiddwa ng’eyawangudde akalulu k’essaza lino...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....