TOP

Ebizuuse ku yasse owa IHK

Added 4th August 2020

Omugenzi Kakai (ku kkono) ng’ali ne famire ye.

Omugenzi Kakai (ku kkono) ng’ali ne famire ye.

OMUSAJJA eyasse omusawo w'eddwaaliro lya International Hospital Kampala (IHK) abadde amaze ebbanga ng'amwewerera okumutta eggulire lirabikire ku mawulire Agataliiko Nfuufu ku Bukedde TV! Mu kusika omuguwa okuludde mu maka ga Simon Shimanyi 46, n'omusawo Viola Kakai, baakola n'obuwandiike ku LC I ey'e Bbumbu mu muluka gw'e Kiteezi mu Wakiso, nga buli ludda lulaga ebirunyiga.

Shimanyi yassaawo obukwakkulizo mukaaga bw'aba waakuddamu okukwatagana obulungi ne Kakai, ate omusawo naye n'alaga ebimunyiga era by'ayagala bba akyuse. Kakai, abadde omuzaalisa ku IHK, yaziikiddwa eggulo e Manafwa wakati mu miranga n'okusaba poliisi ekole kyonna ekisoboka okukwata Shimanyi avunaanibwe okutta mukazi we, n'amulesa abaana abato okuli n'ow'emyaka esatu gyokka.

EBIRI MU KAKALU KE BAASEMBYE OKUKOLERA KU LC Kkopi y'akakalu ke baakola ku LC I mu maaso ga ssentebe Godfrey Zzaake, nga June 3, bwe buno: Kalaga obukwakkulizo obwassibwawo buli ludda, okutereeza amaka gaabwe. Shimanyi yanokolayo erinnya ly'omusajja Ssebuufu gwe yayogerako nti enkolagana ye ne Kakai etuuse wala era bwe baba baakutereera, talina kuddamu kubalaba bombi. Obukwakkulizo bw'omusajja: 1Viola okutereeza ensonga z'ekisenge (kubanga yali asula mu baana), ssaako okumuwa obudde obumala mu nsonga z'omukwano.

2Omukazi okudda awaka nga tezinnawera ssaawa 4:00 ez'ekiro, wabula Kakai n'asaba akomewo wakati w'essaawa 5:00 ne 5:30 kubanga annyuka buyise. Bakkaanya omukazi asookenga kukubira bba ssimu bw'aba anadda zisusse essaawa 4:00 ez'ekiro.

3Okukomya okweraguza n'okutwala eddagala mu maka ge. 4Okukomyawo endagaano ya poloti gye baagula, Kakai gye yali yatwala nga yeekengedde nti omusajja ayinza okutundawo kubanga abadde takyakola olwa Corona. 5We baakolera akakalu kano, omugenzi yali yaggyawo abaana awaka era Shimanyi yamulagira okubakomyawo. 6Yamukuutira okwesonyiwa Ssebuufu gwe yali alumiriza nti amusigulira omukazi.

Kigambibwa nti Shimanyi okutta Kakai yamuteeberezza nti omusajja eyabadde amukomezzaawo mu mmotoka muganzi we, wabula wadde omugenzi yamunnyonnyodde nti mukwano gwe, eyamuyambye kubanga wabadde teri takisi, wadde bodaboda byonna byamuyise bbali.

Ssaawa zaabadde zisusse 5:00 ez'ekiro nga za kafiyu. Zzaake yagambye nti Ssebuufu mutuuze ku kyalo kye, wabula si ye yabadde ne Kakai ku Lwomukaaga ekiro. Yagasseeko nti Ssebuufu avuga mmotoka Pick-up ate eyakomezzaawo omugenzi yabadde Premio. Yannyonnyodde nti endagaano ya poloti Viola gye yali yatwala y'emu ku bibadde bivaako olutalo nti era omukazi yabagamba nti yagitwala Mbale wabula yattiddwa nga tannagikimayo.

OKWEMULUGUNYA KW'OMUKAZI Omukazi naye yalina ebimunyiga bye yayanjulira LC omuli omusajja okumukubanga enkya n'eggulo n'okumuvuma n'amujolonga mu lujjudde nga n'abaana baabwe balaba, kw'ossa okufunayo abakazi abalala.

Yagamba nti baasalawo n'okwekebeza akawuka akaleeta mukenenya nti ebyava mu musaayi ne biraga nti omusajja akalina ate omukazi nga takalina, era kwe yasiinziira okuzira omusajja aleme kuteeka bulamu bwe mu matigga. POLIISI KY'EGAMBA Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti, Shimanyi yali asomesa Kasangati P/S n'akyusibwa n'atwalibwa e Mbarara era Corona gye yamusanga amasomero ne gaggalwa. Yagambye nti bakyamuyigga, n'asaba abantu okutuukirira poliisi nga bamulabyeko

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...