TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abayimbi balaze ekiddako ku ky'amateeka agaabasiddwaako

Abayimbi balaze ekiddako ku ky'amateeka agaabasiddwaako

Added 4th August 2020

OMUBAKA w’abakozi era eyali Minisita omubeezi ow’ebyemizannyo, Charles Bakkabulindi akung’anyizza abayimbi, bannakatemba abeegattira mu bibiina ebisoba mu 20 batwale okwemulugunya kwabwe ku mateeka g’abayimbi ne bannakatemba mu Palamenti. Bakkabulindi eyasisinkanye abayimbi, bannakatemba, bapulomoota n’abakwatibwako amateeka abalala ku Pope Paul ku Ssande, yabagambye nti mu Palamenti we bagenda okukunyiza minisita ababuulire lwaki yaleeta amateeka amakakali abayimbi ne bannakatemba ge basuubira nti gagenda kubaggya mu bizinensi nga gatta ebitone byabwe.

Emma Carlos, Kaye Wisdom, Hannington Bugingo , Anita Sseruwagi, Charles Bakkabulundi ne Emma Carlos.

Emma Carlos, Kaye Wisdom, Hannington Bugingo , Anita Sseruwagi, Charles Bakkabulundi ne Emma Carlos.

OMUBAKA w'abakozi era eyali Minisita omubeezi ow'ebyemizannyo, Charles Bakkabulindi akung'anyizza abayimbi, bannakatemba abeegattira mu bibiina ebisoba mu 20 batwale okwemulugunya kwabwe ku mateeka g'abayimbi ne bannakatemba mu Palamenti. Bakkabulindi eyasisinkanye abayimbi, bannakatemba, bapulomoota n'abakwatibwako amateeka abalala ku Pope Paul ku Ssande, yabagambye nti mu Palamenti we bagenda okukunyiza minisita ababuulire lwaki yaleeta amateeka amakakali abayimbi ne bannakatemba ge basuubira nti gagenda kubaggya mu bizinensi nga gatta ebitone byabwe.

Baakoze ‘notisi' nga bakulembeddwa ebitongole okuli ekya Copyright Institute of Uganda ekitaasa ebiyiiye ekya Center for Constitutional Governance ne Chapter Four Uganda era ebyasabiddwa Palamenti okutunula mu mateeka agaakolebwa mu 2019 okulung'amya abayimbi ne bannakatemba nga mwe muli okuggyamu agamu ku mateeka agabalemesa okukola n'okukyusa mu gamu ge baayise agalumira. OBUWAAYIRO OBULUMA ABAYIMBI

Ge basinga obutayagala mwe muli okusooka okutwala ewa minisita ebiyiiye omuli oluyimba, omuzannyo n'ekintu kyonna ekigwa mu kkowe eryo. Ekiyiiyiziddwa kirina okusooka okuzzibwa mu Lungereza minisita lw'ategeera alyoke asalewo okukkiriza kiragibwe eri abantu oba okukigaana.

Ggwe nnannyini kiyiiye ggwe osasulira buli mukungu eyeekebejja ekiyiiye kyo n'emitemwa emirala gyonna.

Bweruba luyimba lulina okwekebejjebwa ku buli mutendera, omuli okuluwandiika, okulussaamu ebidongo, n'okuluzannyamu video era ng'abakungu bonna abo abateekwa okusasulwa nnyini luyimba. Gwe mulundi ogusoose Bakkabulindi okusisinkana abayimbi ne bannakatemba abamutwala ng'omuyima waabwe mu bibiina mwe beegattira era nga mu lukiiko olwatudde ekiro, lwetabiddwaamu abakiise bana abaalondeddwa nti ne mu Palamenti be bamu ku bajja okugenda batuule mu ‘gallery' abagenyi abaabulijjo gye batuula.

Kwabaddeko Kaye Wisdom amyuka akulira abayimbi b'ennyimba z'eddiini, Hannington Bugingo ow'ekibiina kya Free My Heart Campaign ekirwanirira okuggyawo amateeka ago ate y'akulira aba komedi, Anita Sseruwagi omuwandiisi wa Artistes' union ekibiina ky'abakozi abayimbi mwe beegattira ne Emma Carlos ssentebe wa Managers' Association. Ebibiina ebirala ebyataddeyo okwemulugunya kwabyo ku mateeka ge baagala Sipiika wa Palamenti, Alitwala Rebecca Kadaga n'ababaka abalala bagabataseeko kuliko; Uganda Musicians Association (UMA), Uganda National Cultural Forum, Association of Film Practitioners Uganda, Audio Producers Association of Uganda n'ebirala.

Wabula mu by'okuwakanya amateeka waliwo abalina ebirowoozo eby'enjawulo nga Charles James Ssenkubuge agamba nti gonna si mabi kubanga n'ebyekitongole kya Uganda Communications Commission (UCC) ekigenda okusookanga okuwuliriza mu mizannyo n'enyimba nga tezinnayita, byaliwo ku mulembe gwa Iddi Amin ne Pulezidenti Museveni agenda okutuuka mu buyinza nga weebiri.

Yawadde eky'okulabirako ky'emizannyo gya Bakayimbira ebiri Gavumenti gye yasooka okutunulamu mu 2011 ne 2012 okuli Majambere, State of the Nation ne bagireka ne gizannyibwa kubanga obubaka baali babusabise nga kizibu omuntu owaabulijjo okubulaba. Yakubirizza banne nti wadde baagala gakyukemu nabo beetaaga bakweke obubaka obwo ekitongole kibitunulemu nga nakyo tekitegeera makulu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...