TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebyapa bya bbanka ezaggalwa bimuyisizza ku poliisi

Ebyapa bya bbanka ezaggalwa bimuyisizza ku poliisi

Added 4th August 2020

Ssekabira

Ssekabira

OMUKUNGU wa bbanka enkulu Benedict Ssekabira ayolekedde okukwatibwa olw'okuziimula simanisi za poliisi okwennyonnyolako ku mayitire g'ebyapa bya bbanka ezaggalwawo bbanka Enkulu. Omwogezi w'ekitongole kino, Charles Mansio Twine yagambye nti, Ssekabira teyalabiseeko nga bwe baabadde bamuyise n'agamba nti, bo nga poliisi bennyamivu olw'abantu abali mu ofi isi ennene abatawa mulimu gwa poliisi kitiibwa. Ebbaluwa eyita Ssekabira ku poliisi yawandiikiddwa nga July 27 n'eteekebwako omukono gw'ofi isa Paul Katto Tumuhimbise ku lwa Dayirekita w'ekitongole kya Poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango. Tumuhimbise, ebbaluwa eno yagiwandiikidde Gavana wa bbanka enkulu, Emmanuel Mutebire ng'amusaba Ssekabira okweyanjula ku poliisi nga July 30, 2020 kyokka Sekabira teyalabiseeyo. Yabadde ayitiddwa okunnyonnyolako ku byapa bya bbanka ezaggalwa, era omuwaabi wa Gavumenti yabadde amaze ffayiro y'emisango okugikakasa ng'alagidde Sekabira atwalibwe mu kkooti. Poliisi okuyita Ssekabira yeewozeeko, kiddiridde akakiiko ka Palamenti akalondoola ebitongole bya gavumenti aka Parliamentary Committee on Commissions, Statutory Authorities and State Enterprises (COSASE) okuwandiikira IGP Martins Okoth Ochola nga bamusaba amunoonyerezeeko. Ssekabira, mu November 2018, ababaka abatuula ku kakiiko ka COSASE, baamukunya annyonnyole engeri gye yali aweereddwa omulimu gwa Director for Financial Markets Development Coordination mu bbanka enkulu. Abakungu ba bbanka enkulu abaali bakulembeddwa Mutebire, baali bagenze mu kakiiko okunnyonnyola ku kwemulugunya okwali kukoleddwa Ssaababazi w'ebitabo bya Gavumenti ku bbanka musanvu ezaggalwa bbanka enkulu. Ababaka baasaba Ssekabira annyonnyole engeri ebintu bya bbanka zino gye byali byatundiddwa nga bisaliddwako ebitundu 93 ku 100 bwe yalemwa, ne bamulagira okubalaga ebbaluwa kwe baamuweera omulimu mu bbanka enkulu. Wabula oluvannyuma yamala n'agitwala mu kakiiko kyokka nga terambika buvunaanyizibwa bwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...