TOP

Aba FDC bali mukusoberwa

Added 4th August 2020

Bamwenda ng'ayogerako eri abamawulire e Najjanankumbi.

Bamwenda ng'ayogerako eri abamawulire e Najjanankumbi.

OKUSOBERWA kweyongedde mu kibiina kya FDC ku muntu anaakwatira ekibiina bendera ku kifo ky'Obwapulezidenti. Eggulo abakulira ekibiina baalangiridde ng'enteekateeka y'okuwandiisa abaagala okukwatira FDC bendera ku kifo ekyo bwe kuyimiriziddwa.
Guno gwabadde mulundi gwakubiri okukyusa enteekateeka y'okuwandiisa abaagala okuvuganya ku kifo ekyo. Baasooka kwongezaayo nteekateeka eno eyalina okumalirizibwa ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde era ku mulundi ogwo baawa ensonga ya Iddi eyakwatagana n'olunaku lwe baalina okumalirizaako okuwandiisa abaaga ekifo ekyo.
Baasalawo okwewandiisa kubeerewo ku Mmande n'Olwokubiri lwa wiiki eno era kibadde kisuubirwa nti byakuggwa olwaleero, wabula bammemba kyababuuseeko eggulo ng'abakulembeze b'ekibiina balangiridde nti entegeka eyimiriziddwa era tewali muntu noomu gwe baawandiise ku kifo ekyo.
Eky'enjawulo ku mulundi guno, tebaalaze na lunaku lwonna lwe bagenda kuwandiisizaako baagala kifo ekyo.
Ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda mu kibiina kino, Boniface Toterebuka Bamwenda yagambye nti ekibiina kyawandiikira ab'akakiiko k'eggwanga ak'ebyokulonda nga baagala bababuulire ebinaagobererwa mu kampeyini z'okuvuganya ku bwa Pulezidenti kyokka tebafunanga kuddibwamu.
Ebimu ku bye baagala bannyonnyolwe oba kinaasoboka abantu baabwe abeesimbyewo okusisinkana abalonzi baabwe mu bitundu by'eggwanga ebitali bimu nga tewali abakuba ku mukono, n'okukuba enkung'aana mu kampeyini.
Bamwenda yagambye nti tebagenda kutegeka kusunsula banaavuganya ku kifo kino okutuusa ng'akakiiko k'ebyokulonda ak'eggwanga kakasizza nti abanaavuganya bajja kukkirizibwa okukuba enkungaana n'okwogera obutereevu n'abalonzi.
Yagasseeko nti akakiiko k'ekibiina akafuzi kagenda kutuula ku Lwokutaano nga August 7, 2020 okusalawo eky'enkomeredde ku nsonga eno.
OKUSOBERWA KULIMU EBIBALO
BYA BESIGYE
Dr. Kizza Besigye azze akwatira FDC bendera okuva mu 2001 kyokka tekinnamanyika oba anaakomawo omulundi ogwokutaano.
Ensonda mu kibiina zaategeezezza nti Besigye akyabatadde mu kattu kubanga tannaba kuvaayo busimbalaala kulaga oba agenda kwesimbawo oba yasazeewo okuva mu lwokaano.
Abakulembeze okuli Ssaabawandiisi w'ekibiina Nandala Mafabi ne Betty Aol Ochan akulira oludda oluvuganya gavumenti mu Palamenti baalaga nti bwe baasisinkana Besigye yabakakasa nga bw'atagenda kuddamu kwesimbawo mu kalulu ka 2021, wabula ate oluvannyuma n'alaga ng'atannaba kusalawo.
"Besigye yalaga nti okuyingira mu kalulu akataliimu nkung'aana kuba kumala biseera kubanga ekimu ku bigendererwa by'okwetaba mu kalulu kwe kukunga abantu kubanga takikkiriza nti akalulu kasobola okukyusa obukulembeze bw'eggwanga." Omu ku ba FDC bwe yategeezezza Bukedde eggulo.
Kigambibwa nti mu nsisinkano Besigye ze yalimu ne Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) owa People Power mu kugezaako okunyweza omukago gw'abavuganya gavumenti gwe baatuuma "United Forces of Change" yagezaako okumatiza Bobi Wine bazire akalulu, wabula Bobi Wine n'abigaana era oluvannyuma n'ategeeza nti wadde akakiiko koogera "Scientific Election", bbo nga People Power tebagenda kukazira era bagenda kukagendamu n'amaanyi gaabwe gonna.
Abakulembeze ba FDC abamu babadde baperereza Besigye yeesimbewo kubanga kijja kuwa n'abeesimbyewo ku kkaadi y'ekibiina omukisa oguwangula ebifo ebya wansi, wabula era nabo akyabalese wakati awo.
Kyokka waliwo omukulembeze mu FDC eyatutegeezezza nti Besigye baamumatizza okuddamu okuvuganya, wabula akyabaza mbeera omuli enkola z'akakiiko k'ebyokulonda n'ebigenda mu maaso mu bibiina ebirala naddala okupima amaanyi ga Bobi Wine nti kubanga tayagala kuyingira kalulu kanaamuweebula n'okusaanyawo likodi gy'akoze emirundi ena gy'amaze ng'avuganya Pulezidenti Museveni.
Ensonga y'akakiiko k'ebyokulonda eyaweereddwa nti yateekeddwaawo okuwa Besigye obudde okwongera okukubamu ebibalo okulaba oba okwesimbawo kimukolera.
Ensonda mu FDC zaategeezezza Bukedde nti kyatunuuliddwaamu ng'okulangira kati nti Besigye ayagala ekifo, babadde bagenda kwesanuulira abawagizi ba Bobi Wine naddala abali ku mikutu gya yintaneeti, abayinza okumuggulako olutalo, agende okutuuka mu October 2020 we banaawandiisiza abaagala Obwapulezidenti bw'eggwanga, ng'ayenjebuse nnyo era kwe kusalawo okusigala ng'eky'okwesimbawo akyesigalizza, aveeyo ku ssaawa envannyuma.
Kyokka ebibalo era bikyalimu n'abantu abalala singa Besigye atuuka n'asalawo obutavuganya era mu balowoozebwako mwe muli Loodi Meeya Erias Lukwago, Salaamu Musumba, Nandala Mafabi, Ssentebe w'ekibiina Wasswa Biriggwa ne Pulezidenti w'ekibiina Patrick Oboi Amuriat.
Wabula ku bantu abo bonna, Biriggwa yekka y'atannalaga kifo w'ayagala kwesimba. Mafabi, Amuriat ne Salaamu baagala bubaka bwa Palamenti ate Lukwago akyali ku bwa Loodi Meeya bw'amazeeko emyaka 10.
Paul Bukenya ayogerera akakiiko k'ebyokulonda yagambye nti ebinaagobererwa mu kulonda bigenda kuva mu kwebuuza kwe bakoze ku buli muntu akwatibwako okuli n'abakugu mu byobulamu olw'ensonga z'obulwadde bwa Corona n'agamba nti baakuzifulumya amangu ddala nga ziwedde.
Kyokka yagambye nti pulogulaamu z'ebibiina byonna zitambula bulungi kubanga ebinaagobererwa mu kalulu ka bonna tebirina bwe bigootaanya nteekateeka za bibiina ez'okusunsula abanaavuganya ku kifo kyonna

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...