TOP

NRM eggaddewo okugaba ffoomu z'okwesimbawo

Added 4th August 2020

Tanga Odoi ng’ayogera eri bannamawulire ku Lwokubiri.

Tanga Odoi ng’ayogera eri bannamawulire ku Lwokubiri.

AKAKIIKO k'ebyokulonda mu NRM kalagidde buli ayagala obubaka bwa Palamenti n'obwassentebe bwa disitulikiti okusooka okuwaayo empapula eziraga we yakeberebwa Corona. Dr. Tanga Odoi akulira akakiiko k'ebyokulonda ye yabirangiridde bwe yabadde akomekkereza okuggyayo empapula okwakomekkerezeddwa eggulo.

Abantu 2,054 be baggyeeyo empapula ku bifo byombi okwetooloola eggwanga lyonna. Yagambye nti ekyokulagira abeesimbyewo okusooka okwekebeza kikoleddwa ng'omu ku kaweefube w'okwongera okutangira obulwadde bwa Corona okusaasaana.

Ebbaluwa olina kugiraga ng'ozzaayo empapula. Abaggyeeyo empapula bajja kuzizzaayo okutandika nga August 10, 2020 era nga bajja kuziddizzaayo mu mitendera nga bagoberera ebitundu gye bava. Okuva nga August 10-11, abava mu disitulikiti z'Obugwanjuba be bagenda okukomyawo empapula. Abava mu bukiikakkono bw'eggwanga bakomyewo okuva nga August 12-13. Amasekkati ne Kampala bajja kuzzaayo empapula nga August 14-15.

Nga August 16-17 abava mu bitundu by'obuvanjuba lwe bajja okukomyawo olwo abalala bonna abanaaba bafikkidde bakolweko nga August 18-19, 2020. Abanaaba bakomyawo empapula bakubiriziddwa obutatambuza basembi ababiri okusobola okwewala omujjuzo. Balina kutambula na densite zaabwe zokka. Okutandika leero ku Lwokubiri nga August 4-6 , 2020 abaagala obwammeeya n'obwakkansala ku mitendera egy'enjawulo, empapula bagenda kuziggya ku bitebe bya NRM ebya disitulikiti

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...