TOP

Pallaso yeetutte ku poliisi n'empingu ku mukono

Added 5th August 2020

MZEE Gerald Mayanja, kitaawe w’omuyimbi Pallaso asiitaanidde ku poliisi e Katwe okugikkirizisa okuyimbula mutabaniwe ku misango gy’okudduka ku poliisi n’empingu yaayo. Pallaso (Pius Mayanja), yeetutte ku poliisi y’e Katwe eggulo ku Lwokubiri.

Pallaso ku poliisi. Pallaso ng’alaga empingu gye yadduse nayo

Pallaso ku poliisi. Pallaso ng’alaga empingu gye yadduse nayo


Ku Ssande poliisi yazingako amaka ka Pallaso ku ssaawa 6:45 mu ttumbi, n'esanga ng'awogganya ebidongo n'ekibinja kya mikwano gye 30.

Luke Owoyesigire amyuka ayogerera Poliisi mu Kampala n'emiriraano, yategeezezza nti Pallaso ne banne baali beetalira mu budde bwa kafiyu eyassibwawo okwewala corona ng'akuba ebidongo awatali kukwata mateeka ga minisitule omuli okwambala masiki ate bwe yakwatibwa n'adduka n'empingu.

Yagguddwaako emisango okuli obutagoberera biragiro bya minisitule y'ebyobulamu, n'okutaataaganya eddembe ly'abantu be yali aleekanyiza ebidongo.

Mayanja yatuuse ku ssaawa 10:30 akawungeezi n'asaba poliisi emuyimbule ku kakalu kaayo ne yeeyama okumukomyawo ng'okubuuliriza bwe kugenda mu maaso era n'ayimbulwa.

Yasoose kusiibulwa mu ddwaaliro e Namirembe gy'abadde ajjanjabirwa ng'agamba nti poliisi yamukuba ate n'empingu n'emusala emikono.

MZEE Gerald Mayanja, kitaawe
w'omuyimbi Pallaso asiitaanidde
ku poliisi e Katwe okugikkirizisa
okuyimbula mutabaniwe ku
misango gy'okudduka ku poliisi
n'empingu yaayo.
Pallaso (Pius Mayanja),
yeetutte ku poliisi y'e Katwe
eggulo ku Lwokubiri. Ku Ssande
poliisi yazingako amaka ka Pallaso
ku ssaawa 6:45 mu ttumbi,
n'esanga ng'awogganya ebidongo
n'ekibinja kya mikwano
gye 30.
Luke Owoyesigire amyuka
ayogerera Poliisi mu Kampala
n'emiriraano, yategeezezza nti
Pallaso ne banne baali beetalira
mu budde bwa kafiyu eyassibwawo
okwewala corona ng'akuba
ebidongo awatali kukwata
mateeka ga minisitule omuli
okwambala masiki ate bwe yakwatibwa
n'adduka n'empingu.
Yagguddwaako emisango
okuli obutagoberera biragiro
bya minisitule y'ebyobulamu,
n'okutaataaganya eddembe
ly'abantu be yali aleekanyiza
ebidongo.
Mayanja yatuuse ku ssaawa
10:30 akawungeezi n'asaba poliisi
emuyimbule ku kakalu kaayo
ne yeeyama okumukomyawo
ng'okubuuliriza bwe kugenda mu
maaso era n'ayimbulwa.
Yasoose kusiibulwa mu ddwaaliro
e Namirembe gy'abadde
ajjanjabirwa ng'agamba nti
poliisi yamukuba ate n'empingu
n'emusala emikono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sodo ne Shartsi

Muwala wa Kuteesa agaanyi o...

Muwala wa minisita w'ensonga z'ebweru Sam Kuteesa amanyiddwa nga Shartsi Musherure Nayebare agaanye okukkiriza...

Kaweefube okutaasa ekibira ...

AMAWULIIRE  | EKIBIRA KY'EBUGOMA  

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...