TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ekutte abagambibwa okutta kitaabwe lwa ttaka

Poliisi ekutte abagambibwa okutta kitaabwe lwa ttaka

Added 5th August 2020

POLISI y’e Kaikiri ekutte abooluganda basatu abagambibwa okwekobaana ne batta kitaabwe Wilson Kiwalabye olw’obutabagabira mugabo ku byobugagga bye.

Mzee Kiwalabye. Abaddako be batabani be; Nkolo, Sssevume ne Ssebuliba abagambibwa okutta kitaabwe

Mzee Kiwalabye. Abaddako be batabani be; Nkolo, Sssevume ne Ssebuliba abagambibwa okutta kitaabwe






BYA WILLY KIZZA

Abakwatiddwa kuliko Yusuf Ssevume 42, alina abaana 13 mu bakyala basatu, Measerch Ssebuliba 38, alina abaana munaana mu bakyala babiri ne Stanley Nkolo 31.

Abakungubazi abaabadde bakung'aanye okuziika Kyewalabye ku Mmande e Magoggo mu ggombolola y'e Kakiri e Wakiso byabaweddeko poliisi bwe yabaggyeko omulambo nga bagenda e magombe n'egutwala okugukebera.

Okutuuka wano, waabaddewo omwana ow'emyaka 10 eyabadde alumiriza nti yalabye abooluganda bano nga bakuba muzeeyi Kyewalabye era yeeyayise abatuuze okumutaasa kyokka n'afiira mu kkubo nga bamutwala mu ddwaaliro.

Jackson Lubinga Ssebulime, muganda w'omugenzi eyasangiddwa ku poliisi e Kakiri yategeezezza ng'ensonga zaabwe bwe zitutte akabanga nga n'abeekika baazituulamu kyokka ne zirema nga zibadde mu kkooti e Mpigi.

Abakwate olwatuusiddwa ku poliisi, eby'okutta kitaabwe ne babyegaana ne bategeeza nti baamulese mulamu era olumbe olwamusse nabo tebalumanyi.

Kigambibwa nti abaana ba Kiwalabye be baamulumbye nga bamukanda 400,000/-ze yatunze mu musenyu okuva mu kibanja kye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...

Nantale ne Batulumaayo

Ow'emyaka 77 alumirizza muk...

MUSAJJAMUKULU ow’emyaaka 77, omutuuze ku kyalo Kyambizzi ekisangibwa e Mwererwe-Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso...

Kiwanda ( ku kkono), Katikkiro Mayiga ne Ruth Nankabirwa nga bali e Mmengo.

Ekyatutte Kiwanda ne Nankab...

EYAAKALONDEBWA ku bumyuka bwassentebe wa NRM atwala Buganda, Godfrey Kiwanda asitudde ttiimu y’aba NRM omuli ne...

Kibalama ne Kyagulanyi nga bagasimbaganye mu kkooti

Bobi ne Kibalama bagasimbag...

Eyali akulira ekibiina kya National Unity Reconciliation and Development Party [NURP] ekyakyusibwa ne kifuulibwa...

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...