TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omugagga Ham azzeemu okuttunka ne DTB Bank abanja obuwumbi 120

Omugagga Ham azzeemu okuttunka ne DTB Bank abanja obuwumbi 120

Added 5th August 2020

Omugagga Hamis Kiggundu ng'annyonnyola

Omugagga Hamis Kiggundu ng'annyonnyola

OMUGAGGA Hamis Kiggundu amanyiddwa nga Ham agonzezza banka n'ekkiriza okuggyawo omutemwa gw'okusooka okusasula ssente ebitundu 30 ku buli 100 ku ssente z'obeera obanja banka ng'ogiwaabidde mu kkooti. Bino biri mu musango Ham gwe yawaabira banka ya Diamond Trust mu kkooti etaawulula enkaayana z'abasuubuzi ng'agivunaana okuggya ku akawunti ye ssente eziri mu buwumbi 100, nga tebamubanja.

Bbanka zibadde zeeyambisa etteeka lya "Mortgage Act" ng'okusooka okwewozaako ng'oziwaabidde osooka kuteeka mu kkooti ssente ebitundu 30 kwezo z'obeera obanja naye kino Ham yakiwakanyizza era aba Diamond Trust ne bakkiriza okuziyimiriza bwe baabadde mu maaso g'omulamuzi Henry Peter Adonyo.

Ham era yataddeyo omusango omulala mu kkooti etaputa Ssemateeka mw'awaabira Ssaabawolereza wa gavumenti ne Diamond Trust Bank ng'awakanya akawaayiro kano ak'okusasuza abawaabidde bbanka ssente ebitundu 30.

Agamba nti abantu abazze banyagibwa bbanka ezimu babadde balemererwa okuziwaabira mu kkooti olw'akakwakkulizo ako era abamu bbanka zibadde zibanyigiriza mu mpola ne zibawaayo obusente butono ne babakozesa endagaano nga tebagenze mu kkooti.

Mu musango omukulu Ham ng'ali wamu ne kkampuni ze okuli "Ham Enterprises ne Kiggs International [U] LTD awaabira Diamond Trust Bank eya Uganda n'eya Kenya olw'okumubala omufuulo ne batuuka n'okuggya ssente ku akawunti ze mu bukyamu nga tebamubanja gattako okumutiisatiisa okubowa ebyobugagga bye omuli ettaka lye yawaayo ng'omusingo.

Mu mpaaba ye, Kiggundu agamba nti amaze emyaka egisoba mu 10, ng'akolagaana ne banka eno mu by'okwewola ssente okusobola okuzimba, okuddaabiriza n'okumaliriza ebizimbe bye ebiri mu bifo eby'enjawulo mwaggya ensimbi. Agamba nti ebbanga lyonna ly'abadde yeewoola mu banka abadde awaayo ettaka lye okuli n'ebizimbe eby'amaanyi nga e Kyadondo Block 248 poloti 328 e Kawuku, poloti 36-38 Victoria Crescent 11 Kyadondo, Poloti 923 block 9 Makerere Hill ng'omusingo nga tebannamuwa ssente.

Annyonnyola nti wakati wa February 2011 ne September 2016 baamuwa looni ng'eriko obukwakkulizo obutali bwa bwenkanya kyokka olw'okuba yalina enkolagana ennungi ne bbanka n'akkiriza n'awaayo n'ettaka nga omusingo

‘SSENTE EZIMU TEZAATUUKA'

Kiggundu agamba nti yagondera amateeka gonna agaamuweebwa n'asasula omutemwa gwa buli mwezi nga kuliko n'amagoba gaakwo kyokka yadde nga yasasula bulungi nga bwe yalagirwa, kirabika ssente ezimu ze baalina okumuwola tezaatuuka ku akawunti kyokka ne basigala nga bazimusalako ate ne bamutiisa n'okubowa ettaka lye ekyavaako enkolagana yaabwe okufa.

Annyonnyola nti bwe yadda mu bitabo n'abalirira we yakizuulira nti babadde bamubala omufuulo nga baakamuggyako ssente eziri mu buwumbi 120, mu bukyamu era obujulizi bwonna yabuwaddeyo mu kkooti.

BBANKA KY'EGAMBA

Bbanka ya DTB mu kwewozaako egamba nti tebaggyangako ssente ku akawunti ya Kiggundu mu bukyamu era omusango gukyagenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...