TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakola ppaaka enkadde baleseemu siteegi 34 zokka

Abakola ppaaka enkadde baleseemu siteegi 34 zokka

Added 5th August 2020

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde ppaaka eno okulaba omulimu gw’okugizimba we gutuuse ne bennyamira olw’akasoobo aba kkampuni ya “Starling” ke batambulirako.

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

ABADDABIRIZA ppaka empya babatadde ku nningi olw'okugifunza nga kati mu kifo kya mmotoka 500 ezibadde zisuubirwa okusimbamu ng'ewedde, egenda kusimbamu emmotoka 250 nga zikolera ku siteegi 34.




"Mu butuufu omulimu guno mugukutte kasoobo ate ng'ebikyetaagisa bingi. Kino kigenda kwongera okukaluubiriza aba ttakisi okufuna we baddukanyiza emirimu gyabwe ng'ate abasinga mu kiseera kino batikkira ku nguudo kwe batakkirizibwa," ssentebe w'akakiiko kano Umar Kajjumba nga ye kkansala wa Makindye West bwe yategeezezza.

Kajjumba yagambye nti okusooka mu ppaaka eno mwali mugendamu emmotoka ezisukka mu 500, wabula kati pataddemu ebifo omugenda okusimbibwa takisi 250, zokka ne siteegi 34.

Ying. Joel Wasswa owa KCCA, yagambye nti ekikeereyesezza omulimu guno y'enkuba era ekifo kibadde kirina okutindirwa n'amayinja. Yagambye nti gye buvuddeko ne mmotoka ezibadde zisomba ebikozesebwa zibadde tezikkirizibwa kutambula kiro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...