TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Paapa Joseph Aloisius Ratzinger Benedict XVI eyawummula mulwadde muyi

Paapa Joseph Aloisius Ratzinger Benedict XVI eyawummula mulwadde muyi

Added 5th August 2020

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde bwamukubye wansi oluvannyuma lw’okwetaba mu kuziika mukulu we Georg Ratzinger 96 eyaziikiddwa ku butaka bwabwe e Girimaani.

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger





Ekitebe e Vatican baategeezezza nti embeera ye kati eri yadde yaddeko era balina essuubi nti agenda kussuuka kubanga ali mu mikono emituufu egy'abasawo.

Ratzinger yalinnye ennyonyi n'agenda e German okulambula ku mugandawe George abadde omulwadde era luno lwe lugendo lwe yasoose okutambula n'afuluma Vatican okuva mu 2013 lwe yalekulira mu ngeri eyewuunyisa ensi yonna.

Georg Gaensewein omuwandiisiwe yategeezezza nti omukulu tali bubi nnyo newankubadde nga yali afunye obulwadde obwamubutula mu maaso n'afukuuka mu kyenyi naye kati waali ateredde.

Omukutu gwa Passauer Neue Presse gwafulumizza amawulire nga gutegeeza nti yabadde mugonvu nnyo ng'ategeera era agoberera buli ekigenda mu maaso naye nga bw'agezaakookwogera eddoboozi lyabadde terikyavaayo.

Mugandawe Georg Ratzinger gwe yabadde agenze okulambulako e Germani yafudde wakati mu mwezi oguwedde nga yafiiridde ku myaka 96.

Paapa Benedict eyawummula bamukuumira munda e Vatican era aludde nga talabikako mu lujjudde okuva lwe yalekulira n'abeera papa eyasooka okukikola mu 2013 oluvannyuma lw'emyaka 600.

Yawummula ng'agamba nti obulamubwe bwali tebukyasobola olwo Klezia n'eronda Paapa Francis aliko kati.

PAAPA Benedict XVI eyawummula
ng'amannya ge ag'obuzaale ye
Joseph Aloisius Ratzinger muyi.
Ratzinger 93 obulwadde
bwamukubye wansi oluvannyuma
lw'okwetaba mu kuziika
mukulu we Georg Ratzinger 96
eyaziikiddwa ku butaka bwabwe
e Girimaani.
Ekitebe e Vatican baategeezezza
nti embeera ye kati eri yadde
yaddeko era balina essuubi nti
agenda kussuuka kubanga ali mu
mikono emituufu egy'abasawo.
Ratzinger yalinnye ennyonyi
n'agenda e German okulambula
ku mugandawe George abadde
omulwadde era luno lwe lugendo
lwe yasoose okutambula
n'afuluma Vatican okuva mu 2013
lwe yalekulira mu ngeri eyewuunyisa
ensi yonna.
Georg Gaensewein omuwandiisiwe
yategeezezza nti omukulu
tali bubi nnyo newankubadde
nga yali afunye obulwadde
obwamubutula mu maaso
n'afukuuka mu kyenyi naye kati
waali ateredde.
Omukutu gwa Passauer Neue
Presse gwafulumizza amawulire
nga gutegeeza nti yabadde mugonvu
nnyo ng'ategeera era agoberera
buli ekigenda mu maaso
naye nga bw'agezaakookwogera
eddoboozi lyabadde terikyavaayo.
Mugandawe Georg Ratzinger
gwe yabadde agenze okulambulako
e Germani yafudde wakati mu
mwezi oguwedde nga yafi iridde
ku myaka 96.
Paapa Benedict eyawummula
bamukuumira munda e Vatican
era aludde nga talabikako mu
lujjudde okuva lwe yalekulira
n'abeera papa eyasooka okukikola
mu 2013 oluvannyuma lw'emyaka
600.
Yawummula ng'agamba nti
obulamubwe bwali tebukyasobola
olwo Klezia n'eronda Paapa Francis
aliko kati.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaweefube okutaasa ekibira ...

AMAWULIIRE  | EKIBIRA KY'EBUGOMA  

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...