TOP

Trump alemeddeko ku by'akalulu ka ssaayansi

Added 5th August 2020

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka kalulu kajjudde bubbi kugenda mu maaso.

Donald Trump

Donald Trump






Akalulu Trump k'agamba nti bajja kumubbiramu ke ka ssaayasansi kiyite ‘Scientifi c' ng'Abamerika bagamba nti mu mbeera eya sennyiga omukambwe, akalulu ak'ekika kino ke kasoboka okutegekebwa.

Kyokka ab'ekibiina kya Democrats b'avuganya abaasimbawo Joe Biden bamuzzeemu mu bukambwe nti akomye okuzannyira ku demokulaase waabwe ng'ayogera ebitasoboka n'okuswaza eggwanga lyabwe. Bamulagidde nti oba akalulu akatidde akaveemu aba Republicans baakiikiridde bafune omuntu omulala.

Pulezidenti wa Amerika taba na buyinza bwa nkomeredde okwongezaayo akalulu era enkiiko olwa Senate ne House of Representatives zonna awamu ezikola Palamenti eyitibwa Congress y'erina obuyinza obwo. Wabula Palamenti eno yakkaanya obutakubaganya birowoozo ku kiteeso kya Trump kubanga kityoboola ssemateeka waabwe amaze emyaka 233.

Trump yagambye nti okwongezaayo akalulu akyagala asobole okutaasa Amerika okuswala kubanga okusinziira nga bw'alaba ensonga, ekitongole ekitambuza amabaluwa ekya United States Post Offi ce si kyetegefu era tekirina busobozi kutambuza bululu bubalibwe mu budde.

Abamerika baamugambye nti eby'okuswala nga ye omuntu ng'akubiddwa akalulu kikosa omu kyokka ng'abamerika bonna abawera 331,002,651 bajja kuswala nga bakyusizza ssemateeka olw'omuntu omu. Okusinziira ku kunoonyereza kw'ekitongole kya United Nations Data okwafulumiziddwa nga August 2, 2020 abo be bantu abali mu Amerika.

Trump yawadde eky'okulabirako nti mu ssaza limu ery'e New York, awaali okukuba akalulu mu kamyufu nga June 23, n'okutuusa olwaleero bakyabala bululu obwatambuzibwa ekitongole kye baagala kitambuze obululu bwa bonna mu November.

Ebyobufuzi bya Amerika byawukana ku by'amawanga amalala kubanga bo amateeka gabakkiriza nti omuntu ataasobole kubeerawo ku lunaku olw'okulonda okugenda ku kifo we balondera, abeera waddembe okukuba akalulu ke ng'ekyabulayo ennaku n'akateeka mu kasanduuko ka posta ne bakatambuza okukatwala okukabala.

Kino kye bayita ‘mail-in voting' era enteekateeka eno,Trump gy'awakanya ng'agamba nti ekitongole ekirina okukola omulimu guno tekyetegese kimala ekiyinza okuviirako okuvuluga obululu bungi ne babba obululu bwe.

Okusoomoozebwa Trump kw'asanze nti buli lw'agenda mu maaso ng'awakanya enteekateeka eno, ate Bagavana abakulembera amasaza n'enkiiko zaabwe nga bagenda mu maaso nga bayisa ebiteeso ebigiwagira nga bwe kyabadde e Nevada.

Pulezidenti yacwanye n'agamba nti tagenda kukkiriza bamulwanyisa mu byobufuzi okwerimbika mu Corona okubba obululu bwe.

"Tetubeerangako na nteekateeka eno ng'ewagirwa abanoonya ebyabwe nga bwekiri kati, nkitegedde waliwo ekkobaane" Trump bwe yayombye.

Bannakibiina kya Democrats e New York Carolyn Maloney ne Suraj Patel be bali mu kuttunka kyokka kati kitutte omwezi mulamba n'ekitundu nga tebafunanga byava mu kalulu kano.

Trump yagambye nti kati tewali amanyi kiki ddala ekikolebwa ku bululu buno, era ateebereza nti mululu okubbira okutabeerangawo.

Yakukkulumidde abakulira amasaza agaasazeewo okukozesa enkola eno eyokuweereza obululu ng'ekyabulayo ennaku ng'e Nevada nti beerimbise mu Corona babbe obululu bwe. Yagambye nti akalulu ke bali mu kubala e New York basaana bakaddemu.

Abakulembeze abamu mu masaza ag'enjawulo batuusizza okwemulugunya kwe kumu eri abakulira ekitongole ekitambuza amabaluwa kyokka abakozi nga babaanukula nti okutambuza emirimu akasoobo kivudde ku bukulembeze bw'ekitongole obupya Trump bwe yateekawo n'awa abantu emirimu gye batalinaako bumanyirivu.

Trump yagambye nti omulimu nga guno gwadibadde gusobola okukolebwa ekitongole ekitambuza amabaluwa naye waliwo amakampuni amanene agaagyekomya nga kati babeera mu kutambuza bitereke ebinene ne beefuga emirimu mu kifo ky'okugiwa ku makampuni amalala nga post offi ce, FedEx, ne UPS. Aba Republican mu masaza ag'enjawulo nga California baddukidde mu kkooti okuyimiriza enteekateeka y'okulonda eno kyokka amasaza musanvu go gaamaze dda okugiyisa wakati mu kuwakanyizibwa kwa pulezidenti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...