TOP

Ebikonde sibyevuma - Lubega

Added 5th August 2020

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka mu miguwa.

Lubega

Lubega
Lubega, yasooka kukola gwa bukinjaagi mu lufula y'oku Kaleerwe, okutuusa Sam Rukundo eyaliko omutendesi wa ttiimu y'eggwanga ‘The Bombers', lwe yamuleeta mu bikonde.

Yategeezezza nti kye kiseera alekere bamusaayimuto omukisa, yeemalire ku gw'obutendesi n'okusaggula ebitone ebinaayamba okutwala omuzannyo guno mu maaso.

Yabadde ategese olulwana olusiibula abawagizi be mu Uganda kyokka terwasobose olw'ekirwadde kya ssennyiga omukambwe aleetebwa akawuka ka coronavirus, eyaviirako emizannyo gyonna mu ggwanga okuyimirizibwa.

Mu lulwana lwe yasembye okuzannyira wano mu August wa 2018, yawumiza Omutanzania Karama Nyirawila n'asitukira mu musipi gwa Universal Boxing Organisation mu buzito bwa ‘Cruiser'.

Y'omu ku bazannyi Uganda beesinze okwenyumirizaamu okuva mu myaka gy'e 90, nga wabinnyukidde ng'azannye ennwaana 42, kw'awangudde 21, okulemagana 3 n'okukubwa 18. Ku nnwaana zaawangudde, 14 zibadde za 'tonziriranga'.

Ye muggunzi w'ehhuumi akyasembyeyo okutuuka ku fayinolo y'emizannyo gya Commonwealth egyalimu kibuga Manchester mu Bungereza mu 2002, n'awangula omudaali gwa feeza. Yawangulako omusipi gwa WBC International Council mu buzito bwa 'Light heavy' gwe yeddizza emirundi esatu.

ANNYUSE AKYABANJA

Lubega w'annyukidde ng'akyalindiridde ennyumba Pulezidenti Museveni gye yamusuubiza nga yaakawangula omudaali gwa Commonwealth.

Agamba nti Pulezidenti bwe yakyaza abazannyi bonna abaali bagenda mu mizannyo gino ku kijjulo mu maka g'e Ntebe, yasuubiza buli anaaleeta omudaali ennyumba, era kye kimu ku byamwongera amaanyi n'atuuka ku fayinolo kwe yawangulira omudaali gwa feeza.

" Bwe twakomawo, eyali Minisita w'emizannyo, Henry Oryem Okello yampa ttawulo ng'ekirabo ekinneebazaa, ekyammalamu amaanyi ne nva ku bikonde by'abakyakayiga ne nneemalira ku byensimbi," Lubega bwe yagambye, n'agattako nti ekya Pulezidenti okuvaayo n'alagira bannabyamizannyo abazze bateeka eggwanga ku maapu basiimibwe, kyamuwadde essuubi nti ensonga ye ejja kukolwako.

LUBEGA Y'ANI?

Yazaalibwa mu 1982 eri Edward Yiga ne Escakensi Nakku. lMufumbo ne Allen Kaggwa Nakiberu, nga balina abaana bana; Vanessa Nakanwagi, Annatia Nabukenya, Arnold Kasamba ne Aaron Ssemakalu.

P7 yagituulira ku Nabagereka P/S gye yava okwegatta ku Dynamic SS Ssonde eryali e Kabuusu,

Yasomerako ku Old Kampala SS kyokka teyasukka S3 olw'ebbula ly'ensimbi.

Ebikonde yabiyingira mu 1997, ate mu 2004 n'atandika okuzanya ebyensimbi.

BYE NFUNYE MU BIKONDE

Lubega ebikonde abinnyuse ng'alina kyalagawo era agamba alina wagenda okutandiikira. "Nnina ffaamu kwe nnundira ente n'ebisolo ebirala e Ssanga - Matuga, ne poloti z'ettaka bbiri e Gayaza ne Kagoma, ssaako ebbaala, ate sikyapangisa. Bino byonna ntuuyo za bikonde," Lubega bw'annyonnyola.

 

 

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey
Vegas Lubega annyuse ebikonde
oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya
alinnya kigere kye ekisooka mu
miguwa.
Lubega, yasooka kukola gwa
bukinjaagi mu lufula y'oku
Kaleerwe, okutuusa Sam Rukundo
eyaliko omutendesi wa ttiimu
y'eggwanga ‘The Bombers', lwe
yamuleeta mu bikonde.
Yategeezezza nti kye kiseera
alekere bamusaayimuto omukisa,
yeemalire ku gw'obutendesi
n'okusaggula ebitone ebinaayamba
okutwala omuzannyo guno
mu maaso.
Yabadde ategese olulwana
olusiibula abawagizi be mu
Uganda kyokka terwasobose
olw'ekirwadde kya ssennyiga
omukambwe aleetebwa akawuka
ka coronavirus, eyaviirako emizannyo
gyonna mu ggwanga
okuyimirizibwa.
Mu lulwana lwe yasembye
okuzannyira wano mu
August wa 2018, yawumiza
Omutanzania Karama
Nyirawila n'asitukira mu
musipi gwa Universal
Boxing Organisation mu
buzito bwa ‘Cruiser'.
Y'omu ku bazannyi
Uganda beesinze okwenyumirizaamu
okuva mu
myaka gy'e 90, nga wabinnyukidde
ng'azannye ennwaana 42,
kw'awangudde 21, okulemagana
3 n'okukubwa 18. Ku nnwaana
zaawangudde, 14 zibadde za
'tonziriranga'.
Ye muggunzi w'ehhuumi akyasembyeyo
okutuuka ku fayinolo
y'emizannyo gya Commonwealth
egyalimu kibuga Manchester mu
Bungereza mu 2002, n'awangula
omudaali gwa feeza.
Yawangulako omusipi gwa WBC
International Council mu buzito
bwa 'Light heavy' gwe yeddizza
emirundi esatu.
ANNYUSE AKYABANJA
Lubega w'annyukidde
ng'akyalindiridde ennyumba
Pulezidenti
Museveni gye
yamusuubiza
nga
yaakawangula
omudaali gwa
Commonwealth.
Agamba nti
Pulezidenti bwe
yakyaza abazannyi
bonna
abaali bagenda
mu mizannyo gino
ku kijjulo mu maka g'e Ntebe,
yasuubiza buli anaaleeta omudaali
ennyumba, era kye kimu
ku byamwongera amaanyi
n'atuuka ku fayinolo kwe
yawangulira omudaali gwa
feeza.
" Bwe twakomawo, eyali
Minisita w'emizannyo,
Henry Oryem Okello
yampa ttawulo
ng'ekirabo ekinneebazaa,
ekyammalamu amaanyi ne
nva ku bikonde by'abakyakayiga
ne nneemalira ku byensimbi,"
Lubega bwe yagambye, n'agattako
nti ekya Pulezidenti okuvaayo
n'alagira bannabyamizannyo
abazze bateeka eggwanga ku
maapu basiimibwe, kyamuwadde
essuubi nti ensonga
ye ejja kukolwako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaweefube okutaasa ekibira ...

AMAWULIIRE  | EKIBIRA KY'EBUGOMA  

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...