TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Avuganya Ssekandi ku ky'omubaka w'e Bukoto bamusindise mu kkomera

Avuganya Ssekandi ku ky'omubaka w'e Bukoto bamusindise mu kkomera

Added 5th August 2020

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto Central asindikiddwa mu kkomera e Sentema oluvanyuma lwokumugulako omusango gwokukozesa okujjukujju n'afuna ssente obukadde 150 okuva ku musuubuzi munne.





Sebamala asimbiddwa mu kkooti y'omulamuzi  Ponisiano Odwori owa kkooti ento e Nakawa amusomedde omusango guno era  n'amusindika  ku limanda mu kkomera e Sentema  okutuusa nga August,11,2020.

Okusinziira ku muwaabi wa  gavumenti  Florence Kataike kigambibwa nti nga December,01,2019 Sebamala yakozesa olukujjukujju n'afuna obukadde 150 okuva ku Mohammed Kalungi ng'agamba nti amuguza mmotoka Toyota Prado UBG 510G ky'atakola.

Sebamala omusango guno agwegaanyi, ng'ayita mu looya we Charles  Nsubuga  era asabye yeeyimirwe ku misango gino kyokka  omulamuzi  Odwori n'agaana okusaba kwe  namutegeeza nga bw'abadde talina budde ng'alina  gyabade alaga.

Amutegezeza nti abade tasobola kuwuliriza kusaba kwe mu budde obutono bw'abade nabwo.

Sebamala  agambye nti emisango gino bagimuteekako kubanga  yeesimbyewo okuvuganya Sekandi e Bukoto  central.

Abapoliisi basattira ku by'okuyimbula eyafunyisa ow'e 16 olubuto

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...