TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e Luzira

Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e Luzira

Added 8th August 2020

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e Luzira oluvannyuma lwa kkooti etaputa Ssemateeka okulagira okumwejjeereza emisango egyamuggulwako.

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti





Ekiragiro kino kiweereddwa abalamuzi ba kkooti eno abakulembeddwa omulamuzi Stephen Musota, Geofrey Kiryabwire ne Cheborion Barishaki.

Kazinda avunaanibwa emisango egy'enjawulo omuli okujingirira omukono gw'eyali  mukama we; Pius Bigirimana eyali omuwandiisi w'enkalakalira mu ofiisi eno, okujingirira  lisiiti, okusasula ssente ezitali mu mateeka, okwekobaana okufuna ssente ezitali mu mateeka, okukola ebiwandiiko nga talina buyinza, ko n'okubeera n'ebiwandiiko bya Gavumenti mu ngeri emenya amateeka era ng'emisango gino yagizza mu mwaka gwa 2010 ne 2012.

Egimu  ku misango gino baagimusingisa era n'akola ekibonerezo n'akimalako  kyoka bazze bamuggulako emisango emirala nga kino kkooti ky'egaanye.

Mu nsala yaabwe agambye nti emisango gino yagiddiza mu kifo kimu era okunoonyereza kwakolebwa mu kiseera kimu.

Bagambye nti Kazinda bamugguddeko emisango mingi era nga gitutte ebbanga ddene okuwulirwa era ekityoboola eddembe lye erimuweebwa Ssemateeka okuwulira emisango gye mu bwangu.

Bagambye nti emisango gino gyonna gyandigatiddwa wamu okusobola okugiwulira mu bwangu era tebalaba nsonga  lwaki tekyakolebwa.

Bwe batyo bagaanye kkooti ewozesa  abakenuzi okuddamu okugula emisango ku Kazinda kubanga  egimu ku misango gino bagimusingisa ate emirala  bagimwejjeereza  nga bwe yategeeza kkooti. Wabula ye omulamuzi Kenneth Kakuru yagobye omusango  guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...