TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gav't etandise okugabira Bannakampala masiki z'obwereere: Abamu bayomba

Gav't etandise okugabira Bannakampala masiki z'obwereere: Abamu bayomba

Added 8th August 2020

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa okuzigabira abantu baabwe ne bakukkuluma nti babawadde ntono tezigenda kuyamba bantu baabwe.

 

Minisita wa Kampala Betty Among, dayirekita wa KCCA omuggya Dorothy Kisaka , omubaka wa pulezidenti mu Kampala Faridah Mayanja , Meeya wa Kampala Central Charles Musoke Sserunjogi be bakwasizza aba LC bookisi za masiki.

 

Omukolo gubadde ku bitebe bya monisipaali ebitaano mu Kampala era ku Central Monisipaali , minisita Amongi yazikwaasizza butereevu abaami b'emiruka nabo abazikwasizza aba LC mu bitundu byabwe.

Among yagambye nti gavumenti egulidde Bannakampala masiki eziwera 2,067,500 zigabibwe eri abantu 2,040,000.

Yagambye nti Pulezidenti Museveni yayimirizza okugaba masiki mu bitundu by'eggwanga ebirala n'alagira nti basooke bawe Bannakampala, Wakiso ne Mukono era basookedde mu Kampala.

Yategeezezza nti Kampala eri bubi nnyo ku bulwadde bwa ssenyiga omukambwe kubanga ku balwadde abataano abaakafa , bana bava mu Kampala ate ku balwadde abaakakwatibwa , Kampala erinako ebitundu 60 ku buli 100.

"Pulezidenti Museveni abafaako nnyo abantu be era mwambale masiki ate mwekuume obulwadde gye buli era butta," Among bwe yagambye.

Ate Dayirekita wa Kampala Kisaka yagambye nti bannakampala basaana bongere okwefaako ennyo nga bambala masiki kubanga abafudde abasinga bavudde mu Kampala. Yagambye nti KCCA egenda kwongera okubakubiriza.

Meeya wa Kampala Central Charles Musoke Sserunjogi yagambye nti buli aweereddwa masiki atwale obuvunaanyizibwa okugyambala kubanga obulwadde tebuzanyirwaako era butta. Yasiimye okusooka okuwa bannakampala era kati kisigadde eri bo okuzambala.

Faridah Mayanja yasiimye pulezidenti Museveni okufaayo ennyo okuyamba bannakampala n'ategeeza nti ye mukulembeze abalala gwebasaana okulabirako.

Kyokka abamu ku ba LC bakukkulumye nti masiki ezibaweereddwa ntono nnyo. Ekyalo kino mu Kisenyi kirimu abatuuze abasoba mu 200 kyokka batuwadde masiki ntono era baasabye babongere endala.

Kyokka Among yatangaazizza nti engaba yaazo eteekwa kugoberera mitendera kubanga zaabatuuze abasula mu bitundu era aba LC bateekwa kuzigabira mayumba eri buli akuze mu myaaka naye sikuyimirira ku nguudo ne bagabira abantu.

Yagambye nti yensonga lwaaki bazikwaasizza ba LC kubanga beebamanyi abantu baabwe n'enyumba kwebasula. Yasabye aba LC okuzigaba obulungi zisobole okumala buli mutuuze mu kitundu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...