TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Loodi meeya akyazzizza dayirekita wa Kampala n'amuloopera ebizibu bya Bannakampala

Loodi meeya akyazzizza dayirekita wa Kampala n'amuloopera ebizibu bya Bannakampala

Added 8th August 2020

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

 

Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa.

Lukwago yamwanjulidde ensonga enkulu eziruma Bannakamapala omuli okufunira abantu bamufuna mpola ebifo we bakolera naddala nga babazimbira obutale kubanga obuliwo tebumala.

Yamugambye nti Gavumenti ewa KCCA ssente ntono nnyo ezitaweza wadde ebitundu bisatu [ 3 ku buli 100 ate nga Kampala nga ekibuga ky'eggwanga kivaamu ensimbi z'emisolo ebitundu 70 ku buli 100 .

Yamulaze nti ensimbi eziyinza okukyusa Kampala ziteekwa kuva mu Gavumenti wabula si mu misolo egibinikibwa bamufuna mpola okugeza eza layisensi n'empooza ku bintu ebyenjawulo.

Yamugambye nti KCCA etubidde mu mabanja agalekeddwaawo abakulembeze ababaddewo era ensimbi ezigibangibwa zisoba mu buwumbi 100 naye ezisinga zaava ku bakozi abeenyigira mu kukola endagaano n'okukkiriza emisango mu kkooti nga bayita mu nkola y'okukkiriziganya ne baliyirira abawaabi obutitimbe bwa ssente.

Yamulaze nti Kampala talina pulaani ntongole egobererwa era baagala ekolebwe okulaba nga ekibuga kikulaakulana. Ku nguudo mu Kampala yamugambye nti ekibuga kirina obuwanvu bw'enguudo eziweza KM. 2100 kyokka eziriko kolansi ziwera 608 . .

Yagambye nti bateekwa okunonya ssente ezikola nguudo okuva mu makubo agenjawulo nga tebeesigamye ku banka y'ensi yonna kubanga eyinza okukyuusaamu ne bakoma ate nga tebalina makubo Malala ge bataddewo.

Oluvanyuma Lukwago yalambuzza Kisaka ofiisi ze zonna omuli n'ekiyungu ssaako ekisenge mwebateeseza nga bwamutegeeza nti ebintu bingi tebiriimu kyetaaga kuddaabiriza. Yamulaze nti kkooti eri ku ofiisi kyokka ebimu ku bifo ekizimbe kyaamerako dda omuddo n'emiti.

Kisaka yeewunyizza naagamba nti bagenda kukolera wamu okumalawo ebizibu era ekimututeyo kwekulaba ofiisi n'ekizimbe n'okumanyagana ssaako okugulawo enkolagana eyaawamu ng'abakulembera Kampala.

Yagambye nti baagala omutima gw'okukolera awamu kubeere mu bannakampala n'okumanya nti ekibiga kyaabwe era bateekwa okukikulaakulanya nga buli omu alina essanyu ku mutima. Yagambye nti bagenda kunonya ssente eziddaabiriza ekizimbe okuli ofiisi za loodi meeya Lukwago kyokka nga tebakyusizza pulaani yaakyo kubanga kya byafaayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...