TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amasannyalaze gakubye babiri ne bagattirawo e Mukono

Amasannyalaze gakubye babiri ne bagattirawo e Mukono

Added 9th August 2020

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri abaabadde balinnye ku ttulansifooma okubaako bye bakanika ku masannyalaze bwe gaabakubye ne gabattirawo.





Moses Kasiita ne Jacob Mutalaga be baakubiddwa amasannyalaze ne gabattirawo ku Lwokutaano nga bano baabadde ne bakozi bannaabwe abalala abadduse oluvannyuma lw'okulaba ekikangabwa kino.

Wabula abatuuze baategeezezza nti bano oluvannyuma lw'abakozi bano okufa, bannaabwe baggye emirambo ku miti waggulu nga poliisi tennatuuka olwo ogumu ogwa Matalaga ne baguddusaawo ate ogwa Kasiita ne bagwambulamu ebyambalo bya UMEME ne baguteeka mu kamotoka kaabwe ne baguggaliramu.

Abatuuze nga beebulunguludde akamotoka ka UMEME mwe baali basibidde omulambo gwa Kasiita oluvannyuma lw'okumujja ku muti amasannyalaze gye gaamukubira.

Abatuuze baategeezezza nti abakozi bano baabadde baagala kuddusaawo n'omulambo gwa Katiisa ne babakaliramu ne babalemesa ne babategeeza nti poliisi erina kumala kutuuka olwo ne beemulula ne badduka.

Kigambibwa nti Kasiita yalinnye ku miti okuli ttulansifooma abeeko by'akanika kyokka ng'amasannyalaze tegaggyiddwako kwe kumukuba nga mu kyekango ne Mutalaga kwe kulinnya amangu amutaase eby'embi naye ne gamusika ne gamukuba ne gamutta.

Bano baabadde batambulidde mu kamotoka k'ekitongole kya UMEME akatono nnamba UAZ 704Q. oluvannyuma lw'ekikangabwa kino, ku Lwokutaano akawungeezi omwogezi w'ekitongole kya UMEME, Peter Kauju yafulumizza ekiwandiiko ng'alungamya ku nsonga zino n'ategeeza nga bwe baabadde bafunye amawulire gano ng'era bakwataganye ne poliisi okubuuliriza ensonga zino kwe zaavudde.

Abatuuze nga beebulunguludde akamotoka ka UMEME mwe baali basibidde omulambo gwa Kasiita oluvannyuma lw'okumujja ku muti amasannyalaze gye gaamukubira.

Wabula Kauju yategeezezza nti Mutalaga mukozi w'ekitongole kya MUTICO Contractor sso ng'ate ye Kasiita si mukozi waabwe.

Wabula ku Lwomukaaga, Derrick Isabirye ng'ali ne bagandabe abalala baagumbye ku woofiisi ya UMEME olunaku lwonna nga balaga obutali bumativu olwa UMEME okwegaana muganda waabwe eyafiiridde mu mirimu gyabwe.

Isabirye yagambye nti Kasiita yafudde akola mirimu gya UMEME egyakwasibwa kkampuni ya MUTICO ekola emirimu ku lwa UMEME.

"Kasiita yafiiridde waggulu ku muti ng'akola egya UMEME era yabadde mu byambalo bya UMEME. Owalmaze okufa ne bamuggya ku muti ne balyoka bamwambulamu yunifoomu.

Yaggyidde ku pikipiki ye n'agireka wano n'alyoka alinnya emmotoka ne bagenda okukola era eri munda awo, byonna ebyo lwaki babyegaana!" Isabirye bwe yategeezezza.

Abapoliisi abali mu ngoye ezaabulijjo baasaze ekkubo okuva ku poliisi e Mukono ne badda ku woofiisi za UMEME eziri ebusukkakkubo ne bagezaako okukkakkanya ab'oluganda bano wabula nga baabadde tebannabaako kyamaanyi kye batuukako ate enkuba n'etonnya.

Aba famire era baddukidde ewa Rev. Peter Bakaluba Mukasa ne bamusaba abayambe ku nsonga zino ng'ono yalabiddwa ng'ali n'abakulembeze ba UMEME e Mukono mu kafubo.

Bakaluba oluvannyuma yategeezezza nti aba UMEME baagambye nti baabadde tebalina kye bayinza kusalawo nga balina okusooka okulinda bakama baabwe babategeeze ensonga balabe ekiddako mu nsonga zino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...