TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abawala b'amassomero abafuna embuto mu biseera bya COVID beeyongedde- Minisita

Abawala b'amassomero abafuna embuto mu biseera bya COVID beeyongedde- Minisita

Added 9th August 2020

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde era ng’okubasobyako gwe gumu ku mize egisinze okukolebwa mu kiseera kino.

Minisita Nabakooba

Minisita Nabakooba




Minisita w'ebyamawulire Judith Nabakooba yagambye nti abaana abasoba mu mitwalo ebiri be bakatulugunyizibwa mu  maka bukyanga muggalo gwa kwewala bulwadde bwa ssenyiga gutandika mu March 2020 ogumu ku mize ogusinze okubakolebwaako kwe kubafumbiza nga tebaneetuuka n'okubasobyako.

Minisita w'ebyamawulire Judith Nabakooba yagambye bannamawulire ku Media Centre mu Kampala nti ekiseera kino amasomero we gagalirwa olwa ssenyiga waliwo okutulugunya abaana okugenda maaso mu maka.

Era ekimu ku bisinze okukolebwa kwe kubasobyako n'okubafumbiza nga tebeesimidde olw'abazadde abanoonya ensimbi.

Yategeezezza nti abazadde n'enganda z'abaana be bamu ku basinze okusobya ku baana.N'agamba nti ebifo ebisinze okubaako okutulugunyizibwa kw'abaana kuliko Kamuli, Gulu, Naggalama, Kiryandongo n'ebifo ebitwalibwa poliisi y'e Jinja Road.

Emisango 21,260 egy'okutulugunya abaana gye giroopeddwa ku poliisi.

Yagambye abazadde n'abalabirira abaana okubakuuma obulungi mu kiseera kino ng'amasomero ggaggaddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaweefube okutaasa ekibira ...

AMAWULIIRE  | EKIBIRA KY'EBUGOMA  

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...