TOP

Nnawasa omubanda n'antamya obufumbo

Added 10th August 2020

NZE Naboth Nuwagira, 27, mbeera Kitintale. Obulamu bwange bwonna eby’abakyala saabiwanga nnyo budde nga nnoonya omuntu omutuufu anampa emirembe.

Nalwa ddaaki ne nfuna omuwala omulungi ne mmutuukirira okumutegeeza nti nnali mmwegombye. Mu ntandikwa y'omukwano gwaffe, nafuna essanyu eritagambika ne ndabira ddala ng'essaala yange yali eddiddwaamu.

Obwesigwa n'omukwano omuwala bye yandaga byanzikirizisa nti ye muntu omutuufu Katonda gwe yali ampadde okuba naye.

Nnamusaba tube ffembi tukole amaka nga ndowooza nti kye kinaakuuma omukwano gwaffe nga munywevu. Nasanyuka nga munnange akkirizza okusaba kwange. Nga twakatandika obufumbo nga munnange tasobola kukola kintu kyonna nga tanneebuuzizzaako. Kino kyampanga essanyu nga omusajja era nange nga mmuwa ekitiibwa kye.

Nga wayise ekiseera, munnange yazaala omwana waffe omuberyeberye ne mmanya nti amaka gaakweyongeramu essanyu olw'engeri gye twali tufunye ezzadde.

Wano nasalawo nve mu kyalo ewaffe nzigye e Kampala ntetenkanye obulamu nsobole okuyimirizaawo abantu bange. Wadde omukazi nnamuleka mu kyalo, nafubanga okumuwuliza n'okumuweereza obuyambi.

Wabula, lumu nagendako mu kyalo nga sisoose kumutemyako kyokka awaka saamusangayo era mu kumukubira essimu yantegeeza nti yali agenzeeko Kampala ku buvunaanyizibwa obw'amangu.

Sasooka kukitwala nga kikulu nga ndowooza bya bulijjo ng'omuntu bw'agwako ekizibu ekitalinda. Kyankuba wala bwe nakizuula nti gwali gufuuse muze kubanga namukwatiriza enfunda nnyingi nga tali waka ate nga tasoose kuntegeezaako nga bba.

Bwe nnamugambako nga tayagala kumpuliriza ne nsalawo okumuggyako omwana wange ne twawukana mu mirembe wadde nga nnali mmanyi ye mukazi gwe nnina okuba naye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...