TOP

Kenzo bye yayogedde ku Bobi Wine bimwokezza

Added 10th August 2020

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe wadde nga si be bagaba viza zaayo.

Wadde nga bamaze ennaku bbiri nga bamutadde ku kye wandiyise ekikaliriro, Kenzo akyasirise bwe cce ekiyinza okutegeeza nti akyalemedde ku bigambo bye ku mubaka wa Kyaddondo East, Bobi Wine ng'amannya amatuufu ye Robert Kyagulanyi.

Kenzo ng'amannya amatuufu ye Edirisa Musuuza yabadde anyumya ne ‘Blogger wa yintanenti' eyeeyita Kojja omugezi eyamukutte emaloboozi ng'ageya Bobi Wine ate n'agassa mu lwatu.

Ffe bayimbi banne ab'amaanyi ayagala kutulagako nti ye wa maanyi. Wadde Chameleone yeefuulafuula, naye yagaanye okumuwa kkaadi y'ekibiina kye ekya National Unity Platform (NUP) kyokka n'agiwa ba Kabakko.

Namusindikidde obubaka nga mutegeeza nti waliwo olukiiko olwatuula ate nga naye (Bobi) alumanyi ne bateesa okunkolako obulabe kyokka wadde obubaka yabulabye, talina kye yanzizeemu wadde nnamusabye twogeremu ng'abantu abakulu.

Ayagala tumuyambe mu kampeyini ze kyokka nga ffe talina ky'atuyamba. Ayagala tumuyambe Gavumenti ffe etunyige nga gwe tulwanirira talina ky'atukolera.

Bwe baamukwata nnayimba ennyimba bbiri okuli Biwoobe ne Volongoto ezimulwanirira kyokka nabadde mu mawanga (Ivory Coast olwa COVID-19) naye talina wadde ennusu gye yansindikidde okunnyamba."

Mu kusooka bangi baagambye nti ono eyabadde ayogera ne Kenzo amaloboozi yagataddeyo nga Kenzo tategedde wabula kino bangi baakigaanye oluvannyuma ne bategeeza nti baabadde mu kkobaane abiteekeyo ng'akakodyo k'okwatulira Bobi Wine.

Baalowoozezza bwe bati nga bagamba nti Kenzo yandiba ng'abaza ssente za NRM ng'omulimu gw'aliko gwa kuggya bawagizi ba Bobi Wine ku mulamwa gwa byabufuzi gwe baliko.

Kyokka omu ku banna NRM, Isma Olaxess Lubega yawolerezza Kenzo nti zino ntondo na buggya bw'abawagizi ba People Power abeefunyiridde okumuvuma okuva lwe baamulaba ng'asisinkanye Pulezidenti Museveni mu October wa 2019.

Ebizze bibaawo okuva olwo mulimu abantu abanyiigira Kenzo ne bakunga abantu okuzira ebivvulu bye omuli ekya One Africa ekyali kirina okuba e Dubai mu November wa 2019.

Ekivvulu kya Kenzo Festival e Kololo mu February wa 2020 (ekitaagenda mu maaso olwa Corona) n'ebirala. Mikwano gye egy'okulusegere gigamba nti waliwo n'abantu ababadde bamusabira afi ire mu Ivory Coast gy'amaze ebbanga okuva ekisaawe ky'ennyonyi e Ntebe lwe kyaggalwa mu March wa 2020 n'asangibwa mu ggwanga eryo gye yali agenze okuyimba.

Yakomyewo wiiki eyomunda n'agenda mu kalantiini era leero lw'aweebwa ebbaluwa emukkiriza okwetaba mu bantu. Mikwano gye gyategeezezza Bukedde nti Kojja ye yakubira Kenzo essimu banyumyemu era Kenzo kwe kumuyitira mu buzibu bw'alina ne Bobi nga mukwano gwe wabula Kojja n'assaayo amaloboozi nga takkaanyizza na Kenzo. Wabula Kenzo bamwogerako nti buli lw'abeera mu buzibu afuna omuntu omulala gwe yeekwasa.

Okugeza, yakaabira Gavumenti ya wakati n'ey'e Mmengo ng'agamba nti tezifuddeeyo kumutaasa ku Muzaata ng'ate ye atunze Uganda mu mawanga g'ebweru n'olulimi Oluganda nga tasasuddwa. Awo era we waava eng'ombo ya ‘Uganda Gavumenti, weyayu.'

Beewuunyizza era Kenzo eyalaga obubi obwali mu Bobi ne Bebe Cool obutakwatagana n'asaba Katikkiro Charles Peter Mayiga abakwataganye ne kikolebwa mu kivvulu kya Kenzo ng'aweza emyaka 10 ng'ayimba ekyali ku Serena hotel mu January wa 2019 ate kati kye yabadde ayagala kuzzaawo entalo ye ze yalaga nga mbi mu bayimbi.

 

EBIGAMBO ebitawera 1,000
Eddy Kenzo bye yayogedde ku
Bobi Wine bimwokezza bwe
bamuddizza omuliro okuva
mu Bannayuganda abali wano
n'emitala w'amayanja n'aweebwa
ennaku mbale abimenyewo oba
ssi kyo bafune kye bamukolera.
Waliwo ne Bannayuganda
abali emitala w'amayanja naddala
Dubai abaamusabye aleme kuddamu
kulinnya mu nsi zaabwe
wadde nga si be bagaba viza
zaayo.
Wadde nga bamaze ennaku
bbiri nga bamutadde ku kye
wandiyise ekikaliriro, Kenzo akyasirise
bwe cce ekiyinza okutegeeza
nti akyalemedde ku bigambo
bye ku mubaka wa Kyaddondo
East, Bobi Wine ng'amannya amatuufu
ye Robert Kyagulanyi.
Kenzo ng'amannya amatuufu
ye Edirisa Musuuza yabadde anyumya
ne ‘Blogger wa yintanenti'
eyeeyita Kojja omugezi eyamukutte
emaloboozi ng'ageya Bobi
Wine ate n'agassa mu lwatu.
Ffe bayimbi banne ab'amaanyi
ayagala kutulagako nti ye wa
maanyi.
Wadde Chameleone yeefuulafuula,
naye yagaanye okumuwa
kkaadi y'ekibiina kye ekya National
Unity Platform (NUP)
kyokka n'agiwa ba Kabakko. Namusindikidde
obubaka nga mutegeeza
nti waliwo olukiiko olwatuula
ate nga naye (Bobi) alumanyi
ne bateesa okunkolako obulabe
kyokka wadde obubaka yabulabye,
talina kye yanzizeemu wadde
nnamusabye twogeremu ng'abantu
abakulu. Ayagala tumuyambe mu
kampeyini ze kyokka nga ffe talina
ky'atuyamba. Ayagala tumuyambe
Gavumenti ffe etunyige nga gwe
tulwanirira talina ky'atukolera. Bwe
baamukwata nnayimba ennyimba
bbiri okuli Biwoobe ne Volongoto
ezimulwanirira kyokka nabadde
mu mawanga (Ivory Coast olwa
COVID-19) naye talina wadde
ennusu gye yansindikidde okunnyamba."
Mu kusooka bangi baagambye
nti ono eyabadde ayogera ne
Kenzo amaloboozi yagataddeyo
nga Kenzo tategedde wabula kino
bangi baakigaanye oluvannyuma
ne bategeeza nti baabadde mu
kkobaane abiteekeyo ng'akakodyo
k'okwatulira Bobi Wine.
Baalowoozezza bwe bati
nga bagamba nti Kenzo
yandiba ng'abaza ssente za NRM
ng'omulimu gw'aliko gwa kuggya
bawagizi ba Bobi Wine ku mulamwa
gwa byabufuzi gwe baliko.
Kyokka omu ku banna NRM,
Isma Olaxess Lubega yawolerezza
Kenzo nti zino ntondo na buggya
bw'abawagizi ba People Power
abeefunyiridde okumuvuma okuva
lwe baamulaba ng'asisinkanye
Pulezidenti Museveni mu October
wa 2019.
Ebizze bibaawo okuva olwo
mulimu abantu abanyiigira Kenzo
ne bakunga abantu okuzira ebivvulu
bye omuli ekya One Africa
ekyali kirina okuba e Dubai mu
November wa 2019.
Ekivvulu kya Kenzo Festival e
Kololo mu February wa 2020 (ekitaagenda
mu maaso olwa Corona)
n'ebirala.
Mikwano gye egy'okulusegere
gigamba nti waliwo n'abantu
ababadde bamusabira afi ire mu
Ivory Coast gy'amaze ebbanga
okuva ekisaawe ky'ennyonyi e
Ntebe lwe kyaggalwa mu March
wa 2020 n'asangibwa mu ggwanga
eryo gye yali agenze okuyimba.
Yakomyewo wiiki eyomunda
n'agenda mu kalantiini era leero
lw'aweebwa ebbaluwa emukkiriza
okwetaba mu bantu.
Mikwano gye gyategeezezza
Bukedde nti Kojja ye yakubira
Kenzo essimu banyumyemu era
Kenzo kwe kumuyitira mu buzibu
bw'alina ne Bobi nga mukwano
gwe wabula Kojja n'assaayo
amaloboozi nga takkaanyizza na
Kenzo.
Wabula Kenzo bamwogerako nti
buli lw'abeera mu buzibu afuna
omuntu omulala gwe yeekwasa.
Okugeza, yakaabira Gavumenti ya
wakati n'ey'e Mmengo ng'agamba
nti tezifuddeeyo kumutaasa ku
Muzaata ng'ate ye atunze Uganda
mu mawanga g'ebweru n'olulimi
Oluganda nga tasasuddwa.
Awo era we waava eng'ombo ya
‘Uganda Gavumenti, weyayu.'
Beewuunyizza era Kenzo eyalaga
obubi obwali mu Bobi ne Bebe
Cool obutakwatagana n'asaba
Katikkiro Charles Peter Mayiga
abakwataganye ne kikolebwa
mu kivvulu kya Kenzo ng'aweza
emyaka 10 ng'ayimba ekyali ku
Serena hotel mu January wa 2019
ate kati kye yabadde ayagala kuzzaawo
entalo ye ze yalaga nga mbi
mu bayimbi.
Lubega agamba nti ekintu kya
Kenzo kyapangibwa aba People
Power okumusosonkereza nga
bamujooga aggweemu essuubi
eriwagira Pulezidenti Museveni.
"Bebe Cool bwe yasalawo
okusirika, abawagizi ba Bobi
Wine baasalawo okucojja Kenzo
kubanga ng'oggyeeko Jose Chameleone,
Bebe Cool ne Bobi Wine
awo Kenzo y'addako.
Kati mu kibalo kitegeeza
Chameleone bw'aba yava mu
NRM, Bobi awakanya NRM ate
nga ne Bebe Cool eyali amukuba
asirise, People Power yatunuuliza
Kenzo omudumu ogwakuba Bebe
n'asirika (bwe baba nga be
baamusirisa) ne baagala naye
okumukuba. Bamutya kubanga
bwe tugenda mu kalulu ka
ssaayansi ataliimu kampeyini,
kitegeeza nti abalina abagoberezi
abangi ku mikutu gya yintanenti
bagenda kukolera nnyo NRM
ate nga Kenzo y'omu ku balina
abagoberezi abangi. People Power
erudde ng'emukola ebibi bingi mu
kasirise aggweemu essuubi eriwagira
Museveni. Waliwo n'enkiiko
ezaatuuzibwa aba People Power
okuva omwaka oguwedde nga
beewerera Kenzo okumukolako
obulabe ate bwe yakubira Bobi
sesimu boogeremu ng'abakulu
n'abakulu teyakwata kyokka
ng'abawagizi be bongera kumuvuma.
Kati Kenzo bw'avaayo okwogera
bye yayogedde ku
Bobi tabeera na nsobi.
Lubega agamba nti ekintu kya
Kenzo kyapangibwa aba People
Power okumusosonkereza nga
bamujooga aggweemu essuubi
eriwagira Pulezidenti Museveni.
"Bebe Cool bwe yasalawo
okusirika, abawagizi ba Bobi
Wine baasalawo okucojja Kenzo
kubanga ng'oggyeeko Jose Chameleone,
Bebe Cool ne Bobi Wine
awo Kenzo y'addako.
Kati mu kibalo kitegeeza
Chameleone bw'aba yava mu
NRM, Bobi awakanya NRM ate
nga ne Bebe Cool eyali amukuba
asirise, People Power yatunuuliza
Kenzo omudumu ogwakuba Bebe
n'asirika (bwe baba nga be
baamusirisa) ne baagala naye
okumukuba. Bamutya kubanga
bwe tugenda mu kalulu ka
ssaayansi ataliimu kampeyini,
kitegeeza nti abalina abagoberezi
abangi ku mikutu gya yintanenti
bagenda kukolera nnyo NRM
ate nga Kenzo y'omu ku balina
abagoberezi abangi. People Power
erudde ng'emukola ebibi bingi mu
kasirise aggweemu essuubi eriwagira
Museveni. Waliwo n'enkiiko
ezaatuuzibwa aba People Power
okuva omwaka oguwedde nga
beewerera Kenzo okumukolako
obulabe ate bwe yakubira Bobi
sesimu boogeremu ng'abakulu
n'abakulu teyakwata kyokka
ng'abawagizi be bongera kumuvuma.
Kati Kenzo bw'avaayo okwogera
bye yayogedde ku
Bobi tabeera na nsobi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...