TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kiki ekiri emabega wa Kenzo okwefuulira Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo okwefuulira Bobi Wine

Added 10th August 2020

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi eriwagira Pulezidenti Museveni.

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

"Bebe Cool bwe yasalawo okusirika, abawagizi ba Bobi Wine baasalawo okucojja Kenzo kubanga ng'oggyeeko Jose Chameleone, Bebe Cool ne Bobi Wine awo Kenzo y'addako.

Kati mu kibalo kitegeeza Chameleone bw'aba yava mu NRM, Bobi awakanya NRM ate nga ne Bebe Cool eyali amukuba asirise, People Power yatunuuliza Kenzo omudumu ogwakuba Bebe n'asirika (bwe baba nga be baamusirisa) ne baagala naye okumukuba. Bamutya kubanga bwe tugenda mu kalulu ka ssaayansi ataliimu kampeyini, kitegeeza nti abalina abagoberezi abangi ku mikutu gya yintanenti bagenda kukolera nnyo NRM ate nga Kenzo y'omu ku balina abagoberezi abangi.

People Power erudde ng'emukola ebibi bingi mu kasirise aggweemu essuubi eriwagira Museveni. Waliwo n'enkiiko ezaatuuzibwa aba People Power okuva omwaka oguwedde nga beewerera Kenzo okumukolako obulabe ate bwe yakubira Bobi sesimu boogeremu ng'abakulu n'abakulu teyakwata kyokka ng'abawagizi be bongera kumuvuma. Kati Kenzo bw'avaayo okwogera bye yayogedde ku Bobi tabeera na nsobi.

ABA PEOPLE POWER BEEWUUNYA OBUTASIIMA BWA KENZO

Bamujjukizza nti okuyimba kwe n'erinnya ly'alina byatandikira mu kibiina kya Fire Base ekikulirwa Bobi Wine era eyo ye gye yayimbira oluyimba lwa Yannimba ne Mickie Wine muto wa Bobi Wine.

Mu October wa 2019 ku Mestil Hotel e Nsambya, kino Kenzo kennyini yakyogera nti Bobi alina kye yamuyamba okufuuka ow'amaanyi kyokka bwe yabadde ayomba yasabye abawagizi be bamusonyiwe ng'agamba nti yabyogera mu nsobi talina kye yamuyamba mu bulamu.

Ebirala Kenzo bye yayogedde ebyasinze okuluma aba People Power mulimu okugamba nti; Bobi Wine bw'ayitamu ku Bwapulezidenti, Kenzo ajja kuwang'anguka ave mu Uganda.

Kyokka ku kino, bangi baamujjukizza okwogera by'atatuukiriza nga bwe yategeeza mu October wa 2019 ng'ali mu Amerika nti taliddamu kuyimba mu Uganda olwa Seeka Nuuhu Muzaata Batte okumulangira okuwasa nnyina.

Okuva lwe yalangirira obutaddamu kuyimba yeekyusa n'akuba ebivvulu eby'okumukumu. Era bwe yali yaakakomawo, Kenzo yategeeza bwe yali ku Mestil hotel nti, tajja kukubira muntu yenna kampeyini mu kulonda kwa 2021 era eyo obuzibu gye bwatandikira n'abamu ku bawagizi ba People Power ekikulemberwa Bobi Wine kubanga ab'ekiwendo ekyo baali bamuyita munnaabwe.

Bwe yasisinkana Pulezidenti n'amuwa n'emmotoka, Kenzo yategeeza nti yamusaba n'obukuumi olw'abantu abamutiisatiisa kati obukuumi buno aba People Power bwe balowooza nti kwe yeesigulira n'ayogera byonna ebittattana Bobi Wine.

Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo agamba nti ebya Kenzo ne Bobi byetaaga kugendako mpola kubanga ba mukwano n'asaba abamuwakanya basseewo abiri bagenda kubalaba mu kaseera katono nga bakkaanyizza.

Lubega agamba nti ekintu kya
Kenzo kyapangibwa aba People
Power okumusosonkereza nga
bamujooga aggweemu essuubi
eriwagira Pulezidenti Museveni.
"Bebe Cool bwe yasalawo
okusirika, abawagizi ba Bobi
Wine baasalawo okucojja Kenzo
kubanga ng'oggyeeko Jose Chameleone,
Bebe Cool ne Bobi Wine
awo Kenzo y'addako.
Kati mu kibalo kitegeeza
Chameleone bw'aba yava mu
NRM, Bobi awakanya NRM ate
nga ne Bebe Cool eyali amukuba
asirise, People Power yatunuuliza
Kenzo omudumu ogwakuba Bebe
n'asirika (bwe baba nga be
baamusirisa) ne baagala naye
okumukuba. Bamutya kubanga
bwe tugenda mu kalulu ka
ssaayansi ataliimu kampeyini,
kitegeeza nti abalina abagoberezi
abangi ku mikutu gya yintanenti
bagenda kukolera nnyo NRM
ate nga Kenzo y'omu ku balina
abagoberezi abangi. People Power
erudde ng'emukola ebibi bingi mu
kasirise aggweemu essuubi eriwagira
Museveni. Waliwo n'enkiiko
ezaatuuzibwa aba People Power
okuva omwaka oguwedde nga
beewerera Kenzo okumukolako
obulabe ate bwe yakubira Bobi
sesimu boogeremu ng'abakulu
n'abakulu teyakwata kyokka
ng'abawagizi be bongera kumuvuma.
Kati Kenzo bw'avaayo okwogera
bye yayogedde ku
Bobi tabeera na nsobi.
ABA PEOPLE POWER
BEEWUUNYA OBUTASIIMA
BWA KENZO
Bamujjukizza
nti okuyimba kwe
n'erinnya ly'alina byatandikira
mu kibiina kya
Fire Base ekikulirwa
Bobi Wine era eyo ye
gye yayimbira oluyimba
lwa Yannimba ne
Mickie Wine muto wa
Bobi Wine.
Mu October wa
2019 ku Mestil Hotel e
Nsambya, kino Kenzo
kennyini yakyogera
nti Bobi alina kye
yamuyamba okufuuka
ow'amaanyi kyokka
bwe yabadde ayomba
yasabye abawagizi
be bamusonyiwe ng'agamba nti
yabyogera mu nsobi talina kye
yamuyamba mu bulamu.
Ebirala Kenzo bye yayogedde
ebyasinze okuluma aba People
Power mulimu okugamba nti;
Bobi Wine bw'ayitamu ku
Bwapulezidenti, Kenzo ajja
kuwang'anguka ave mu Uganda.
Kyokka ku kino, bangi baamujjukizza
okwogera by'atatuukiriza
nga bwe yategeeza mu October wa
2019 ng'ali mu Amerika nti taliddamu
kuyimba mu Uganda olwa
Seeka Nuuhu Muzaata Batte okumulangira
okuwasa nnyina. Okuva
lwe yalangirira obutaddamu kuyimba
yeekyusa n'akuba ebivvulu
eby'okumukumu.
Era bwe yali yaakakomawo,
Kenzo yategeeza bwe yali ku Mestil
hotel nti, tajja kukubira muntu
yenna kampeyini mu kulonda kwa
2021 era eyo obuzibu gye bwatandikira
n'abamu ku bawagizi ba
People Power ekikulemberwa Bobi
Wine kubanga ab'ekiwendo ekyo
baali bamuyita munnaabwe.
Bwe yasisinkana Pulezidenti
n'amuwa n'emmotoka, Kenzo yategeeza
nti yamusaba n'obukuumi
olw'abantu abamutiisatiisa kati
obukuumi buno aba People Power
bwe balowooza nti kwe yeesigulira
n'ayogera byonna ebittattana Bobi
Wine.
Andrew Mukasa amanyiddwa
nga Bajjo agamba nti ebya Kenzo
ne Bobi byetaaga kugendako mpola
kubanga ba mukwano n'asaba
abamuwakanya basseewo abiri
bagenda kubalaba mu kaseera
katono nga bakkaanyizza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...