TOP

Poliisi ekyanoonyereza ku babbye emmundu

Added 10th August 2020

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza ku musango guno kunaatera okuggwa era basuubira nti essaawa yonna abawawaabirwa baakutwalibwa mu kkooti.

Yagambye nti emmundu ya poliisi baakozesa erinnya ery'empewo okugisayininga mu bitabo bya poliisi ya Jinja Road ne bagiguza Peter Ongon.

Ongon yategeezezza poliisi nti, okugula emmundu yayitira mu muganda we, Fred Akona omutuuze w'e Naguru eyakwataganya ku muserikale Andrew Steven Opio nga naye abadde ku Jinja Road ne Cpl. Emeru Richard eyali avunaanyizibwa ku kifo aterekebwa emmundu ku poliisi ya Jinja Road n'agimuguza obukadde 2 nga baasooka kumuwaako akakadde kamu.

Bukedde w'eggulo ku muko ogusooka twagambye nti emmundu eno baagitunda obukadde 200. Eno yabadde nsobi eyavudde ku mpandiika, ekituufu buli obukadde 2.

Twine yayongedde okulabula abalina emmundu mu bumenyi bw'amateeka okuziwaayo mu mirembe oba si ekyo bajja kubayigga bakwatibwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...