TOP

Akkakkanye ku jjajjaawe n'amusalako omutwe

Added 10th August 2020

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e Ibanda, omuvubuka James Asiimwe, 21, bw’akkakkanye ku jjajjaawe, Clemensia Kadiidi, 71, n’amutemako omutwe nga kigambibwa nti abadde amulanga okugaana okumusikiza ekibanja kye bw’aliba afudde.

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.





Kigambibwa nti Asiimwe, yasoose kukaayana ne jjajjaawe n'amutegeeza nti akuze n'ayagala okumulagaanyisa nti yaalimusikira bw'aliba afudde, asobole okutwala ekibanja n'ennyumba, si kulwa ng'abaana be babisikira.

Oluvannyuma lw'obutakkiriziganya, ku ssaawa nga 5:00 ez'ekiro, Asiimwe yalumbye jjajjaawe. Kigambibwa nti yasoose kumunyoola nsingo oluvannyuma n'amutemako omutwe n'agutwala ewa ssenga we nga tannamalamu musulo.

Felix Tumuhairwe, ssentebe w'ekyalo, yategeezezza nti Asiimwe abadde amaze akabanga ng'atiisatiisa jjajjaawe nga bw'ajja okumutta singa tamuwa kibanja n'ente mu mirembe era abatuuze n'abooluganda tebeewuunyizza kikolwa kye yakoze wadde nga ssentebe agamba nti abadde akozesa enjaga.

Paul Muhenda, akulira eby'okunoonyereza ku poliisi e Ibanda, yagambye nti banoonya Asiimwe nga kati aliira ku nsiko.

Omutwe gwa jjajjaawe gwasangiddwa ewa ssenga we eyabategeezezza nti yagumuleetedde n'amutegeeza nti asse jjajjaawe lwa kugaana kumusikiza byabugagga nga mulamu.

Poliisi yatutte omutwe n'ekiwuduwudu mu ddwaaliro e Ibanda. Emily Angomoku, aduumira poliisi e Ibanda, avumiridde ekikolwa kino n'asaba abatuuze okubeera abakkakkamu nga bwe bagenda mu maaso n'okuyigga Asiimwe avunaanibwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...