TOP

Kenzo yeetonze ku bya Bobi Wine

Added 11th August 2020

ABAWAGIZI ba Bobi Wine bongedde okuteeka akazito ku Eddy Kenzo okutuusa lwe yeetondedde omuntu wabwe.

Bobi Wine ne Eddy Kenzo

Bobi Wine ne Eddy Kenzo





Kyokka bwe yeetonze ate era abamu babigaanyi nga bagamba nti abitaddeko obukwakkulizo bwe yagambye nti wadde ng'ayagala nnyo Bobi Wine kyokka bo bakitwala ng'atanneetonda, abuzaabuza okukendeeza puleesa eyamuteereddwako abawagizi ba Bobi.

"Ggwe bwe weetegereza Kenzo ayogedde ki, okugamba nti amwagala nnyo naye alina by'akola ngate era binyiiza Kenzo! Omuntu gw'oyagala tomussaako bukwakkulizo omwagala ne mu kusoomooza kw'alim, " bw'atyo Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo nga wa People Power bwe yayogedde eggulo.

Eggulo Kenzo ng'ayogera butereevu (layiivu) eri abantu abaasobye mu 1,300 ng'ayita ku mukutu gwe ogwa Face book yeetondedde Bobi na bonna abalowooza nti yabanyiizizza kyokka yagaanye eky'okumugaana okwogera ng'agamba nti lino ddembe lye erimuweebwa ssemateeka ate y'engeri yokka gy'ayinza okutegeeza ensi ky'awulira ku mutima.

Kenzo (Edirisa Musuuza) eyasoose okwogeza obukkakkamu yagambye nti Bobi Wine tamulinaako buzibu, amwagala nnyo era akuze amwegomba naddala mu nsike y'okuyimba kubanga y'omu ku bayimbi ye ne Jose Chameleone abasinga okumusanyusa ate nga ne mu byobufuzi amuwagira Wabula abamuvuma n'okumulumba olw'akatambi k'amaloboozi akasaasaanidde ku mikutu gya yintanenti baamufunye bubi teyabadde na kigendererwa kivuma oba okunafuya omuntu waabwe.

"Nze omu ku bawagizi ba Bobi abasinga era nkuze mwegomba n'okumulabirako ebintu bingi." Kenzo yagambye nti mu mboozi gye yabadde anyumya ne ‘Blogger wa yintanenti' eyeeyita Kojja Omugezi eyamukutte emaloboozi n'agasaasaanya yabadde tayogera ku Bobi Wine munnabyabufuzi, yabadde ayogera ku Bobi muyimbi munne.

"Ndowooza olw'okuba nina obusungu bungi ate Bobi mwagala nnyo, Kojja bwe yannyumirizza ku muntu gwe njagala nnyo ate nga yansanze nina obusungu olw'ebintu ebirala kwe kutabuka ne njogera ebyo byonna bye nayogedde naye sakikoze mu bugenderevu nti kubanga Bobi simwagala oba simwagaliza bwapulezidenti."

ABAWAGIZI ba Bobi Wine
bongedde okuteeka akazito ku
Eddy Kenzo okutuusa lwe yeetondedde
omuntu wabwe. Kyokka
bwe yeetonze ate era abamu
babigaanyi nga bagamba nti
abitaddeko obukwakkulizo bwe
yagambye nti wadde ng'ayagala
nnyo Bobi Wine kyokka bo
bakitwala ng'atanneetonda,
abuzaabuza okukendeeza puleesa
eyamuteereddwako abawagizi ba
Bobi.
"Ggwe bwe weetegereza
Kenzo ayogedde ki, okugamba
nti amwagala nnyo naye alina
by'akola ngate era binyiiza Kenzo!
Omuntu gw'oyagala tomussaako
bukwakkulizo omwagala ne mu
kusoomooza kw'alim, " bw'atyo
Andrew Mukasa amanyiddwa nga
Bajjo nga wa People Power bwe
yayogedde eggulo.
Eggulo Kenzo ng'ayogera
butereevu (layiivu) eri abantu
abaasobye mu 1,300 ng'ayita
ku mukutu gwe ogwa Face book
yeetondedde Bobi na bonna
abalowooza nti yabanyiizizza kyokka
yagaanye eky'okumugaana
okwogera ng'agamba nti lino
ddembe lye erimuweebwa ssemateeka
ate y'engeri yokka gy'ayinza
okutegeeza ensi ky'awulira ku
mutima.
Kenzo (Edirisa Musuuza) eyasoose
okwogeza obukkakkamu
yagambye nti Bobi Wine tamulinaako
buzibu, amwagala nnyo era
akuze amwegomba naddala mu
nsike y'okuyimba kubanga y'omu
ku bayimbi ye ne Jose Chameleone
abasinga okumusanyusa ate
nga ne mu byobufuzi amuwagira
Wabula abamuvuma
n'okumulumba olw'akatambi
k'amaloboozi akasaasaanidde ku
mikutu gya yintanenti baamufunye
bubi teyabadde na kigendererwa
kivuma oba okunafuya omuntu
waabwe.
"Nze
omu
ku
bawagizi ba Bobi abasinga
era nkuze mwegomba
n'okumulabirako ebintu bingi."
Kenzo yagambye nti mu
mboozi gye yabadde anyumya
ne ‘Blogger wa yintanenti' eyeeyita
Kojja Omugezi eyamukutte
emaloboozi n'agasaasaanya
yabadde tayogera ku Bobi Wine
munnabyabufuzi, yabadde ayogera
ku Bobi muyimbi munne.
"Ndowooza olw'okuba nina
obusungu bungi ate Bobi mwagala
nnyo, Kojja bwe
yannyumirizza ku
muntu gwe
njagala
nnyo
ate
nga
yansanze
nina
obusungu
olw'ebintu
ebirala kwe
kutabuka
ne njogera
ebyo byonna
bye nayogedde
naye
sakikoze mu
bugenderevu
nti kubanga Bobi
simwagala oba
simwagaliza bwapulezidenti."

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobi Wine (wakati) lwe yali ne Latif Ssebaggaka (ku kkono) ne Chameleone (ku ddyo).

Kitegeeza ki Latif okuva mu...

LATIF Ssebaggala okuva ku kuvuganya ku kifo kya Loodi Meeya kiddiridde enteeseganya z’abavuganya Gavumenti ne bakkaanya...

Pulogulaamu y'ebigezo bya P...

GAVUMENTI efulumizza kalenda y’amasomero. Abayizi ba P7, S4 ne S6 bwe banaddayo nga October 15, olwo UNEB etandikirewo...

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo guzzeemu okutojjera

Speaker Kadaga asanyukidde ...

OLUVANNYUMA lwa Pulezidenti Museveni okugya envumbo ku by’emizannyo olw’ekirwadde kya CORONA, okuzimba ekisaawe...

Abasuubuzi nga balaga sipiika bye batunda

Speaker asisinkanye abasuub...

SIPPIKA  wa palamenti  Rebeeca Alitwala Kadaga asabye abakungu b'ekitongole ky'omusolo URA okukomya okunyigiriza...

Nambooze ng'ayogera eri abavubuka ba People Power e Mukono ku NUP.

Nambooze yeekokkodde abamwe...

Nambooze yeegobyeko abamwekukuutirizaako mu kalulu olumala ne bajeema.