TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Basse owa S3 ne balagirira abooluganda awali omulambo

Basse owa S3 ne balagirira abooluganda awali omulambo

Added 11th August 2020

ABATEMU babuzizzaawo omuwala owa S3 okuva mu maka ga bakadde be ne bamusobyako oluvannyuma ne bamutta, omulambo gwe ne bagusuula mu kisaalu.
Molly Nalubega 18, abadde asomera mu Kibaale SSS mu disitulikiti y'e Rakai, ye yattiddwa. Nalubega yabula ku Mmande ( August 3), akawungeezi okuva mu maka ga ssenga we, Immaculate Namatovu gw'abadde abeera naye.

Kitaawe Pascal Matovu yafa n'amuleka nga muto ate nnyina Ritah Nayiga naye abadde abeera walala.

Kigambibwa nti abasse Nalubega baali bamumanyi era baali bamulumiriza okucanga abasajja era nti baasooka kumukubira ssimu oluvannyuma ne bamunona awaka nga ssenga we taliiwo ne bamutwala.

Ssenga w'omugenzi agamba nti, omwana abadde abeera wuwe wabula nga tava ku ssimu ate ng'abeera ayogera n'abasajja ab'enjawulo.

Ayongerako nti lumu yamugambako nti, "mwana wange totya kwogera na basajja ab'enjawulo ku ssimu nga nange tontidde?'' Kyokka agamba nti yadde gubadde gutyo abadde tasulangako wabweru era ne lwe yabula beewunya nnyo okumulinda n'atakomawo!

Era agattako nti ekizibu kya muwala we, ebadde ssimu nga temuva ku kutu buli kiseera.

Abamu ku baana aboomuliraano baalumiriza okulaba omusajja eyali ayambadde ekijaketi ng'anona Nalubega n'amussa ku pikipiki n'avuga ng'ayolekera ekibuga Kyotera wabula okuva olwo tebaddangamu kumulabako okutuusa ate bwe babalagiridde omulambo we guli.

Wabula waliwo eyeeyise omutemu eyakubye ku ssimu y'omuwala ono ng'omulambo tegunnazuulwa ne yeesoma okutta Nalubega ng'agamba nti yaguliddwa okumutta era agenda kusasulwa emitwalo 80 kyokka ne batazimuwa n'asalawo abawe ennamba y'omuntu gw'agamba eyamugguliridde mu butemu buno era n'abalagirira ne we yasudde omulambo era we baagusanze.

Omulambo gwasangiddwa bwereere nga kirabika baasoose kumusobyako n'oluvannyuma ne bakozesa akawale ke ak'omunda ne bamusiba mu bulago ne bamutuga nga baamumenye n'omukono.

Essimu Nalubega yagireka ku dduuka erimu e Kyotera ng'ekyaginga era waliwo omu ku basawo e Kyotera eyatwaliranga omuwala ebipapula okumuyambako okubijjuza eyagikubangako nga tekwatibwa okutuusa ow'edduuka bwe yamukwata n'amugamba nti agirese ku muliro.

Oluvannyuma lw'ennaku abatemu baakuba ku ssimu y'emu ne beewaana okutta omuwala ono era ne babalagirira omulambo we guli. Ow'edduka ye yategeezezza abafamire!

Poliisi y'e Kyotera ng'ekulembeddwa DPC era nga yeeyambisa ekitongole kyayo ekya Flying Squad ne Crime Intelligence yagoberedde essimu eyabaweereddwa eyeeyise omutemu n'ekwata nnannyini nnamba yo eyabaweereddwa nga ye Mudashiru Ssemmambo 30, nga makanika e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo.

Ssemmambo eby'okubeera mu lukwe olutta Nalubega yagambye tabimanyi kuba n'omuwala abadde tamumanyi ku maaso naye nti yali ku galagi ye e Kyazanga mu bbanga ttono ne wabaawo eyamukubira nga kuliko omuwala ayogera era we yatandikira okumukwana kyokka wayise mbale n'akwatibwa nti ye yamusse.

RDC w'e Kyotera, Maj. David Matovu yasabye abazadde okwongera okukuuma abaana baabwe mu luwummula luno olw'ekirwadde kya Corona okwewala ebikolwa nga bino.

Akulira poliisi y'e Kyotera, ASP Judith Akello yategeezezza Bukedde nti balina we batuuse mu kunoonyereza ku ttemu lino kwe bataayagala kwogerako olw'okutya okutaataaganya okunoonyereza kwabwe naye n'asuubiza nti abatemu baakukwatibwa.

Nalubega yaziikiddwa mu maka ga ssenga we, Namatovu ku kyalo Mitukula Cell mu kibuga Kyotera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...