TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Boofiisa basimbiddwa mu kkooti lwa kusomola byama bya Gav't

Boofiisa basimbiddwa mu kkooti lwa kusomola byama bya Gav't

Added 11th August 2020

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira bambega mu ggwanga lya Rwanda.

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Abaserikale kuliko omukwanaganya wa poliisi n'omuntu wabulijjo ku poliisi ya Kira Road, ASP Benon Akandwanaho ne ASP Frank Sabiiti 34, owa poliisi erwanyisa obutujju ku poliisi e Mutukula, era emisango bagyegaanyi.

Boofiisa bano bavunaaniddwa wamu n'abajaasi ba UPDF bataano nga kuliko; 2Lt Alex Kasamula 31, omujaasi wa Military Poliisi e Makindye, 2Lt. Phillip Ankunda 30 ng'avuga nnyonyi mu ggye erikuuma Pulezidenti erya SFC ku kitebe e Ntebe, Pte Ndwaine Nathan 27, Pte Asiimwe Moses 25 ne Pte Godfrey Mugabi.

Basimbiddwa mu kkooti y'amagye e Makindye mu maaso ga Lt Gen Andrew Gutti ne basomerwa emisango kyokka bonna ne bategeeza kkooti nti ebibavunaanibwa bikyamu.

Oludda oluwaabi lugamba nti wakati wa February ne March 2020 mu bitundu bya Kampala eby'enjawulo n'ekigendererwa ekyokuteeka ebyokwerinda by'eggwanga mu matigga, baagabana era ne bawaayo ebyama bya Gavumenti ebyokwerinda eri bambega mu b'e Rwanda.

Ssentebe wa kkooti, Lt Gen Gutti yalagidde batwalibwe mu kkomera lya miritale poliisi okutuusa nga August 31 lwe banaakomezebwawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...