TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkooti egobye okusaba kw'abaana ba Muteesa ku ttaka ly'e Mutungo

Kkooti egobye okusaba kw'abaana ba Muteesa ku ttaka ly'e Mutungo

Added 11th August 2020

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira nga bawakanya kkooti eno okugoba omusango gwabwe mwe bawakanyiza Mohammed Kasasa okubeera nnannyini ttaka lino erisangibwa e Mutungo.

Kasasa

Kasasa





Omulamuzi Eudes John Keitirima akulira kkooti eno yagobye okusaba kuno bw'ategeezezza nti abaana ba Sekabaka Muteesa nga bakulembeddwa Omulangira David Wasajja, Nalinnya Dorothy Nasolo ne Sarah Kagere baali tebalina kusooka kusaba lukusa kuva wuwe okujulira ku nsala gye yawa mwe yagobera omusango bwe baali bawakanyiza Kasasa okubeera nnannyini ttaka ly'e Mutungo mu fayiro nnamba 622/2003.

Yagambye nti okusaba kwabwe, Wasajja ne banne bakwesigamizza ku musango oguli ku ffayiro nnamba 622/2003 mwe baagala okubaddiza ettaka lino tekyaliwo n'ebirala byonna ebyagirimu wabula yo fayiro nnamba 227/2005 mwe baawawaabira Gavumenti nga baagala ebaliyirire obuwumbi 192 nga bagamba nti baafiirwa ettaka lyabwe olw'emivuyo egyakolebwa minisitule y'ebyettaka n'eterikuuma bulungi ekyaliwo kubanga fayiro zino tezaagattibwa kubanga zaali zisaba ebintu bya njawulo wadde nga abazirimu be bamu.

Keitirima agambye nti, fayiro 622/2003 yagobebwa okusobola okugonjoola obwannannyini bw'ettaka lino era yali ekkaddiye bwe kityo Wasajja ne banne babadde tebalina kusooka kusaba lukusa okuva mu kkooti eno okugenda okujulira mu kkooti ejulirwamu.

Yategeezezza nti mu nsala ye, Wasajja ne banne baatekaayo emisango ebiri ogumu nga baagala kweddiza ttaka lino ate endala nga baagala kuliyirirwa. Noolwekyo mu nsala gye yawa nga March 20, 2020 yagamba nti, tekyali kituufu kugatta misango ebiri egitafaanagana kubanga Wasajja ne baganda be baali basazeewo okuliyirirwa mu kifo ky'okweddiza ettaka ly'e Mutungo.

Mu kusaba kwa Wasajja ne banne omulamuzi Keitirima kwe yagobye babadde si bamativu olwa kkooti okugoba omusango gwabwe mwe baali bawakanyiza engeri Kasasa gye yafunamu ettaka ly'e Mutungo.

Bagamba nti nga May 27,2020 nga bali ew'omulamuzi Aweri Opio bakkiriziganya okugatta fayiro zombi 622/2003 ne 227/2005 ne bafuna fayiro empya 2139 /2016 kyokka bwe baagezaako okuddamu okwekkenneenya fayiro eyo Kasasa n'akiwakanya era omulamuzi n'akkiriza okusaba kwe n'agoba omusango.

Bwe batyo baasaba Omulamuzi Keitirima okubawa olukusa okujulira ku nsala ye, ekintu kye yagaanye n'abalagira okusasula Kasasa. Ettaka lino lisangibwa Mutungo mu munisipaali y'e Nakawa nga liweza yiika 640 nga liri ku Kyadondo Block 237. Bamaze emyaka 16 nga balikaayanira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...