TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Farouk bba wa Julie Underwood asinkididdwa mu kkomera lwa kujingirira kyapa n'afuna ssente

Farouk bba wa Julie Underwood asinkididdwa mu kkomera lwa kujingirira kyapa n'afuna ssente

Added 11th August 2020

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya lwa kujingirira kyapa n'akufuna ssente ng'akozesa olukujjukujju.

Farouk avunaaniddwa ku kkooti ya Buganda Road emisango 4 nga gyonna gya kujingirira kyapa na biwandiiko ebirala n'okufuna ssente ng'akozesa olukujjukujju nga gyonna kigambibwa nti yagizza mu 2017.

Avunaaniriddwa ku kkooti ya Buganda Road mu maaso g'omulamuzi Doreen Olga Kalungi amusindiise ku limanda okutuusa ku Lwokusattu lwa wiiki eno lw'anaasalawo oba akkirizibwa okweyimirirwa.

Kigambibwa nti mu mwezi gwa March ne August  2017 Farouk yakozesa olukujjukujju n'afuna ssente obukadde 39 okuva ku Danstan Senjule  ng'amulimbye nti agenda kumupangisa tulakita n'okumuyambako okuggya abantu abaali ku ttaka lye erisangibwa e Kisoga mu disitulikiti y'e Mukono.

Nti teyakoma okwo bwe yali ku luguudo lwa Nasser yajingirira ekyapa ky'ettaka eritudde ku Block 558 plot 61 e Mengo ng'agamba kamisona w'ebyapa y'akifulumiza n'ekiwandiiko ekirala ekiraga nga Godfrey Serunkuma Lule bw'atadde omukono ku ffoomu ekyusa obwannannyini bw'ekyapa okudda mu Regina Senjule ekintu ekitaali kituufu.

Looya we Muwonge Emmanuel Muwonge aleese mu kkooti endagaano okulaga nti baategeeraganye ne Senjule ku ssente ze yamufera obukadde 39 n'amusasulako obukadde 4 nga balansi waakumumusasula mu maaso kyokka kino tekigaanye mulamuzi kumusindiika ku limandi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...