TOP

Golola alidde ogwa Tooro United

Added 12th August 2020

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza lya Mawokota 2013.

Golola

Golola





Ku Lwokusatu Golola yatadde omukono ku ndagaano ya myaka esatu ng'omutendesi omukulu owa Tooro United FC eyaakasalwako okudda mu Big League sizoni ewedde era n'awera nga bw'aleese abatendesi abalina obumanyirivu okukomyawo ttiimu eno mu ‘Super' sizoni ejja.

Bano kuliko;Simon Ddungu(omumyuka),Moses Oloya(waabakippa), Jamada Magaasi Lubowa(Fiitinensi) ne Fred Kasekende (ow'eyabato).

"Mbadde nnyo mu mupiira gw'abato, nina obukugu mu kuzuula ebitone, Tooro United ng'enda kugifuula ttiimu esinga okuba n'ebitone ebito naye nga bikola byakikulu byokka," Golola bwe yaweze.

Omukolo gw'okumwanjula gw'abadde ku Tarvan woods e Kabuusu Lubaga, era Ono yagasseeko nga bw'atandikiddewo okusaggula abazannyi wamu ne ttiimu gy'azze nayo nga bwe balinda eby'emizannyo okuddamu mu ggwanga.

Alice Namatovu omugagga wa Tooro United omuggya yakakasizza nga bw'atandise kaweefube w'okubbulula ttiimu eno era n'awera obutaddiriza mukono okutuusa nga ebiruubirirwabye bituukiridde mu mupiira gwa Uganda.

"Okuweereza omupiira kye kimu ku bintu byenkola ne mpulira emirembe, mmanyi bingi ebyogerwa ku Tooro United FC naye kati tutandise essuula empya ebikadde tubyerabire," Namatovu bwe yategeezezza.

Golola nga ye mutendesi w'Essaza lya Ssingo,atendeseeko ttiimu endala nga Kampala Citizens FC, St.Mary's Kitende, ne Vipers SC bakyampiyoni ba liigi y'eggwanga.

Tooro United FC, Maroons FC ne Proline FC be baasaliddwaako okudda mu Big League sizoni eyaakaggwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...