TOP
  • Home
  • Amawulire
  • COVID19 ayigirizza Bannayuganda okukkekkereza - Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayuganda okukkekkereza - Gavana Mutebile

Added 12th August 2020

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi gavumenti ne bweneeba eggyewo omuggalo gw’obulwadde bwa COVID 19 ekigenda okusigala nga kikosa ebyenfuna.

Gavana Mutebile

Gavana Mutebile





Mutebile yagambye nti kino kigenda kuba bwe kiti kuba abamu bagenda kusigala nga batya okumala gamansa nsimbi olw'okuba tebamanyi oba banaddamu okuzifunanga nga bwe gwali nga COVID 19 tanajja ng'ate n'abalala bagenda kusigala nga batya obulwadde baleme kugenda mu bifo gye bayinza kubuggya.

Bino biri mu kiwandiiko kye yafulumizza ekikwata ku byenfuna nga bwe bibadde mu August w'omwaka guno. Mutebile yagambye nti ebyenfuna bigenda kutambula kasoobo omwaka guno gwonna n'ogujja era biyinza kuddamu ndasi mu mwaka gw'ebyensimbi 2022/2023.

Mutebile yagambye nti kizibu okutebereza ebyenfuna engeri gye bigenda okubaamu mu myezi egigenda okuddako kuba  entambula yabyo egenda kusinziira ku kya kuba nga  bulwadde bwa ssenyiga  bukendedde oba nga bweyongedde. N'agamba nti bwe bunaaba bweyongedde kiyinza okwetagiisa okuddamu okusibira Bannayuganda awaka ekigenda okwongera okuzibuwaza ebintu.

Yagambye nti obukwakulizo obwassibwa ku batakisi ne bbaasi mu kusabaze abantu buyinza okulinnyisa ebbeeyi y'ebintu. Yagambye nti amataba ne ssenyiga bikosezza ebyenfuna mu mwaka guno kyokka biyinza okugenda nga biddamu endasi gavumenti bweneyongera okutewuluza ku muggalo.

Yategeezezza nti obuzibu mu kusasula looni abantu ze beewola mu bbanka kuyinza okuzing'amya bizinensi z'abaneekolera gyange era nakyo kya kukosa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...